1 Bassekabaka 15 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 15:1-34

Abiyaamu Kabaka wa Yuda

1Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda. 215:2 2By 11:20; 13:2Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu.

315:3 1Bk 11:4; Zab 119:80N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali. 415:4 2Sa 21:17; 1Bk 11:36; 2By 21:7Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi. 515:5 a 1Bk 9:4; 14:8 b 2Sa 11:2-27; 12:9Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.

615:6 1Bk 14:30Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu. 7N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu. 8Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Asa Kabaka wa Yuda

9Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa n’alya obwakabaka bwa Yuda. 1015:10 nny 2Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu.

11Asa n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 1215:12 1Bk 14:24; 22:46N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola. 1315:13 Kuv 32:20Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni. 1415:14 nny 3; 1Bk 8:61; 22:43Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna. 1515:15 1Bk 7:51N’ayingiza mu yeekaalu ya Mukama effeeza, ne zaabu n’ebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo.

1615:16 nny 32Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ez’okufuga kwabwe. 1715:17 Yos 18:25; 1Bk 12:27Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda. 1815:18 a nny 15; 1Bk 14:26 b 2Bk 12:18 c 1Bk 11:23-24Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko. 19N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”

2015:20 Bal 18:29; 2Sa 20:14; 2Bk 15:29Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali. 21Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza. 2215:22 Yos 18:24; 21:17Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.

23Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere. 2415:24 Mat 1:8Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Nadabu Kabaka wa Isirayiri

25Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 2615:26 1Bk 12:30; 14:16N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.

2715:27 a 1Bk 14:14 b Yos 19:44; 21:23Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza. 28Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.

2915:29 1Bk 14:10, 14Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, 3015:30 1Bk 14:9, 16olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.

31Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 3215:32 nny 16Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.

Baasa Kabaka wa Isirayiri

33Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 3415:34 nny 26; 1Bk 12:28-29; 13:33; 14:16N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪上 15:1-34

亚比央做犹大王

1尼八的儿子耶罗波安王执政第十八年,亚比央登基做犹大王, 2他在耶路撒冷执政三年,母亲是押沙龙的女儿玛迦

3亚比央和他父亲一样作恶多端,没有像他祖先大卫一样忠于他的上帝耶和华。 4但他的上帝耶和华因为大卫的缘故,仍然让他儿子在耶路撒冷继位,使耶路撒冷坚立。 5除了乌利亚事件以外,大卫一生都做耶和华视为正的事,没有违背耶和华的任何命令。

6罗波安耶罗波安之间常有战事,一直延续到亚比央王朝。 7亚比央耶罗波安之间也常有战事。亚比央其他的事及其一切所作所为都记在犹大的列王史上。 8亚比央与祖先同眠后葬在大卫城,他儿子亚撒继位。

亚撒做犹大王

9耶罗波安以色列王第二十年,亚撒登基做犹大王, 10他在耶路撒冷执政四十一年。他祖母是押沙龙的女儿玛迦11亚撒效法他祖先大卫,做耶和华视为正的事。 12他从国中驱逐了男庙妓,清除了他祖先制造的一切神像。 13亚撒还废除了他祖母玛迦的太后之位,因为她造了可憎的亚舍拉神像。亚撒把她的神像砍倒,放在汲沦溪烧掉。 14虽然他没有拆毁丘坛,但他一生忠于耶和华。 15他又把他父亲和他自己所献上的金银和器皿都带到耶和华的殿里。

16亚撒以色列巴沙之间常有争战。 17以色列巴沙上来攻打犹大,他修筑拉玛城,企图隔断犹大亚撒与外界的联系。 18于是,亚撒把耶和华殿里和王宫库房里剩余的金银交给臣仆,派他们送给大马士革亚兰王,即他伯利们的儿子、希旬的孙子便·哈达,说: 19“我们之间应立盟约,像我们的父亲之间立约一样,现在奉上金银为礼,请你取消与以色列巴沙立的盟约。这样,他就会从我境内退兵。” 20便·哈达接受了亚撒王的提议,派将领攻打以色列的城邑,攻占了以云亚伯·伯·玛迦基尼烈全境和拿弗他利全境。 21巴沙闻讯,就停止修筑拉玛,退回得撒去了。 22亚撒王令全国的犹大人出动,将巴沙修筑拉玛城的石头和木材搬走,用来修建便雅悯迦巴米斯巴23亚撒其他的事迹、功业和他兴建的城邑都记在犹大的列王史上。亚撒年老的时候,患了脚疾。 24他与祖先同眠后,葬在大卫城他的祖坟里。他儿子约沙法继位。

拿答做以色列王

25亚撒犹大王第二年,耶罗波安的儿子拿答登基做以色列王,执政两年。 26拿答像他父亲一样作恶多端,行耶和华视为恶的事,使以色列人陷入罪中。 27-28亚撒犹大王第三年,拿答以色列军围攻非利士基比顿城时,以萨迦支派亚希雅的儿子巴沙叛变,杀了拿答,篡位称王。 29巴沙一做王,立刻诛杀耶罗波安全家,无一幸免,应验了耶和华借祂仆人——示罗亚希雅所说的话。 30这是因为耶罗波安犯罪,并使以色列人陷入罪中,惹以色列的上帝耶和华发怒。 31拿答其他的事及其一切所作所为都记在以色列的列王史上。 32亚撒以色列巴沙执政期间,双方常常争战。

巴沙做以色列王

33犹大亚撒执政第三年,亚希雅的儿子巴沙得撒登基做以色列王,执政二十四年。 34他步耶罗波安的后尘,做耶和华视为恶的事,使以色列人陷入罪中。