Danyeri 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 1:1-21

Okutendekebwa kwa Danyeri mu Babulooni

11:1 a 2Bk 24:1 b 2By 36:6Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba Yerusaalemi. 21:2 2By 36:7; Yer 27:19-20; Zek 5:5-11Mukama n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n’ebintu ebimu eby’omu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza n’abiggyamu n’abitwala e Babulooni n’abiteeka mu ggwanika ery’omu ssabo lya lubaale we.

31:3 2Bk 20:18; 24:15; Is 39:7Nebukadduneeza n’alagira Asupenaazi omukulu w’abalaawe be alonde mu Bayisirayiri ab’omu lulyo olulangira, ne mu bakungu, 4abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu by’amagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obw’okubayigirizanga amagezi g’Abakaludaaya, n’olulimi lwabwe. 51:5 a nny 8, 10 b nny 19Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.

61:6 Ez 14:14Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya. 71:7 a Dan 4:8; 5:12 b Dan 2:49; 3:12Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.

81:8 Ez 4:13-14Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa. 91:9 a Lub 39:21; Nge 16:7 b 1Bk 8:50; Zab 106:46Mu biro ebyo Katonda n’akozesa Asupenaazi okulaga ekisa n’okusaasira eri Danyeri. 10Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.” 11Awo Danyeri n’agamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti, 12“Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa n’amazzi ag’okunywa. 13N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.” 14N’akkiriziganya nabo ku nsonga eyo, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 151:15 Kuv 23:25Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka. 161:16 nny 12-13Awo omusigire n’alekayo okubawa emmere yaabwe ey’enjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, n’abawa enva endiirwa.

171:17 a 1Bk 3:12 b Dan 2:23; Yak 1:5 c Dan 2:19, 30; 7:1; 8:1Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.

181:18 nny 5Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza. 191:19 Lub 41:46Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka. 201:20 1Bk 4:30; Dan 2:13, 28Buli nsonga ey’amagezi n’ey’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo n’abafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.

211:21 Dan 6:28; 10:1Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

但以理书 1:1-21

但以理被掳到巴比伦

1犹大约雅敬执政第三年,巴比伦尼布甲尼撒前来围攻耶路撒冷2主将犹大约雅敬及上帝殿中的部分器具交在他手中。他把器具掳到巴比伦1:2 巴比伦”希伯来文是“示拿”,巴比伦的别称。的神庙,放在他神明的库房里。

3王吩咐太监长亚施毗拿以色列的王室贵族中选一些人, 4即毫无残疾、相貌英俊、学问渊博、知识丰富、聪慧善学、能在王宫服侍的青年,教他们迦勒底的语言和文字。 5王安排他们每日享用一份御用的膳食和酒。他们要受教养三年,期满后好在王身边供职。 6被选的人中有犹大族的但以理哈拿尼雅米沙利亚撒利雅7太监长给他们起了名字:称但以理伯提沙撒哈拿尼雅沙得拉米沙利米煞亚撒利雅亚伯尼歌

8然而,但以理决心不用王的膳食和酒,以免玷污自己。他请求太监长准许他不玷污自己。 9上帝使但以理得到太监长的恩待和同情。 10不过,太监长对但以理说:“我惧怕我主我王,因为这是他安排给你们的饮食。如果他看见你们比同龄的青年瘦弱,如何是好?你们会使我在王面前人头难保。” 11但以理便对太监长派来监管他、哈拿尼雅米沙利亚撒利雅的人说: 12“求你试试看,十天内只让仆人们吃素菜、喝清水, 13然后比较一下我们的面貌和那些用御膳的青年的面貌,看了之后再作决定。” 14监管同意试他们十天。 15十天后,但以理和他三个朋友看上去比那些用御膳的青年更俊美健康。 16于是,监管撤去了安排给他们的膳食和酒,只给他们素菜。

17上帝使这四个青年精通各样学问和知识。但以理能明白各种异象和梦兆。 18到了尼布甲尼撒王规定青年们进宫的日子,太监长便带他们去见王。 19王与他们谈话,发现无人比得上但以理哈拿尼雅米沙利亚撒利雅,便把他们留在身边供职。 20王询问他们各样的事,发现他们的智慧和聪明比全国的术士和巫师高十倍。 21直到塞鲁士王元年,但以理仍在那里供职。