詩篇 28 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 28:1-9

第 28 篇

祈求上帝幫助

大衛的詩。

1耶和華啊,我呼求你;

我的磐石啊,別不理我。

你若默然不語,

我必絕望而死。

2我向你呼求,

向你的至聖所舉手禱告時,

求你垂聽。

3求你不要把我與奸惡人一同責罰,

他們對鄰居口蜜腹劍。

4求你使他們罪有應得,

按他們的惡行,

按他們手上的罪惡報應他們。

5他們既然毫不在意耶和華的作為和祂的創造,

祂必永遠毀滅他們。

6耶和華當受稱頌!

因為祂聽了我的懇求。

7祂是我的力量,我的盾牌。

我信靠祂,就得幫助,

我的心歡喜雀躍,

我要歌唱讚美祂。

8耶和華是祂子民的力量,

是祂膏立者得救的堡壘。

9耶和華啊,

求你拯救你的子民,

賜福給你揀選的人,

如牧人般照顧他們,

永遠扶持他們。

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 28:1-9

Zabbuli 28

Zabbuli ya Dawudi.

128:1 a Zab 83:1 b Zab 88:4Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,

tolema kumpuliriza;

kubanga bw’onoonsiriikirira

nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.

228:2 a Zab 138:2; 140:6 b Zab 5:7Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,

nga mpanise emikono gyange

okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,

nga nkukaabirira okunnyamba.

328:3 Zab 12:2; 26:9; Yer 9:8Tontwalira mu boonoonyi,

abakola ebibi;

abanyumya obulungi ne bannaabwe,

so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.

428:4 a 2Ti 4:14; Kub 22:12 b Kub 18:6Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,

n’olw’ebyambyone bye bakoze.

Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,

obabonereze nga bwe basaanidde.

528:5 Is 5:12Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,

oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,

alibazikiririza ddala,

era talibaddiramu.

6Atenderezebwe Mukama,

kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

728:7 a Zab 18:1 b Zab 13:5 c Zab 40:3; 69:30Mukama ge maanyi gange,

era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.

Bwe ntyo ne nyambibwa.

Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

828:8 Zab 20:6Mukama y’awa abantu be amaanyi,

era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.

928:9 a Ma 9:29; Ezr 1:4 b Is 40:11 c Ma 1:31; 32:11Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.

Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.