馬太福音 1 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬太福音 1:1-25

耶穌基督的家譜

1耶穌基督是亞伯拉罕的子孫、大衛的後裔,以下是祂的家譜:

2亞伯拉罕以撒

以撒雅各

雅各猶大和他的兄弟,

3猶大她瑪法勒斯謝拉

法勒斯希斯崙1·3 」希臘文是「亞蘭」。

希斯崙

4亞米拿達

亞米拿達拿順

拿順撒門

5撒門喇合波阿斯

波阿斯路得俄備得

俄備得耶西

6耶西大衛王。

大衛烏利亞的妻子生所羅門

7所羅門羅波安

羅波安亞比雅

亞比雅亞撒

8亞撒約沙法

約沙法約蘭

約蘭烏西雅

9烏西雅約坦

約坦亞哈斯

亞哈斯希西迦

10希西迦瑪拿西

瑪拿西亞們

亞們約西亞

11約西亞耶哥尼雅和他的兄弟,

那時以色列人被擄往巴比倫

12被擄到巴比倫以後,

耶哥尼雅撒拉鐵

撒拉鐵所羅巴伯

13所羅巴伯亞比玉

亞比玉以利亞敬

以利亞敬亞所

14亞所撒督

撒督亞金

亞金以律

15以律以利亞撒

以利亞撒馬但

馬但雅各

16雅各約瑟

約瑟就是瑪麗亞的丈夫,

那被稱為基督1·16 基督」意思是「受膏者」。的耶穌就是瑪麗亞生的。

17這樣,從亞伯拉罕大衛共有十四代,從大衛到被擄至巴比倫也是十四代,從被擄至巴比倫到基督降生也是十四代。

耶穌的降生

18以下是耶穌基督降生的經過。

耶穌的母親瑪麗亞約瑟訂了婚,還沒有成親就從聖靈懷了孕。 19約瑟是個義人,不願公開地羞辱她,便決定暗中和她解除婚約。 20他正在考慮這事的時候,主的一位天使在夢中向他顯現,說:「大衛的後裔約瑟,不要怕,把瑪麗亞娶過來,因為她所懷的孕是從聖靈來的。 21她將生一個兒子,你要給祂取名叫耶穌1·21 耶穌」意思是「救主」。,因為祂要把自己的子民從罪惡中救出來。」

22這一切應驗了主藉著先知所說的話: 23「必有童貞女懷孕生子,祂的名字要叫以馬內利,意思是『上帝與我們同在』。」 24約瑟醒來,就遵從主的天使的吩咐和瑪麗亞結婚, 25只是在她生下孩子之前沒有與她同房。約瑟給孩子取名叫耶穌。

Luganda Contemporary Bible

Matayo 1:1-25

Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo

11:1 a 2Sa 7:12-16; Is 9:6, 7; 11:1; Yer 23:5, 6; Mat 9:27; Luk 1:32, 69; Bar 1:3; Kub 22:16 b Lub 22:18; Bag 3:16Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:

21:2 a Lub 21:3, 12 b Lub 25:26 c Lub 29:35Ibulayimu yazaala Isaaka,

Isaaka n’azaala Yakobo,

Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.

31:3 Lub 38:27-30Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,

Pereezi n’azaala Kezirooni,

Kezirooni n’azaala Laamu.

4Laamu yazaala Aminadaabu,

Aminadaabu n’azaala Nasoni,

Nasoni n’azaala Salumooni.

5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,

Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.

Obedi n’azaala Yese.

61:6 a 1Sa 16:1; 17:12 b 2Sa 12:24Yese yazaala Kabaka Dawudi.

Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.

7Sulemaani yazaala Lekobowaamu,

Lekobowaamu n’azaala Abiya,

Abiya n’azaala Asa.

8Asa n’azaala Yekosafaati,

Yekosafaati n’azaala Yolaamu,

Yolaamu n’azaala Uzziya.

9Uzziya n’azaala Yosamu,

Yosamu n’azaala Akazi,

Akazi n’azaala Keezeekiya.

101:10 2Bk 20:21Keezeekiya n’azaala Manaase,

Manaase n’azaala Amosi,

Amosi n’azaala Yosiya.

111:11 2Bk 24:14-16; Yer 27:20; Dan 1:1, 2Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.

121:12 a 1By 3:17 b 1By 3:19; Ezr 3:2Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:

Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,

Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.

13Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,

Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,

Eriyakimu n’azaala Azoli.

14Azoli n’azaala Zadooki,

Zadooki n’azaala Akimu,

Akimu n’azaala Eriwuudi.

15Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,

Eriyazaali n’azaala Mataani,

Mataani n’azaala Yakobo.

161:16 a Luk 1:27 b Mat 27:17Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.

Okuzaalibwa kwa Yesu

181:18 Luk 1:35Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 191:19 Ma 24:1Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.

20Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 211:21 a Luk 1:31 b Luk 2:11; Bik 5:31; 13:23, 28Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

22Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 231:23 Is 7:14; 8:8, 10“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”

24Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 251:25 nny 21Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.