Koseya 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 1:1-11

11:1 a Is 1:1; Mi 1:1 b 2Bk 13:13 c Am 1:1Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.

Koseya Afuna Amaka

21:2 a Yer 3:1; Kos 2:2, 5; 3:1 b Ma 31:16; Yer 3:14; Ez 23:3-21; Kos 5:3Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” 3Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.

41:4 2Bk 10:1-14; Kos 2:22Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. 51:5 2Bk 15:29Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”

61:6 a nny 3 b Kos 2:4Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. 71:7 a Zab 44:6 b Zek 4:6Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”

8Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. 9Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.

101:10 a Lub 22:17; Yer 33:22 b nny 9; Bar 9:26*“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. 111:11 a Is 11:12, 13 b Yer 23:5-8 c Ez 37:15-28Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

何西阿书 1:1-11

1乌西雅约坦亚哈斯希西迦犹大王,约阿施的儿子耶罗波安以色列王期间,耶和华将祂的话传给备利的儿子何西阿

何西阿娶妓女为妻

2耶和华首次向何西阿说话时,对他说:“你去娶一个妓女为妻,和她生养儿女,因为这片土地上的人极其淫乱,背弃了耶和华。” 3于是,何西阿娶了滴拉音的女儿歌蜜为妻,她怀孕为他生了一个儿子。 4耶和华对何西阿说:“给他取名叫耶斯列1:4 耶斯列”意思是“上帝撒种”。此处指上帝要像撒种一样驱散以色列人,但在1:11指上帝要赐福他们,就像撒种后获得了大丰收。,因为再过不久,我就要因耶户家在耶斯列的屠杀而惩罚他们,消灭以色列国。 5那时,我要在耶斯列平原折断以色列的弓。” 6后来,歌蜜又怀孕生了一个女儿。耶和华对何西阿说:“给她取名叫罗·路哈玛1:6 罗·路哈玛”意思是“不蒙怜悯”。,因为我将不再怜悯以色列家,也不再赦免他们的罪。 7但我要怜悯犹大家,使他们依靠他们的上帝耶和华得到拯救,而不是依靠战弓、刀剑、马匹、骑兵和战争。” 8罗·路哈玛断奶后,歌蜜又怀孕生了一个儿子。 9耶和华说:“给他取名叫罗·阿米1:9 罗·阿米”意思是“不是我的子民”。,因为以色列人不再是我的子民,我也不再是他们的上帝。

以色列的复兴

10“然而,以色列的人数必像海沙一样量不尽、数不完。从前我在什么地方对他们说‘你们不是我的子民’,将来也要在那里对他们说‘你们是永活上帝的儿女’。 11那时,犹大人和以色列人将被聚集起来,为自己选立一位首领,从流亡之地返回故乡,安居乐业。耶斯列的日子将是伟大的日子。