馬可福音 8 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬可福音 8:1-38

耶穌使四千人吃飽

1那時,又有一大群人聚在一起,他們沒有東西吃。耶穌就叫來門徒,說: 2「我憐憫這些人,他們跟我在一起已經三天,沒有任何吃的了。 3如果讓他們餓著肚子回家,他們在路上會體力不支,因為有些人是遠道而來的。」

4門徒說:「在這荒野,如何找到足夠的食物給這些人吃呢?」

5耶穌問:「你們有多少餅?」

門徒答道:「七個。」

6耶穌便吩咐大家坐在地上,然後拿著那七個餅祝謝了,掰開,遞給門徒,讓門徒分給大家,門徒就把餅分給大家。 7他們還有幾條小魚。耶穌祝謝了,叫門徒分給眾人。 8大家都吃了,並且吃飽了,剩下的零碎裝滿了七個筐子。 9吃的人約有四千。耶穌讓眾人回家後, 10隨即和門徒上船,來到大瑪努他地區。

11法利賽人出來盤問耶穌,要求祂從天上顯一個神蹟給他們看看,藉此試探祂。 12耶穌深深歎息道:「這世代的人為什麼總是要看神蹟呢?我實在告訴你們,沒有神蹟給這世代的人看。」 13然後,耶穌離開他們,乘船回對岸去了。

防備法利賽人和希律的酵

14門徒忘了帶餅,船上只有一個餅。 15耶穌警告他們:「你們要謹慎,要提防法利賽人和希律的酵!」

16他們彼此議論說:「老師這樣說,是不是因為我們沒有帶餅呢?」

17耶穌知道他們的心思,就說:「你們為什麼議論沒有帶餅的事呢?難道你們還不明白、不領悟嗎?你們的心還是愚頑嗎? 18你們有眼不會看,有耳不會聽嗎?你們不記得嗎? 19我掰開五個餅分給五千人吃的時候,你們撿了多少籃的零碎呢?」

門徒答道:「十二籃。」

20耶穌又說:「我用七個餅餵飽四千人的時候,你們撿了多少筐零碎呢?」

門徒答道:「七筐。」

21耶穌接著說:「你們還不明白嗎?」

治好伯賽大的瞎子

22他們到了伯賽大,有人帶來一個瞎子,求耶穌摸他。 23耶穌拉著瞎子的手帶他走到村外,吐唾沫在他的眼睛上,並把手按在他身上,問他:「你看見什麼了?」

24他抬頭看了看,說:「我看見人們好像一棵棵的樹,走來走去。」

25耶穌把手按在他的眼睛上,他定睛一看,便恢復了視力,什麼都看得清清楚楚。 26耶穌叫他回家,並對他說:「不要再進這個村子了。」

彼得宣告耶穌是基督

27耶穌和門徒前往凱撒利亞·腓立比境內的村莊。在路上,祂問門徒:「別人說我是誰?」

28他們說:「有人說你是施洗者約翰,有人說你是以利亞,有人說你是眾先知中的一位。」

29耶穌又問他們:「那麼,你們說我是誰?」

彼得回答說:「你是基督!」

30耶穌吩咐他們不要洩露祂的身分。

耶穌預言自己的受難和復活

31從此,耶穌便告訴他們,人子必須受許多苦,被長老、祭司長和律法教師棄絕,殺害,但必在三天之後復活。 32耶穌清楚地把這些事告訴了他們,彼得就把祂拉到一邊,勸阻祂。 33耶穌轉身看了看門徒,斥責彼得說:「撒旦,退到我後面去!因為你不考慮上帝的意思,只考慮人的意思。」

34祂叫眾人和門徒一起過來,對他們說:「如果有人要跟從我,就應當捨己,背起他的十字架跟從我。 35因為想救自己生命的,必失去生命;但為了我和福音而失去生命的,必得到生命。 36人就是賺得全世界,卻喪失自己的生命,又有什麼益處呢? 37他還能用什麼換回生命呢?

38「在這淫亂、罪惡的世代,如果有人以我和我的道為恥,人子在父的榮耀中與聖天使再來的時候,也要以他為恥。」

Luganda Contemporary Bible

Makko 8:1-38

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ennya

1Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, 28:2 Mat 9:36“Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya. 3Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala.”

4Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Emigaati tunaagiggya wa wano mu ddungu eginaamala abantu bano bonna?”

5Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”

6Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula. 78:7 Mat 14:19Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu. 88:8 nny 20Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde. 9Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ng’enkumi nnya. N’abasiibula. 10Amangwago n’asaabala mu lyato n’abayigirizwa be n’ajja mu kitundu eky’e Dalumanusa.

Abafalisaayo Basaba Yesu Akabonero Akava mu Ggulu

118:11 Mat 12:38Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa. 128:12 Mak 7:34Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.” 13N’abaviira n’asaabala mu lyato n’alaga ku ludda olulala olw’ennyanja.

Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode

14Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato. 158:15 a 1Ko 5:6-8 b Luk 12:1 c Mat 14:1; Mak 12:13Yesu n’abakuutira nti, “Mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’ekizimbulukusa ekya Kerode.”

16Ne boogeraganya bokka ne bokka nti tebalina migaati.

178:17 Is 6:9, 10; Mak 6:52Yesu bwe yakimanya n’abagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu? 18Lwaki temulaba, ate nga mulina amaaso? Lwaki temuwulira ate nga mulina amatu? Temujjukira? 198:19 Mat 14:20; Mak 6:41-44; Luk 9:17; Yk 6:13Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka eby’obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?”

Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”

208:20 nny 6-9; Mat 15:37N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?”

Ne baddamu nti, “Musanvu.” 218:21 Mak 6:52N’abagamba nti, “Era temunnategeera?”

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso mu Besusayida

228:22 a Mat 11:21 b Mak 10:46; Yk 9:1Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko. 238:23 a Mak 7:33 b Mak 5:23Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, “Kaakano waliwo ky’olaba?”

24Omusajja n’amagamaga, n’addamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ng’emiti egitambula.”

25Yesu n’ayongera okukwata ku maaso g’omusajja, omusajja n’azibuka amaaso n’awonera ddala buli kintu n’akiraba bulungi. 26Yesu n’amutuma mu maka g’ewaabwe ng’amugamba nti, “Toddayo mu kyalo.”

Peetero Ayatula Kristo

27Awo Yesu n’abayigirizwa be, ne bagenda mu bubuga obw’e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, Yesu n’ababuuza nti, “Abantu bampita ani?”

288:28 a Mat 3:1 b Mal 4:5Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala Eriya, naye abalala nti omu ku bannabbi.”

298:29 Yk 6:69; 11:27Kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo.”

308:30 Mat 8:4; 16:20; 17:9; Mak 9:9; Luk 9:21Naye Yesu n’abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna!

Yesu Alanga Okufa kwe n’Okuzuukira kwe

318:31 a Mat 8:20 b Mat 16:21 c Mat 27:1, 2 d Bik 2:23; 3:13 e Mat 16:21 f Mat 16:21Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.” 328:32 Yk 18:20Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali n’atandika okumunenya.

338:33 Mat 4:10Yesu n’akyuka n’atunuulira abayigirizwa be, n’alyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku by’abantu.”

348:34 Mat 10:38; Luk 14:27Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. 358:35 Yk 12:25Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya. 36Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 37Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olw’obulamu bwe? 388:38 a Mat 8:20 b Mat 10:33; Luk 12:9 c 1Bs 2:19Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”