Amosi 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Amosi 5:1-27

Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri

15:1 Ez 19:1Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.

25:2 a Yer 14:17 b Yer 50:32; Am 8:14“Isirayiri embeerera agudde

obutayimuka nate.

Bamwabulidde

era tewali amuyimusa.”

35:3 Is 6:13; Am 6:9Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo

kirisigazaawo kikumi bokka,

n’ekyo ekiweereza ekikumi,

kirizza kkumi bokka!”

45:4 Is 55:3; Yer 29:13Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,

“Munnoonye kale munaabanga balamu.

55:5 a 1Sa 11:14; Am 4:4 b Am 8:14 c 1Sa 7:16Temunnoonyeza Beseri

so temulaga Girugaali

wadde okulaga e Beeruseba.

Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse

era ne Beseri kiriggwaawo.”

65:6 a Is 55:6 b nny 14 c Ma 4:24 d Am 3:14Munoonye Mukama munaabanga balamu

aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;

guligyokya

nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

75:7 Am 6:12Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa

mutulugunya obutuukirivu.

85:8 a Yob 9:9 b Is 42:16 c Zab 104:20; Am 8:9 d Zab 104:6-9; Am 4:13Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi

era afuula ekisiikirize okubeera enkya

era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,

ayita amazzi g’omu nnyanja

ne gafukirira ensi ng’enkuba,

Mukama lye linnya lye.

95:9 Mi 5:11Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi

era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.

105:10 a Is 29:21 b 1Bk 22:8Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya

era munyooma n’abo aboogera amazima.

115:11 a Am 8:6 b Am 3:15 c Mi 6:15Olinnyirira omwavu,

n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.

Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,

temuligabeeramu;

era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,

temulinywa ku wayini waamu.

125:12 Is 5:23; Am 2:6-7Ebibi byammwe mbimanyi,

nga bingi ate nga bisasamaza.

Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,

abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.

13Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo

kubanga ennaku mbi.

14Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi

munaabeeranga balamu!

Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe

nga bulijjo bwe mumuyita.

155:15 a Zab 97:10; Bar 12:9 b Yo 2:14 c Mi 5:7, 8Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi

era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.

Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa

abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.

165:16 a Yer 9:17 b Yo 1:11Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo

n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.

N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,

n’abakungubazi bakube ebiwoobe.

175:17 a Kuv 12:12 b Is 16:10; Yer 48:33Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu

kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”

185:18 a Yo 1:15 b Yo 2:2 c Is 5:19, 30; Yer 30:7Zibasanze mmwe abasuubira

olunaku lwa Mukama.

Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?

Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.

195:19 Yob 20:24; Is 24:17-18; Yer 15:2-3; 48:44Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma

n’asisinkana eddubu,

bw’aba ng’ayingira mu nnyumba

ne yeekwata ku kisenge,

ate n’abojjebwa omusota.

205:20 Is 13:10; Zef 1:15Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,

ng’ekizikiza ekikutte ennyo?

215:21 a Lv 26:31 b Is 1:11-16Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini

so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.

225:22 Is 66:3; Am 4:4; Mi 6:6-7Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,

sijja kubikkiriza.

Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,

siribikkiriza.

235:23 Am 6:5Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.

Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.

245:24 a Yer 22:3 b Mi 6:8Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,

n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.

255:25 a Is 43:23 b Ma 32:17“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu

emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?

26Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,

amaanyi ga bakatonda bammwe,

n’emmunyeenye ya katonda wammwe,

bye mwekolera mmwe.

275:27 Am 4:13; Bik 7:42-43*Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”

bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.