1 Bassekabaka 14 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 14:1-31

Akiya Alagula Yerobowaamu

1Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, 214:2 1Sa 28:8; 2Sa 14:2; 1Bk 11:29Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. 314:3 1Sa 9:7Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” 4Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.

Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde. 5Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.

6Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. 714:7 2Sa 12:7-8; 1Bk 16:2Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. 814:8 a 1Bk 11:31, 33, 38 b 1Bk 15:5Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. 914:9 a Kuv 34:17; 1Bk 12:28; 2By 11:15 b Nek 9:26; Zab 50:17; Ez 23:35Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.

1014:10 a Ma 32:36; 1Bk 21:21; 2Bk 9:8-9; 14:26 b 1Bk 15:29“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 1114:11 1Bk 16:4; 21:24Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’

12“Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 1314:13 2By 12:12; 19:3Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.

14Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 1514:15 a Ma 29:28; 2Bk 15:29; 17:6; Zab 52:5 b Yos 23:15-16 c Kuv 34:13; Ma 12:3Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,14:15 kitegeeza Omugga Fulaati kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri. 1614:16 1Bk 12:30; 13:34; 15:30, 34; 16:2Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”

1714:17 nny 12; 1Bk 15:33; 16:6-9Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.

19N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Lekobowaamu Kabaka wa Yuda

2114:21 nny 31; 1Bk 11:1; 2By 12:13Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.

2214:22 a 2By 12:1 b Ma 32:21; Zab 78:58; 1Ko 10:22Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya. 2314:23 a Ma 16:22; 2Bk 17:9-10; Ez 16:24-25 b Ma 12:2; Is 57:5Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 2414:24 Ma 23:17; 1Bk 15:12; 2Bk 23:7Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.

2514:25 1Bk 11:40; 2By 12:2Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 2614:26 a 1Bk 15:15, 18 b 1Bk 10:17N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.

29Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 3014:30 1Bk 12:21; 15:6Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 3114:31 nny 21; 2By 12:16Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪上 14:1-31

亚希雅对耶罗波安的预言

1那时,耶罗波安的儿子亚比雅病了, 2耶罗波安就吩咐妻子:“你乔装改扮使人认不出你是我妻子,然后去示罗找那位预言我做王的先知亚希雅3你要带十个饼、一些薄饼和一瓶蜂蜜去,他将告诉你孩子的病情会怎样。”

4耶罗波安的妻子就照他的话做,前往示罗,来到亚希雅家。那时亚希雅因年纪老迈,眼睛已失明。 5耶和华预先告诉亚希雅说:“耶罗波安的妻子会乔装成别的妇人,前来问你有关她儿子的病情,你要如此如此回答她。”

6她刚进门,亚希雅听见她的脚步声就说:“耶罗波安的妻子啊,你进来吧,为什么乔装改扮呢?我奉命告诉你一个噩耗。 7你回去告诉耶罗波安,‘以色列的上帝耶和华说,我从百姓中擢升你,立你做我以色列子民的王。 8我把国从大卫家夺走赐给你,你却没有像我仆人大卫那样遵守我的诫命,全心听从我,做我视为正的事, 9反而比前人行恶更甚,为自己设立其他神明,铸造神像,惹我发怒,把我抛在脑后。 10所以,我要降祸给耶罗波安家,从以色列铲除耶罗波安家所有的男子,不论是奴隶还是自由人。我要像清除粪便一样,把耶罗波安家焚烧净尽。 11耶罗波安家人中,死在城中的必被狗吃,死在田野的必被鸟吃。这是耶和华说的。’

12“现在你回家去吧,你一进城,孩子就会死。 13以色列会为他哀悼,把他埋葬。耶罗波安家人中只有他将得到安葬,因为以色列的上帝耶和华在他身上看见了良善。 14耶和华必为自己立一位君王统治以色列,他必铲除耶罗波安家。现在就是时候了。 15耶和华将击打以色列人,使他们像水中的芦苇一样颤抖不已。耶和华将把以色列人从祂赐给他们祖先的佳美之地连根拔起,抛散到幼发拉底河的彼岸,这都是因为他们制造亚舍拉神像,惹耶和华发怒。 16因为耶罗波安犯罪作孽,使以色列人陷入罪中,耶和华必抛弃以色列。”

17耶罗波安的妻子动身回到得撒,刚迈过家门槛,孩子就死了。 18以色列人埋葬了他,为他哀悼,正应验了耶和华借祂仆人亚希雅先知说的话。

19耶罗波安其他的事,不论文治武功,都记在以色列的列王史上。 20他做王二十二年,然后与祖先同眠。他儿子拿答继位。

罗波安做犹大王

21所罗门的儿子罗波安犹大王。他四十一岁登基,在耶路撒冷,就是耶和华从以色列众支派中选择来立祂名的城执政十七年。罗波安的母亲是亚扪拿玛22犹大人做耶和华视为恶的事,他们的罪行比他们祖先所做的更惹耶和华发怒。 23他们在各高岗上、树荫下为自己建造丘坛,竖立神柱和亚舍拉神像, 24国中甚至男庙妓充斥。犹大人仿效耶和华在以色列人面前赶走的外族人,行各种可憎之事。

25罗波安王执政第五年,埃及示撒上来攻陷耶路撒冷26抢走了耶和华的殿和王宫里所有的宝物,包括所罗门制造的金盾牌。 27罗波安王就造了铜盾牌代替那些金盾牌,交给看守宫门的护卫长看管。 28每次王进耶和华的殿,护卫军就带上盾牌,用完后放回护卫房。

29罗波安其他的事及其一切所作所为都记在犹大的列王史上。 30罗波安常常与耶罗波安争战。 31罗波安与祖先同眠后,葬在大卫城的祖坟里。他母亲是亚扪拿玛。他儿子亚比央继位。