1 Samwiri 21 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 21:1-15

Dawudi ng’ali e Nobu

121:1 a 1Sa 14:3; 22:9, 19; Nek 11:32; Is 10:32 b 1Sa 16:4Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?” 2Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana. 3Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.”

421:4 a Lv 24:8-9 b Kuv 25:30; Mat 12:4 c Kuv 19:15Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.” 521:5 1Bs 4:4Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?” 621:6 Lv 24:8-9; Mat 12:3-4; Mak 2:25-28; Luk 6:1-5Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.

721:7 a 1Sa 22:9, 22 b 1Sa 14:47; Zab 52Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa. 8Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.” 921:9 a 1Sa 17:51 b 1Sa 17:2Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.”

Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.”

Dawudi Addukira e Gaasi

1021:10 1Sa 27:2Ku lunaku olwo Dawudi n’adduka Sawulo n’agenda eri Akisi kabaka w’e Gaasi. 1121:11 1Sa 18:7; 29:5; Zab 56Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti,

“ ‘Sawulo asse enkumi ze

ne Dawudi emitwalo gye?’ ”

12Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi. 1321:13 Zab 34Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.

14Akisi n’agamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde? 15Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 21:1-15

大卫逃亡

1大卫来到挪伯的祭司亚希米勒那里。亚希米勒战战兢兢地出来迎接他,问道:“你为什么独自一人,没有随从呢?” 2大卫答道:“王差遣我来办一件事,他吩咐我不可把事情泄露给任何人。我已经吩咐部下在某处跟我会合。 3现在你这里有什么吃的吗?请给我五个饼,或任何吃的东西。” 4祭司答道:“我们没有普通的饼,只有圣饼21:4 圣饼”指分别出来献给耶和华的饼。,如果你的部下没有亲近过女色,就可以吃。” 5大卫答道:“当然没有亲近过女色。每逢我们出来办事,即使是平常的任务,我的部下总是保持圣洁,何况这次是特别的任务。” 6于是,祭司把圣饼给他,因为那里没有别的饼,只有从耶和华的会幕里更换下来的供饼。 7那天,扫罗的司牧长以东多益碰巧在耶和华的会幕。 8大卫亚希米勒:“你这里有没有刀枪?因为王的事紧急,仓促间我连兵器也没有带。” 9祭司答道:“你在以拉谷杀的非利士歌利亚的刀在这里,用布包着放在以弗得后面。如果你要就拿去吧,这里没有别的刀了。”大卫答道:“这刀再好不过了,把它给我吧。”

10那日,大卫为了躲避扫罗,逃往迦特亚吉那里。 11亚吉的臣仆对亚吉说:“这个大卫不是以色列的王吗?民众跳舞歌唱‘扫罗杀死千千,大卫杀死万万’,歌颂的不是他吗?” 12大卫听到这些话,担心迦特亚吉会加害于他, 13就在他们面前装作疯子,在城门上胡乱涂画,任由唾沫沿着胡子流下来。 14亚吉对臣仆说:“你们看,这是个疯子,为什么把他带到我这里来? 15我这里缺少疯子吗?你们怎么可以把这个家伙带到我家里,在我面前疯疯癫癫呢?”