耶利米書 13 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 13:1-27

腰帶的比喻

1耶和華對我說:「你去買一條麻布腰帶束在腰間,不可讓它沾水。」 2我照耶和華的話買了腰帶,束在腰間。 3耶和華又對我說: 4「拿著你買來的腰帶去幼發拉底河邊,把它藏在那裡的石縫中。」 5於是,我照耶和華的吩咐把腰帶藏在那裡。 6多日後,耶和華對我說:「去幼發拉底河邊取回我吩咐你藏的腰帶。」 7我就去幼發拉底河邊把所藏的腰帶挖出來,但腰帶已經腐爛,不能用了。

8耶和華對我說: 9「這是耶和華說的,『我也要這樣消滅猶大的驕傲和耶路撒冷的狂妄。 10這邪惡的百姓拒絕聽我的話,一意孤行,跟隨、供奉、祭拜別的神明,他們將像這腰帶一樣毫無用處。 11我本想使以色列人和猶大人緊靠著我,就像腰帶緊貼在人的腰間,讓他們做我的子民,使我聲名遠揚、得到讚美和尊崇,他們卻不肯聽從。這是耶和華說的。』

12「因此,你告訴他們,以色列的上帝耶和華說,『每個瓶子都要盛滿酒。』若他們說,『難道我們不知道每個瓶子都要盛滿酒嗎?』 13你就告訴他們,『耶和華說,我要使坐在大衛寶座上的君王以及祭司、先知、耶路撒冷人和這片土地上所有的居民都酩酊大醉; 14我要使他們彼此撞得粉碎,就算父子也要彼此相撞;我要毀滅他們,決不心慈手軟。』」

15耶和華說話了,你們要留心聽,

不可傲慢。

16趁著你們的上帝耶和華還未使黑暗來臨,

你們還未在漆黑的山上絆倒,

要把榮耀歸給祂。

否則,祂必使你們期望的光明變為幽冥和黑暗。

17如果你們因為驕傲而不肯聽,

我會暗自哭泣、淚流滿面,

因為耶和華的子民將要被擄。

18耶和華讓我對君王和太后說:

「從寶座上下來吧,

因為你們頭上華美的王冠將要掉落。」

19南部的城邑將被圍困,

無人能解圍,

猶大人都要被擄,無一倖免。

20耶路撒冷啊,

舉目看看那些從北方來的敵人吧,

從前賜給你的佳美羊群——你的百姓如今在哪裡呢?

21耶和華讓你結交的盟友來統治你,

你還有什麼話可說?

難怪你痛苦不堪,

就像分娩的婦人。

22也許你在想:「為什麼這些事發生在我身上?」

你的裙子被撕破,你遭受蹂躪,

是因為你罪大惡極。

23古實人能改變他們的膚色嗎?

豹子能脫去牠們的斑點嗎?

你這作惡成性的人怎能行善呢?

24因此,耶和華說:

「我要把你分散到四方,

像曠野的風吹散碎稭一樣。

25這是你應得的報應,

是我量給你的,

因為你把我拋諸腦後,

信靠假神。

這是耶和華說的。

26因此,我要把你的裙子掀到你的臉上,

使人見到你的羞恥。

27你在山上和田野間拜偶像,

像無恥的婦人與情郎苟合,

發出淫語浪聲。

這些可憎之事,我都看見了。

耶路撒冷啊,你有禍了!

你什麼時候才肯自潔呢?」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 13:1-27

1Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” 2Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.

3Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri 4nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” 513:5 Kuv 40:16Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.

6Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” 7Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.

8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, 913:9 Lv 26:19“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 1013:10 a Yer 11:8; 16:12 b Yer 9:14Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 1113:11 a Yer 32:20; 33:9 b Kuv 19:5-6 c Yer 7:26Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”

Olugero lw’Ekita

12“Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 1313:13 Zab 60:3; 75:8; Is 51:17; 63:6; Yer 51:57Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 1413:14 a Yer 16:5 b Ma 29:20; Ez 5:10Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi

15Wuliriza ontegere okutu;

toba na malala,

Mukama y’akyogedde.

1613:16 a Yos 7:19 b Yer 23:12 c Is 59:9Mukama Katonda wo

mugulumize nga tannaleeta kizikiza,

nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi

ezikutte ekizikiza.

Musuubira ekitangaala,

naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa

akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.

1713:17 a Mal 2:2 b Yer 9:1 c Zab 80:1; Yer 23:1 d Yer 14:18Naye bwe mutaafeeyo,

emmeeme yange eneekaabira mu kyama

olw’amalala gammwe;

amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini

gakulukuse amaziga

era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.

18Gamba kabaka era ne namasole nti,

“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,

kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa

zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”

1913:19 Yer 20:4; 52:30Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,

tewali n’omu anaabiggulawo;

Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,

yonna yaakutwalibwa.

2013:20 a Yer 6:22; Kbk 1:6 b Yer 23:2Muyimuse amaaso gammwe

mulabe abo abava mu bukiikakkono.

Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,

endiga ezaabeeyinuzanga?

2113:21 a Yer 38:22 b Yer 4:31Muligamba mutya Mukama

bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?

Temulirumwa

ng’omukazi alumwa okuzaala?

2213:22 a Yer 9:2-6; 16:10-12 b Ez 16:37; Nak 3:5-6Era bwe weebuuza nti,

“Lwaki kino kintuseeko?”

Olw’ebibi byo ebingi

engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,

era omubiri gwo ne gubonerezebwa.

23Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe

oba engo okukyusa amabala gaayo?

Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,

mmwe abaamanyiira okukola ebibi.

2413:24 a Zab 1:4 b Lv 26:33“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku

ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.

2513:25 Yob 20:29; Mat 24:51Guno gwe mugabo gwo

gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,

“kubanga wanneerabira

ne weesiga bakatonda ab’obulimba.

2613:26 Kgb 1:8; Ez 16:37; Kos 2:10Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,

obwereere bwammwe ne bulabika.

2713:27 a Yer 2:20 b Ez 6:13 c Kos 8:5Ndabye obwenzi bwammwe

n’obwamalaaya bwe mukoze.

Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi

era ne mu nnimiro.

Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!

Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”