Amosi 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Amosi 6:1-14

Mukama anenya abali mu Mirembe

16:1 a Luk 6:24 b Is 32:9-11Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,

n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.

Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,

abantu ba Isirayiri gye beeyuna.

26:2 a Lub 10:10 b 2Bk 18:34 c 2By 26:6 d Nak 3:8Mugende mulabe e Kalune;

muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,

ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.

Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?

Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?

36:3 Is 56:12; Am 9:10Mulindiriza olunaku olw’ekibi,

ate ne musembeza effugabbi.

46:4 Ez 34:2-3; Am 3:12Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga

ne muwummulira mu ntebe ennyonvu

nga muvaabira ennyama y’endiga

n’ey’ennyana ensava.

56:5 a Is 5:12; Am 5:23 b 1By 15:16Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,

ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.

66:6 a Am 2:8 b Ez 9:4Mwekatankira wayini,

ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,

naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.

7Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.

Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.

86:8 a Lub 22:16; Beb 6:13 b Lv 26:30 c Zab 47:4 d Am 4:2 e Ma 32:19Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,

“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,

nkyawa ebigo bye,

era nzija kuwaayo ekibuga

ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”

96:9 Am 5:3Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 106:10 a 1Sa 31:12 b Am 8:3Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”

116:11 a Am 3:15 b Is 55:11Laba Mukama alagidde,

ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,

n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.

126:12 a Kos 10:4 b Am 5:7Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?

Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?

Naye obwenkanya mubufudde obutwa

n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.

136:13 Yob 8:15; Is 28:14-15Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.

Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”

146:14 a Yer 5:15 b 1Bk 8:65 c Am 3:11Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,

“Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;

liribajooga ebbanga lyonna

okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”