1 Samwiri 17 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 17:1-58

Dawudi ne Goliyaasi

117:1 a 1Sa 13:5 b Yos 15:35; 2By 28:18Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka. 217:2 1Sa 21:9Sawulo n’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana, bo ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n’Abafirisuuti. 3Abafirisuuti ne bayimirira ku luuyi olumu olw’olusozi, n’Abayisirayiri ne bayimirira ku luuyi olulala olw’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.

417:4 Yos 11:21-22; 2Sa 21:19Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi17:4 Goliyaasi yali muzzukulu w’Abanakimu abaali kumpi okuzikirizibwa bamalibwewo Yoswa. Kyokka abamu ku bo baasigalawo mu Gaaza, ne Asukulooni, ne Gaasi, era eyo Goliyaasi gye yava., ery’e Gaasi, ng’obuwanvu bwalyo lyali mita ssatu n’okusingawo. 5Lyalina enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde n’ekizibaawo eky’ekikomo, n’obuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu. 617:6 nny 45Lyali lyambadde eby’ebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu ery’ekikomo ku kibegabega kyalyo. 717:7 a 2Sa 21:19 b nny 41N’olunyago lw’effumu lyalyo lwali ng’omuti ogulukirwako engoye, n’omutwe gw’effumu ogw’ekyuma ng’obuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu.

817:8 1Sa 8:17Awo Goliyaasi n’ayimirira n’aboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi. 9Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.” 1017:10 nny 26, 45; 2Sa 21:21Era Omufirisuuti n’ayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.” 11Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo eby’Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.

1217:12 a Lus 4:17; 1By 2:13-15 b Lub 35:19 c 1Sa 16:11Dawudi yali mutabani wa Yese Omwefulasi ow’e Besirekemu mu Yuda. 1317:13 a 1Sa 16:6 b 1Sa 16:9Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo.

Batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Omukulu ye yali Eriyaabu, owookubiri nga ye Abinadaabu, n’owookusatu nga ye Samma. 14Dawudi ye yali omuto. Abasatu ne bagenda ne Sawulo, 1517:15 1Sa 16:19naye Dawudi n’addiŋŋananga ng’ava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ng’agenda ewa Sawulo.

16Omufirisuuti n’amala ennaku amakumi ana ng’asoomooza Abayisirayiri enkya n’akawungeezi. 1717:17 1Sa 25:18Yese n’agamba mutabani we Dawudi nti, “Kwata ekkilo zino amakumi abiri ez’eŋŋaano ensiike n’emigaati gino ekkumi, oyanguwe okubitwalira baganda bo mu lusiisira lwabwe. 1817:18 Lub 37:14Ate ne bino ebitole ekkumi eby’amata (kiizi17:18 Kiizi akolebwa mu mata agakute, nga yeefaananyiriza amata agakutte aga bongo, naye ye kiizi ng’akaluba) bitwalire omuduumizi w’ekibinja kyabwe. Olabe baganda bo nga bwe bali okomyewo obubaka obunaatugumya. 19Bali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana n’Abafirisuuti.”

20Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo. 21Isirayiri n’Abafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo. 22Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be. 2317:23 nny 8-10Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira. 24Awo Abayisirayiri bwe baalaba omusajja ne batya ne bamudduka mu kutya okw’ekitalo. 2517:25 Yos 15:16; 1Sa 18:17Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.”

2617:26 a 1Sa 11:2 b 1Sa 14:6 c nny 10 d Ma 5:26Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Kiki ekirikolerwa omuntu alitta Omufirisuuti oyo, n’aggya obuswavu buno ku Isirayiri? Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?” 27Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.”

2817:28 Lub 37:4, 8, 11; Nge 18:19; Mat 10:36Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ng’ayogera n’abasajja, obusungu ne bumukwata, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go n’ekyejo ky’olina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.”

29Dawudi n’ayogera nti, “Kaakano nkoze ki? Siyinza kubaako kye mbuuza? Mbuuzizza bubuuza.” 30N’akyuka n’abuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri y’emu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose. 31Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo n’amutumya.

3217:32 Ma 20:3; 1Sa 16:18Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” 3317:33 Kbl 13:31Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”

3417:34 Yer 49:19; Am 3:12Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, 35nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. 36Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” 3717:37 a 2Ko 1:10 b 2Ti 4:17 c 1Sa 20:13; 1By 22:11, 16Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”

Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.” 38Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. 39Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. 40N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.

41Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. 4217:42 a 1Sa 16:12 b Zab 123:3-4; Nge 16:18Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. 4317:43 1Sa 24:14; 2Sa 3:8; 9:8; 2Bk 8:13N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. 4417:44 1Bk 20:10-11Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”

4517:45 a 2Sa 22:33, 35; 2By 32:8; Zab 124:8; Beb 11:32-34 b nny 10Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 4617:46 a Ma 28:26 b Yos 4:24; 1Bk 8:43; Is 52:10 c 1Bk 18:36; 2Bk 19:19; Is 37:20Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 4717:47 a Kos 1:7; Zek 4:6 b 1Sa 14:6; 2By 14:11 c 2By 20:15; Zab 44:6-7Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”

48Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. 49Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye. 5017:50 2Sa 23:21Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte.

5117:51 a Beb 11:34 b 1Sa 21:9Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo.

Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka. 5217:52 a Yos 15:11 b Yos 15:36Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka n’okuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa n’abaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi n’e Ekuloni. 53Awo Abayisirayiri bwe baakomawo okuva mu kugoberera Abafirisuuti, ne banyaga olusiisira lw’Abafirisuuti. 54Dawudi n’asitula omutwe gw’Omufirisuuti n’aguleeta e Yerusaalemi, naye ebyokulwanyisa by’Omufirisuuti n’abiteeka mu weema ye.

5517:55 1Sa 16:21Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.” 56Kabaka n’ayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde b’omuvubuka oyo.” 57Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. 5817:58 nny 12Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 17:1-58

大衛迎戰歌利亞

1非利士人在猶大梭哥招聚軍隊,準備作戰。他們在梭哥亞西加之間的以弗·大憫紮營。 2掃羅以色列人也聚集起來在以拉谷安營,擺好陣勢準備迎戰。 3雙方的軍隊在兩邊的山上對峙,中間隔著山谷。 4非利士營中有個名叫歌利亞的巨人出來討戰。他來自迦特,身高三米, 5頭戴銅盔,身穿重達五十七公斤的鎧甲, 6腿上有銅護膝,肩背銅戟。 7戟柄粗如織布機的軸,鐵戟頭重七公斤。有衛士拿著他的盾牌走在前面。 8他挑戰以色列人,說:「你們為什麼列陣打仗呢?我是非利士人,你們是掃羅的僕人,你們選一個人下來跟我一比高下。 9如果他打得過我,將我殺了,我們就做你們的奴隸。但如果我戰勝他,把他殺了,你們就要做我們的奴隸,服侍我們。 10我今天向以色列軍隊罵陣,你們找一個人出來跟我比個高下吧!」 11掃羅和所有以色列人聽了非利士人的這些話,都嚇得驚恐不已。

12大衛以法他耶西的兒子。掃羅執政期間,耶西已經年紀老邁,住在猶大伯利恆,有八個兒子。 13他的三個兒子已經跟隨掃羅去打仗了,他們是長子以利押、次子亞比拿達和三子沙瑪14大衛年紀最小,他的三個哥哥跟隨掃羅期間, 15他有時去掃羅的軍營,有時回伯利恆為他父親放羊。 16非利士人早晚都出來罵陣,長達四十天。

17一天,耶西大衛說:「你帶上十公斤烤麥和十個餅,趕快到軍營中送給你的哥哥們。 18再帶十塊奶餅送給他們的千夫長,看望一下他們,帶個信兒回來。 19他們跟隨掃羅率領的以色列軍在以拉谷跟非利士人打仗。」

20大衛清早起來把羊交給一個牧人看顧,然後照父親的吩咐帶著食物出發了。他來到軍營的時候,大軍正吶喊著出戰。 21以色列人與非利士人擺好陣勢,兩軍對壘。 22大衛把帶來的東西交給負責看守的人保管,自己跑到陣中去問候哥哥們。 23他們正在交談的時候,非利士軍中的迦特歌利亞出來像往常一樣向以色列軍罵陣,大衛都聽見了。 24以色列人一看見歌利亞都競相奔逃,極其害怕。 25以色列人彼此議論說:「看那個人!他是來向以色列軍罵陣的。誰要能殺死他,王必有重賞,還會把女兒嫁給他為妻,並免去他父親家在以色列應繳的賦稅。」 26大衛問站在旁邊的人:「如果有人殺了這非利士人,洗掉以色列人的羞辱,他會得到什麼呢?這個未受割禮的非利士人是誰?竟敢向永活上帝的軍隊罵陣!」 27他們就把剛才的話一一告訴大衛

28大衛的長兄以利押聽見他跟人說話,就憤怒地對他說:「你來這裡做什麽?你把曠野的那幾隻羊交給誰了?我知道你驕傲自大,心懷惡意,你來只是想看打仗。」 29大衛說:「我做錯了什麼?我問一下都不行嗎?」 30他又去問其他人同樣的問題,得到了同樣的答覆。 31有人聽見了大衛的話,就去告訴掃羅掃羅便派人來召大衛32大衛掃羅說:「大家不要因這個非利士人而喪膽,讓僕人去戰他。」 33掃羅說:「你不能去,你年紀還小,他卻是一個久經沙場的戰士。」 34大衛說:「我一直替父親放羊,有時候獅子或熊會從羊群中叼走羊, 35我會去追打牠,把羊從牠口中救出來。如果牠起來攻擊我,我就揪著牠的鬍子把牠打死。 36我曾打死過獅子和熊。這未受割禮的非利士人竟敢向永活上帝的軍隊罵陣,他的下場也必像獅子和熊一樣。 37耶和華曾經從獅子和熊的利爪下拯救我,祂也必從非利士人手中拯救我。」掃羅大衛說:「去吧,願耶和華與你同在。」 38掃羅把自己的戰袍給大衛穿上,又給他戴上自己的頭盔,穿上自己的鎧甲。 39大衛把刀挎在戰袍上,試著走了幾步,卻不習慣這種裝束,就對掃羅說:「我穿著這些無法作戰,因為我不習慣。」他便摘下頭盔,卸下鎧甲, 40然後拿著杖,在溪裡撿了五塊光滑的石頭放進牧人用的袋子,拿著投石器向歌利亞走去。

41歌利亞也迎著大衛走來,衛士拿著他的盾牌走在前面。 42歌利亞大衛是個面色紅潤、相貌英俊的少年,就藐視他。 43他對大衛說:「你拿著棍子來戰我,難道我是一條狗嗎?」他就憑自己的神明咒詛大衛44又說:「你過來,我要把你的肉丟給天上的飛禽和地上的走獸。」 45大衛答道:「你是靠刀槍劍戟來攻擊我,我是靠萬軍之耶和華的名,就是你所蔑視的以色列軍隊的上帝來迎戰你。 46今天,耶和華必把你交在我手中,我必殺死你,砍掉你的頭,用非利士軍兵的屍體餵天上的飛禽和地上的走獸,使普天下都知道以色列有上帝。 47這裡所有的人都必知道耶和華拯救人不靠刀槍,因為祂掌管戰爭的勝負。祂必把你們交在我們手中。」 48歌利亞迎面走來的時候,大衛就飛快地跑上去應戰, 49他從袋裡拿出一塊石子用投石器猛力拋去,石子擊中歌利亞的額頭,嵌了進去,他迎面栽倒在地。

50大衛就這樣不用刀劍,只用投石器和一塊石子戰勝了那個非利士人,殺死了他。 51大衛跑到那非利士人身邊,從他刀鞘裡拔出刀殺了他,並割下他的頭顱。非利士人看見自己的英雄死了,紛紛逃跑。 52以色列人和猶大人乘勢吶喊,追殺非利士人,直追到迦特以革倫的城門。通往迦特以革倫沙拉音大道上到處是非利士人的屍體。 53以色列軍隊追殺非利士人回來,又擄掠了他們的營地。 54大衛把那非利士人的頭顱帶到耶路撒冷,把那人的兵器存放在自己的帳篷中。

55掃羅看見大衛出去迎戰歌利亞,就問押尼珥元帥:「押尼珥啊,那少年是誰的兒子?」押尼珥答道:「王啊,我向你發誓,我真的不知道。」 56掃羅王說:「你去查查他是誰的兒子。」 57大衛殺了歌利亞回來,押尼珥就把他帶到掃羅那裡,他手上還拿著那非利士人的頭顱。 58掃羅問他:「年輕人,你是誰的兒子?」大衛答道:「我是你僕人伯利恆耶西的兒子。」