耶利米書 25 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 25:1-38

預言被擄七十年

1猶大約西亞的兒子約雅敬執政第四年,即巴比倫尼布甲尼撒元年,耶和華告訴了耶利米有關猶大百姓的事。 2耶利米先知對猶大人和耶路撒冷的居民說: 3「從猶大亞們的兒子約西亞執政第十三年,到今天已有二十三年。在這期間,我不斷把耶和華對我說的話傳給你們,你們卻充耳不聞。 4耶和華屢次差遣祂的僕人——眾先知警告你們,你們卻充耳不聞,毫不理會。 5他們對你們說,『要改邪歸正,停止作惡,以便可以永遠住在耶和華賜給你們和你們祖先的土地上。 6不要隨從、供奉、祭拜其他神明,不要製造神像惹耶和華發怒,免得祂懲罰你們。』」 7耶和華說:「然而,你們不聽我的話,製造神像惹我發怒,自招懲罰。」

8因此,萬軍之耶和華說:「由於你們不遵行我的命令, 9我要召集北方各族和我的僕人巴比倫尼布甲尼撒,去攻擊這片土地和其中的居民以及周圍各國。我要徹底毀滅他們,使他們的下場很可怕、令人嗤笑、土地永遠荒涼。這是耶和華說的。 10我要使他們的歡樂聲、新郎新娘的歡笑聲、推磨聲和燈光都消失。 11整片土地要變得荒涼可怕,他們要臣服於巴比倫王七十年。 12七十年後,我要報應巴比倫王和他國民迦勒底人的罪,使他們的土地永遠荒涼。這是耶和華說的。 13我藉耶利米所說有關列國的預言都記在這書上了,我的話必應驗在他們的土地上。 14他們必受許多國家和強大君王的奴役,我要按他們的所作所為報應他們。」

上帝審判列國

15以色列的上帝耶和華對我說:「你從我手中接過這盛滿我烈怒的酒杯,到我差遣你去的國家給他們喝。 16他們喝了這杯烈怒後必東倒西歪、行為瘋狂,因為我要使戰禍臨到他們。」 17於是,我從耶和華手中接過杯,奉祂的差遣到列國去給他們喝。 18我給耶路撒冷猶大的城邑,以及猶大的君王和官員喝這杯烈怒,使他們的城邑淪為廢墟,令人驚懼,被嘲笑和咒詛,正如今日一樣。 19喝這杯烈怒的還有埃及王法老及其王公大臣和全體百姓, 20他們當中所有的外族人,烏斯的眾王和統治亞實基倫迦薩以革倫以及亞實突餘民的非利士眾王, 21以東摩押亞捫人, 22泰爾的眾王、西頓的眾王和海島上的眾王, 23底但提瑪布斯和所有剃鬢髮的人, 24阿拉伯的眾王和荒野各族的諸王, 25心利的眾王、以攔的眾王和瑪代的眾王, 26北方諸王——無論遠近、一個接一個,以及天下萬國,最後是巴比倫王。 27耶和華對我說:「你要告訴他們,以色列的上帝——萬軍之耶和華說,『你們要喝這杯烈怒,喝得大醉、嘔吐、倒地不起,因為我要使戰爭臨到你們。』 28如果他們不肯從你手中接過杯來喝,你就告訴他們,萬軍之耶和華說,『你們必須喝! 29看啊,我已在屬我的城中降下災禍,難道你們可以逃脫懲罰嗎?你們必逃不過懲罰,因為我要使戰爭臨到天下萬民。』這是萬軍之耶和華說的。 30耶利米啊,你要告訴他們這些預言,

『耶和華要在高天怒吼,

從祂的聖所發出雷鳴;

祂要向祂的子民怒吼,

向地上的居民吶喊,

好像踩踏葡萄的人一樣。

31耶和華的聲音傳到地極,

因為祂要指控列國,審判萬民,

使惡人喪身刀下。

這是耶和華說的。』」

32萬軍之耶和華說:

「看啊,災難正蔓延到列國,

有暴風從地極捲起。」

33到那日,遍地都是被耶和華殺戮的人,無人哀悼、收殮和埋葬,他們好像地上的糞便。

34你們這群牧人啊,要悲哀哭泣!

你們這群百姓的首領啊,

要在灰塵中傷心地打滾!

因為你們被宰殺、驅散的時候到了,

你們將像精美的器皿一樣被摔得粉碎。

35牧人必無路可逃,

百姓的首領必無處藏身。

36聽聽牧人的哭喊,

百姓首領的哀號吧,

因為耶和華正在毀滅他們的家園。

37因為耶和華的烈怒,

寧靜的草場變得一片荒涼。

38耶和華離開了祂的居所,

就像獅子離開了洞穴。

他們的土地因刀劍的蹂躪和耶和華的烈怒而一片荒涼。

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 25:1-38

Emyaka Nsanvu egy’Obusibe

125:1 a 2Bk 24:2; Yer 36:1 b 2Bk 24:1Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. 225:2 Yer 18:11Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, 325:3 a Yer 1:2 b Yer 11:7; 26:5 c Yer 7:26Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.

425:4 Yer 7:25Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. 5Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. 625:6 Ma 8:19Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”

725:7 a Ma 32:21 b 2Bk 21:15“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.

8Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, 925:9 a Is 13:3-5 b Yer 1:15 c Yer 27:6 d Yer 18:16nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 1025:10 a Is 24:8; Ez 26:13 b Yer 7:34 c Mub 12:3-4 d Kub 18:22-23Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 1125:11 a Yer 4:26-27; 12:11-12 b 2By 36:21Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.

1225:12 a Yer 29:10 b Is 13:19-22“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. 13“Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 1425:14 a Yer 27:7 b Yer 50:9; 51:27-28 c Yer 51:6Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

1525:15 Is 51:17; Zab 75:8Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. 1625:16 a Nak 3:11 b Yer 51:7Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”

1725:17 Yer 1:10Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;

1825:18 a Yer 24:9 b Yer 44:22Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.

19Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, 2025:20 a Yob 1:1 b Yer 47:5n’abagwira bonna abaaliyo;

bakabaka ba Uzi bonna,

ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,

2125:21 Yer 49:1n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,

2225:22 a Yer 47:4 b Yer 31:10bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;

2325:23 Yer 9:26; 49:32Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,

2425:24 2By 9:14ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;

2525:25 Lub 10:22ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;

2625:26 a Yer 50:3, 9 b Yer 51:41n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.

Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.

2725:27 a nny 16, 28; Kbk 2:16 b Ez 21:4“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ 28Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! 2925:29 a Yer 13:12-14 b 1Pe 4:17 c Nge 11:31 d nny 30-31Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’

3025:30 a Is 16:10; 42:13 b Yo 3:16; Am 1:2“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,

“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,

era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu

awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.

Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,

ng’aleekaanira abo abali ku nsi.

3125:31 Kos 4:1; Yo 3:2; Mi 6:2Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.

Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,

alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”

bw’ayogera Mukama.

3225:32 a Is 34:2 b Yer 23:19Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;

enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”

3325:33 a Is 66:16; Ez 39:17-20 b Yer 16:4 c Zab 79:3Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.

3425:34 a Yer 6:26 b Is 34:6; Yer 50:27Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,

mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.

Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse

mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.

3525:35 Yob 11:20Abasumba tebaabeeko na buddukiro,

n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.

36Muwulire okukaaba kw’abasumba,

okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,

kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.

37Amalundiro amalungi galifuuka matongo

olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.

3825:38 Yer 4:7Ajja kuleka ekisulo kye

ng’empologoma bw’eva w’esula,

n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi

era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.