Ebikolwa byʼAbatume 17 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 17:1-34

Pawulo mu Sessaloniika

117:1 nny 11, 13; Baf 4:16; 1Bs 1:1; 2Bs 1:1; 2Ti 4:10Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 217:2 a Bik 9:20 b Bik 13:14 c Bik 8:35Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. 317:3 a Luk 24:26; Bik 3:18 b Luk 24:46 c Bik 9:22; 18:28N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” 417:4 Bik 15:22Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.

517:5 a nny 13; 1Bs 2:16 b Bar 16:21Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. 617:6 a Bik 16:19 b Mat 24:14 c Bik 16:20Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, 717:7 Luk 23:2; Yk 19:12era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” 8Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. 917:9 nny 5Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.

Pawulo mu Beroya

1017:10 nny 13; Bik 20:4Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe. 1117:11 a nny 1 b Luk 16:29; Yk 5:39Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima. 12Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.

13Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina. 1417:14 a Bik 15:22 b Bik 16:1Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. 1517:15 a nny 16, 21, 22; Bik 18:1; 1Bs 3:1 b Bik 18:5Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.

Pawulo mu Asene

16Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala. 1717:17 Bik 9:20N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale. 1817:18 nny 31, 32; Bik 4:2Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.” 1917:19 a nny 22 b Mak 1:27Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago17:19 Aleyopaago kaali kasozi okwali lubaale ow’olutabaalo Ale. nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya, 20kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.” 21Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.

22Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; 2317:23 Yk 4:22kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti:

Kya Katonda Atamanyiddwa.

Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.

2417:24 a Is 42:5; Bik 14:15 b Ma 10:14; Mat 11:25 c Bik 7:48“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu, 2517:25 Zab 50:10-12era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna. 2617:26 Ma 32:8; Yob 12:23Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago. 2717:27 Ma 4:7Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. 2817:28 Yob 12:10; Dan 5:23Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’ 

2917:29 Is 40:18-20“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. 3017:30 a Bik 14:16; Bar 3:25 b nny 23; 1Pe 1:14 c Luk 24:47Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. 3117:31 a Mat 10:15 b Zab 9:8; 96:13; 98:9 c Bik 10:42 d Bik 2:24Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”

3217:32 nny 18, 31Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.” 33Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe. 3417:34 nny 19, 22Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 17:1-34

保羅在帖撒羅尼迦傳道

1保羅西拉經過暗非坡里亞波羅尼亞,到了帖撒羅尼迦。那裡有猶太人的會堂。 2保羅照以往的習慣進入會堂,一連三個安息日引用聖經與當地人討論, 3解釋、證明基督必須受害,然後從死裡復活,又說:「我向你們宣講的這位耶穌就是基督。」 4不少人被說服,成為保羅西拉的同道,其中有許多是敬畏上帝的希臘人和有地位的婦女。

5那些不信主的猶太人卻妒火中燒,他們召集了一群市井無賴,在城裡引發騷亂,闖進耶孫的家企圖把保羅西拉揪出來示眾。 6他們找不到保羅西拉,就把耶孫和幾個弟兄拉到當地官員面前,高喊:「那些攪亂天下的人到我們這裡來了, 7耶孫接待了他們。他們違抗凱撒的命令,說另有一個王叫耶穌。」 8百姓和當地官長聽後,深感不安。 9於是,官長命耶孫等人繳納保釋金,然後釋放了他們。

庇哩亞人接受福音

10弟兄姊妹在夜間把保羅西拉送往庇哩亞。他們二人一到,就進了猶太會堂。 11當地的人比帖撒羅尼迦人通情達理,非常樂意接受真道,還天天查考聖經,研究這道是否正確。 12結果有很多人信了,包括不少有名望的希臘婦女和男子。 13可是,帖撒羅尼迦猶太人聽到保羅庇哩亞宣揚上帝的道,就趕來慫恿、煽動眾人。 14庇哩亞的弟兄姊妹立刻送保羅到海邊,西拉提摩太仍然留在庇哩亞15護送保羅的人一直把他送到雅典,然後帶著保羅的口信回庇哩亞,交代西拉提摩太儘快趕去雅典保羅會合。

保羅在雅典傳道

16保羅雅典等候他們的時候,看見滿城都是偶像,心裡非常著急。 17於是,他在會堂跟猶太人和虔誠的外族人辯論,每天在廣場上跟遇見的人辯論。 18還有一些伊壁鳩魯斯多亞學派的哲學家和保羅爭論,有人嘲笑他說:「這人在胡說八道些什麼呀?」還有人說:「他好像在宣揚外國的神明。」他們這樣說是因為保羅在傳講耶穌和祂復活的福音。 19他們帶保羅到一個稱為亞略·巴古的論壇,問他:「我們可以知道你所教導的這個新道理嗎? 20你的言論確實稀奇,我們很想知道個究竟。」

21這些雅典人和僑居在那裡的人沒有別的嗜好,只喜歡談論和打聽一些新奇的事。

22保羅亞略·巴古論壇中站起來說:「各位雅典人,我看得出你們在各方面都非常虔誠。 23我在街上走的時候,觀察了你們所敬拜的對象,發現一座祭壇上面寫著『獻給未知之神』。這位你們不認識卻在敬拜的神明,我現在介紹給你們。

24「這位創造宇宙萬物的上帝是天地的主宰,並不住在人手建造的廟宇裡, 25也不需要人的侍奉,因為祂一無所缺。祂將生命、氣息和萬物賜給世人。 26祂從一人造出萬族,讓他們散居世界各地,又預先定下他們的期限和居住的疆界, 27以便他們在其間尋求祂,或許他們可以摸索著找到祂。祂原本就離我們各人不遠, 28我們的生活、行動和存在都靠祂,你們的詩人也說過,『我們是祂的子孫。』 29我們既然是上帝的子孫,就不該認為上帝是人憑手藝和想象用金、銀、石頭所雕刻的樣子。

30「上帝以往不鑒察世人的無知,現在則命令世上所有的人都要悔改。 31因為祂已經定了日子,要藉祂所設立的人按公義審判這個世界。祂叫那人從死裡復活,給了全人類可信的憑據。」

32聽見保羅提到死人復活的事,有些人就嘲笑他,還有些人說:「我們改天再聽你講這個。」 33於是保羅離開了他們。 34不過,也有人跟隨保羅,信了耶穌,其中有亞略·巴古的會員丟尼修和一位名叫戴瑪麗的婦人及其他人。