2 Bassekabaka 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 1:1-18

Mukama asalira Akaziya Omusango

11:1 Lub 19:37; 2Sa 8:2; 2Bk 3:5Awo Akabu ng’amaze okufa, ab’omu nsi ya Mowaabu ne bajeemera Abayisirayiri. 21:2 a nny 16 b Mak 3:22 c 1Sa 6:2; Is 2:6; 14:29; Mat 10:25 d Bal 18:5; 2Bk 8:7-10Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi1:2 Baaluzebubi kitegeeza “mukama w’ensowera.” Erinnya eryo likozesebwa okunyooma katonda w’Abakanani ayitibwa Beeruzebuli (omulangira w’abadayimooni) mu Matayo 10:25; 12:27. bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.

31:3 a nny 15; Lub 16:7 b 1Bk 17:1 c 1Sa 28:8Malayika wa Mukama n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’ 41:4 nny 6, 16; Zab 41:8Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, toliwona bulwadde bwo, naye ogenda kufa.” Eriya bwe yamala okwogera ebyo n’agenda.

5Oluvannyuma lw’ebyo, ababaka kabaka be yatuma ne baddayo eri kabaka, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakomezaawo amangu?”

6Ne bamuddamu nti, “Waliwo omusajja eyatusisinkanye mu kkubo n’atugamba nti, ‘Muddeyo eri kabaka mumugambe nti olw’okugenda eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, n’otogenda kwebuuza ku Katonda wa Isirayiri, togenda kuva ku kitanda ekyo era togenda kuwona bulwadde obwo wabula ogenda kufa.’ ”

7N’ababuuza nti, “Omusajja oyo gwe musisinkanye abadde afaanana atya?”

81:8 1Bk 18:7; Zek 13:4; Mat 3:4; Mak 1:6Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.”

Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.”

91:9 a 2Bk 6:14 b Kuv 18:25; Is 3:3Awo kabaka n’atuma omukulu eyali akulira ekibinja ky’abasajja amakumi ataano n’abasajja be eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya, yamusanga atudde ku ntikko eya kasozi, n’amugamba nti, “Musajja wa Katonda, kabaka akwetaaga.”

101:10 1Bk 18:38; Luk 9:54; Kub 11:5; 13:13Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.

11Kabaka bwe yawulira ebyo n’atuma omukulu omulala n’ekibinja kye eky’amakumi ataano eri Eriya. Omukulu oyo eyatumibwa n’agamba Eriya nti, “Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akuyita mangu.”p 12Eriya n’amuddamu nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, kale omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo.” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.

131:13 1Sa 26:21; Zab 72:14Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa. 14Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.”

151:15 a nny 3 b Is 51:12; 57:11; Yer 1:17; Ez 2:6Awo malayika wa Mukama n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka.

161:16 a nny 2 b nny 4Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” 171:17 a 2Bk 8:15; Yer 20:6; 28:17 b 2Bk 3:1; 8:16N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali.

Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda. 18Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Akaziya ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪下 1:1-18

耶和华责备亚哈谢

1亚哈死后,摩押背叛以色列2一天,亚哈谢撒玛利亚王宫的楼台上掉下来,受了伤,就派使者去求问以革伦的神明巴力·西卜,看自己能否痊愈。 3耶和华的天使对提斯比以利亚说:“你去截住撒玛利亚王的使者,对他们说,‘你们为什么去求问以革伦的神明巴力·西卜?难道以色列没有上帝吗?’ 4因此耶和华说,‘亚哈谢再也不能下床了,他必定死。’”以利亚就去了。

5以利亚将天使的话告诉王的使者后,他们便回去见王。王问他们:“你们为什么这么快就回来了?” 6他们答道:“有一个人在路上截住我们,要我们回来告诉你,耶和华对你说,‘你差人去求问以革伦的神明巴力·西卜,是因为以色列没有上帝吗?因此,你再也不能下床了,你必定死。’” 7王又问他们:“在路上截住你们、对你们说这些话的,是什么样的人?” 8他们答道:“那人身穿毛皮衣服,腰束皮带。”王说:“他是提斯比以利亚。”

9于是,王派一个五十夫长率领五十人去找以利亚。那时,以利亚正坐在山顶上。五十夫长到了那里,对他说:“上帝的仆人啊,王命令你下来。” 10以利亚说:“我若是上帝的仆人,愿火从天降下烧死你和你的五十个部下。”火立刻从天降下,烧死了五十夫长和他的五十个部下。 11亚哈谢王又派一个五十夫长率领五十人去以利亚那里,五十夫长对以利亚说:“上帝的仆人啊,王命令你马上下来。” 12以利亚说:“我若是上帝的仆人,愿火从天降下,烧死你和你的五十个部下。”上帝的火从天降下,烧死了五十夫长和他的五十个部下。

13王再次派一个五十夫长率领五十人前去。五十夫长上去,双膝跪在以利亚面前,哀求道:“上帝的仆人啊,求你饶了我和你的五十名仆人的性命。 14前两个五十夫长和他们的部下都被天上降下的火烧死了,现在求你饶我一命!” 15耶和华的天使对以利亚说:“不要害怕,跟他去吧!”以利亚就起来跟他去见王。 16以利亚对王说:“耶和华说,‘你差人去求问以革伦的神明巴力·西卜,是因为以色列没有上帝可以求问吗?因此,你再也不能下床了,你必定死。’”

17亚哈谢果然死了,正如耶和华借以利亚所说的。他没有儿子,他兄弟约兰继位,那年是犹大约沙法的儿子约兰执政第二年。 18亚哈谢其他的事都记在以色列的列王史上。