耶利米書 34 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 34:1-22

給西底迦的警告

1巴比倫尼布甲尼撒率領他的軍隊和他統治的各邦國攻打耶路撒冷及其周圍城邑時,耶和華對耶利米說: 2「你去告訴猶大西底迦以色列的上帝耶和華說,『看啊,我要把這城交在巴比倫王的手中,使它被付之一炬。 3你必逃不出巴比倫王的手心,你必在他面前受審,被帶到巴比倫4猶大西底迦啊!你要聽耶和華的話。論到你,耶和華說,你必不會死在刀劍之下, 5你必安然去世。人們必為你燒香,像為你的先王燒香一樣,他們必為你哀悼說,唉,我主啊!』這是我耶和華說的。」

6耶利米先知就在耶路撒冷把這番話告訴了猶大西底迦7那時,巴比倫王的軍隊正攻打耶路撒冷以及猶大剩下的兩座堅城——拉吉亞西加

8西底迦王與耶路撒冷的居民立約讓他們釋放自己的奴隸之後,耶和華的話傳給了耶利米9西底迦王吩咐各人要釋放自己的希伯來奴隸,任何人都不應使自己的同胞做奴隸。 10所有立約的首領和人民都答應守約,並釋放了自己的奴隸, 11事後卻又反悔,抓回先前釋放的奴隸,再次奴役他們。 12那時,耶和華的話傳給了耶利米,說: 13以色列的上帝耶和華說,『我曾帶領你們的祖先離開埃及,使他們不再受奴役,那時我與他們立約說, 14倘若你們的希伯來同胞賣身做你們的奴隸,服侍你們六年後,到第七年你們要給他們自由。你們的祖先卻掩耳不聽。 15不久前,你們回心轉意,做我視為正的事,釋放自己的同胞,並且在我的殿中立了約。 16然而,你們卻反悔,各自抓回先前釋放的奴隸,再次奴役他們,褻瀆了我的名。 17因此耶和華說,既然你們不聽我的話,不給自己的同胞自由,看啊,我必使你們自由地死在戰爭、瘟疫和饑荒中,使你們的遭遇令天下萬國驚懼。這是耶和華說的。 18-19猶大耶路撒冷的首領、宮廷侍臣、祭司和全體百姓曾把牛犢劈成兩半,從中間走過跟我立約,後來卻又違背跟我立的約,不守約,所以他們的下場必像他們劈開的牛犢一樣。 20我要把他們交在想殺他們的敵人手中,他們的屍體要成為飛禽走獸的食物。 21我要把猶大西底迦及其官員交在想殺他們的敵人手中,交在剛撤軍的巴比倫王手中。 22看啊,我要吩咐他們回來攻佔這城,將它付之一炬,我要使猶大的城邑荒無人煙。這是耶和華說的。』」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 34:1-22

Okulabula Zeddekiya

134:1 a Yer 27:7 b 2Bk 25:1; Yer 39:1Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amaggye ge gonna, n’abantu bonna ab’ensi ze yali afuga bwe baali balwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebikyetoolodde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti, 234:2 a 2By 36:11 b nny 22; Yer 32:29; 37:8“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Genda eri Zeddekiya kabaka wa Yuda omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera nti, Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukyokya. 334:3 2Bk 25:7; Yer 21:7; 32:4Tolisumattuka mukono gwe era oliwambibwa otwalibwe gy’ali. Oliraba kabaka w’e Babulooni n’amaaso go, olyogera naye nga mutunuuliraganye, era olitwalibwa e Babulooni.

4“ ‘Wabula wulira ekisuubizo kya Mukama, ggwe Zeddekiya kabaka wa Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikukwatako nti, Tolifa kitala; 534:5 a 2By 16:14; 21:19 b Yer 22:18olifa mu mirembe. Ng’abantu bwe bakuma ebyoto mu nnyimbe za bakitaawo, bakabaka abasooka, bwe batyo bwe balikuwa ekitiibwa nga bakujjukira nga bakukungubagira nga bagamba nti, “Woowe mukama waffe!” Nze kennyini mpa ekisuubizo kino, bw’ayogera Mukama.’ ”

6Awo Yeremiya nnabbi bino byonna n’abibuulira Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu Yerusaalemi, 734:7 a Yos 10:3 b Yos 10:10; 2By 11:9nga amaggye ga kabaka w’e Babulooni bwe galwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebirala ebya Yuda, Lakisi ne Azeka, ebyali bikyanywereddewo. Bino bye bibuga byokka ebyaliko eminaala egyali gisigadde mu Yuda.

Eddembe ly’Abaddu

834:8 a 2Bk 11:17 b Kuv 21:2; Lv 25:10, 39-41; Nek 5:5-8Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano n’abantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe. 934:9 Lv 25:39-46Buli muntu yenna yali ateekwa okuta omuddu we Omwebbulaniya, abasajja n’abakazi; nga tewali n’omu alina kukuumira Muyudaaya munne mu busibe. 10Abakungu bonna n’abantu abaayingira mu ndagaano eno bakkiriziganya nti baali bakusumulula abaddu baabwe abasajja n’abakazi baleme kubakuumira mu buddu nate. Era ne babasumulula. 11Naye oluvannyuma ne bakyuka ne bazzaayo abaddu be baali bawadde eddembe.

12Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 1334:13 Kuv 24:8“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Nakola endagaano ne bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, mu nsi ey’obuddu. Nagamba nti, 1434:14 a Kuv 21:2 b Ma 15:12; 2Bk 17:14‘Buli mwaka ogw’omusanvu buli omu ku mmwe ateekwa okuta Mwebbulaniya munne eyeetunda gy’ali. Bwakuweererezanga emyaka omukaaga, oteekwa okumuta agende.’ Naye bakitammwe tebampuliriza wadde okunfaako. 1534:15 a nny 8 b Yer 7:10-11; 32:34Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu b’ensi ye, era ne mukola n’endagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange. 1634:16 a Ez 3:20; 18:24 b Kuv 20:7; Lv 19:12Naye kaakano mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange; buli omu ku mmwe yeddiza abaddu abasajja n’abakazi be mwali mutadde bagende gye baali beeyagalidde. Mubawalirizza babeere abaddu bammwe nate.

1734:17 a Mat 7:2; Bag 6:7 b Ma 28:25, 64; Yer 29:18“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bw’ayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa n’ekitala, ne kawumpuli n’enjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’oku nsi. 1834:18 Lub 15:10Abasajja abamenye endagaano yange ne batatuukiriza bweyamo buli mu ndagaano gye baakola mu maaso gange, nzija kubakolako ng’ennyana gye basalamu ebitundu ebibiri ne bayita wakati w’ebitundu byayo. 1934:19 Zef 3:3-4Abakulembeze b’omu Yuda ne Yerusaalemi, n’abakungu b’embuga ya kabaka, ne bakabona n’abantu bonna ab’omu nsi abaatambulira wakati w’ebitundu by’ennyana, 2034:20 a Yer 21:7 b Yer 11:21 c Ma 28:26; Yer 7:33; 19:7ndibawaayo eri abalabe baabwe abanoonya obulamu bwabwe. Emirambo gyabwe gya kufuuka mmere eri ebinyonyi eby’omu bbanga era n’eri ensolo ez’omu nsiko.

2134:21 a Yer 32:4 b Yer 39:6; 52:24-27 c Yer 37:5“Ndiwaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abakungu be bonna eri abalabe baabwe ababanoonya okubatta, n’eri eggye lya kabaka w’e Babulooni, eribadde lizzeeyo emabega. 2234:22 a Yer 39:1-2 b Yer 39:8Ŋŋenda kuwa ekiragiro, bw’ayogera Mukama, era ndibakomyawo mu kibuga kino. Balikirwanyisa bakitwale, bakyokye. Era ndizikiriza ebibuga bya Yuda waleme kubaawo abibeeramu.”