1 Samwiri 18 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 18:1-30

Omukwano gwa Yonasaani ne Dawudi

118:1 a 2Sa 1:26 b Lub 44:30Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. 2Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. 318:3 1Sa 20:8, 16, 17, 42Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. 418:4 Lub 41:42Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.

5Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.

Sawulo Akwatirwa Dawudi Obuggya

618:6 a Kuv 15:20 b Bal 11:34; Zab 68:25Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli. 718:7 a Kuv 15:21 b 1Sa 21:11; 29:5Baazinanga ate nga bwe bayimba nti,

“Sawulo asse enkumi ze

Dawudi n’atta emitwalo gye.”

818:8 1Sa 15:8Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?” 9Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo n’akwatirwa Dawudi obuggya.

1018:10 a 1Sa 16:14 b 1Sa 19:7Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze, 1118:11 a 1Sa 20:7, 33 b 1Sa 19:10n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri.

1218:12 a nny 15, 29 b 1Sa 16:13 c 1Sa 28:15Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo. 1318:13 a nny 16; Kbl 27:17 b 2Sa 5:2Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu. 1418:14 a Lub 39:3 b Lub 39:2, 23; Yos 6:27; 1Sa 16:18Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga Mukama yali wamu naye. 15Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya. 1618:16 nny 5Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.

1718:17 a 1Sa 17:25 b Kbl 21:14; 1Sa 25:28 c nny 25Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.” 1818:18 a 1Sa 9:21; 2Sa 7:18 b nny 23Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” 1918:19 a 2Sa 21:8 b Bal 7:22Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa.

2018:20 nny 28Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira. 2118:21 nny 17, 26Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”

22Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ” 23Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.” 24Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi. 2518:25 a Lub 34:12; Kuv 22:17; 1Sa 14:24 b nny 17Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti.

26Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo, 2718:27 nny 13; 2Sa 3:14Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase.

28Naye Sawulo bwe yategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi, 29Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo.

3018:30 nny 5; 2Sa 11:1Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 18:1-30

掃羅嫉妒大衛

1大衛掃羅說完話後,又見了約拿單,二人一見如故,約拿單像愛自己一樣愛大衛2從那天起,掃羅大衛留在身邊,不讓他再回父親那裡。 3約拿單像愛自己一樣愛大衛,他與大衛立了盟約, 4並把身上的外袍、戰衣、刀、弓和腰帶都送給大衛5無論掃羅大衛辦什麼事,他都表現出色。掃羅派他做軍隊的將領,民眾和掃羅的臣僕都非常滿意。

6大衛殺死了非利士歌利亞以色列人凱旋歸來,婦女們擊鼓彈琴、載歌載舞地從以色列各城出來迎接掃羅王。 7她們跳舞歌唱:「掃羅殺死千千,大衛殺死萬萬。」 8掃羅聽了非常憤怒,說:「她們將萬萬歸功給大衛,將千千歸功給我,只剩我的王位沒有給他了!」 9掃羅從此對大衛起了嫉妒之心。

10第二天,從上帝那裡來的邪靈突然降在掃羅身上,他就在屋子裡叫鬧不停,大衛照常為他彈琴。掃羅當時手上拿著矛, 11他突然把矛投向大衛,心想:「我要把他刺透,釘在牆上。」他投了兩次,大衛都躲過了。

12耶和華離開了掃羅大衛同在,因而掃羅懼怕大衛13他把大衛調離自己身邊,立為千夫長,讓他領兵作戰。 14耶和華與大衛同在,因此他事事成功。 15掃羅看見大衛做事精明,就懼怕他。 16以色列人和猶大人都愛戴他,因為他帶領他們作戰。

17掃羅大衛說:「我要把大女兒米拉嫁給你,但你要英勇作戰,效忠於我,為耶和華爭戰。」掃羅心裡想:「我不要親自動手,我要藉非利士人的手殺他。」 18大衛說:「我算什麼?我的家族在以色列那麼卑微,我怎麼配做王的女婿呢?」 19到了婚禮的日子,掃羅卻把米拉嫁給了米何拉亞得列20掃羅的次女米甲愛上了大衛掃羅知道了非常高興。 21他心裡想:「我把這個女兒給大衛,讓他中圈套,好藉非利士人的手殺掉他。」於是,他對大衛說:「你現在還有一次機會做我的女婿。」 22他又吩咐臣僕,說:「你們私底下告訴大衛,說王很欣賞他,群臣都愛戴他,勸他做王的女婿。」 23掃羅的臣僕把這話告訴了大衛大衛卻說:「做王的女婿豈是一件小事呢?我不過是個貧窮卑微的人。」 24臣僕把這番話回報掃羅25掃羅說:「你們去告訴大衛,就說王只需要一百個非利士人的包皮作聘禮,好向他的敵人報仇。」掃羅想讓大衛死在非利士人的手上。 26臣僕把這番話告訴了大衛大衛欣然答應做王的女婿。期限到來之前, 27大衛和部下出去殺了二百個非利士人,把他們的包皮獻給掃羅,好做王的女婿。掃羅便把女兒米甲嫁給了大衛28掃羅知道耶和華與大衛同在,自己的女兒米甲也愛他, 29就更加懼怕大衛,終生與大衛為敵。

30非利士人的將領常來進犯,大衛每次作戰總比掃羅的其他臣僕出色,因而倍受尊重。