1 Samwiri 22 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 22:1-23

Dawudi ng’ali Adulamu n’e Mizupe

122:1 2Sa 23:13; Zab 57; 142Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana. 222:2 1Sa 23:13; 25:13; 2Sa 15:20N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.

3Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu22:3 Omu ku bajjajja ba Dawudi yali Mumowaabu (Lus 1:22; 4:17-22). nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.” 4N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.

522:5 2Sa 24:11; 1By 21:9; 29:29; 2By 29:25Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi.

Sawulo Atta Bakabona b’e Nobu

622:6 a Bal 4:5 b Lub 21:33Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. 722:7 1Sa 8:14Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? 822:8 a 1Sa 18:3; 20:16 b 1Sa 23:21Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”

922:9 a 1Sa 21:7; Zab 52 b 1Sa 21:1Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. 1022:10 a Kbl 27:21; 1Sa 10:22 b 1Sa 21:6Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”

11Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. 12Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”

N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”

1322:13 nny 8Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”

1422:14 1Sa 19:4Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? 15Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”

16Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”

1722:17 Kuv 1:17Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”

Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.

1822:18 1Sa 2:18, 31Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 1922:19 1Sa 15:3N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.

2022:20 a 1Sa 23:6, 9; 30:7; 1Bk 2:22, 26, 27 b 1Sa 2:32Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi. 21Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba Mukama. 2222:22 1Sa 21:7Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa. 2322:23 1Bk 2:26Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 22:1-23

扫罗残杀祭司

1大卫离开迦特,逃到亚杜兰洞。他的兄弟和亲属知道后,都来到他那里, 2所有受压迫的、负债的和心怀不满的人都纷纷来投奔他。大卫就做了他们的首领,跟随他的有四百多人。 3后来,大卫摩押米斯巴去,请求摩押王收留他的父母,直到他明白上帝给他的安排为止。 4大卫把父母留在了摩押王那里。在大卫住堡垒期间,他的父母一直住在摩押5迦得先知吩咐大卫离开堡垒回犹大去,大卫就动身前往哈列的树林。

6当时,扫罗正在基比亚拉玛,坐在垂丝柳下,手中拿着矛,臣仆侍立在左右。他得知大卫一行人的行踪后, 7就对左右的臣仆说:“便雅悯人啊,你们听着!难道耶西的儿子会给你们田地和葡萄园吗?他能立你们做千夫长和百夫长吗? 8为什么你们一同谋害我?我的儿子跟耶西的儿子立约,没有人告诉我。就是今天我的儿子鼓动我的臣仆来谋害我,也没有人关心我,告诉我。” 9以东多益正站在扫罗的臣仆中,他说:“我在挪伯亲眼看见耶西的儿子到了亚希突的儿子亚希米勒那里。 10亚希米勒为他求问耶和华,给他食物,还把非利士歌利亚的刀给了他。”

11于是,扫罗派人把挪伯的祭司——亚希突的儿子亚希米勒及其家人都召来。他们都来到王面前。 12扫罗说:“亚希突的儿子,听着!”亚希米勒答道:“我主啊,我在这里。” 13扫罗说:“你为什么和耶西的儿子一同谋害我?你为什么把食物和刀给他,又为他求问耶和华,使他像今天这样背叛我,伺机害我呢?” 14亚希米勒答道:“王的臣仆中有谁像大卫那样忠心呢?他是王的女婿,又是王的护卫长,在王室中受尊重。 15那也不是我第一次为他求问耶和华,求王不要因这事加罪于我或我的家人,因为我根本不知道谋反的事。” 16王却说:“亚希米勒啊,你和你全家都必死无疑!” 17他就命令身旁的护卫,说:“把这些耶和华的祭司杀掉,因为他们跟大卫同谋,明知道大卫在潜逃,却不来告诉我。”扫罗的臣仆不愿意下手杀害耶和华的祭司。 18扫罗就对多益说:“你去把祭司杀掉!”以东多益就杀了他们。那天,他下手杀了八十五个穿细麻布以弗得的祭司。 19他又把祭司城挪伯的男女老少、牛羊和驴全部杀掉。

20只有亚希米勒的一个儿子亚比亚他逃出去,投奔了大卫21亚比亚他扫罗屠杀耶和华祭司的事告诉了大卫22大卫说:“那天我见以东多益在那里,就知道他一定会告诉扫罗。是我连累了你父亲一家。 23你就放心留在我这里,不要害怕,谁想杀你,就是想杀我。你在我这里很安全。”