約翰福音 20 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約翰福音 20:1-31

耶穌復活

1週日清晨,天還未亮,抹大拉瑪麗亞就來到墳墓前,發現封住墓口的石頭已經挪開了。 2她趕快跑去告訴西門·彼得和耶穌所愛的那個門徒,說:「有人把主從墳墓裡搬走了,不知放到哪裡去了。」

3彼得和那個門徒聽了就出去,往墳墓那邊跑。 4兩個人一起跑,但那個門徒比彼得跑得快,所以先到了墳墓。 5他並沒有進去,只是探頭往裡看,看見細麻布還在那裡。 6西門·彼得隨後也來了,他進到裡邊,看到細麻布放在那裡, 7耶穌的裹頭巾則捲著放在另一處,沒有和細麻布放在一起。 8先到的那個門徒也進來了,看見這種情形,就信了。 9因為他們還不明白聖經上有關耶穌必要從死裡復活的話。 10然後,他們各自回家去了。

11瑪麗亞卻站在墳墓外面哭泣,邊哭邊往墳墓裡面看, 12看見兩個穿著白衣的天使分別坐在原來安放耶穌遺體的頭腳兩端。

13天使對她說:「婦人,你為什麼哭呢?」

她說:「有人把我的主搬走了,不知道放在什麼地方。」 14說完,她轉過身來,看見耶穌站在那裡,但她不知道那就是耶穌。

15耶穌問她:「婦人,你為什麼哭?你在找誰?」

瑪麗亞還以為祂是園丁,就說:「先生,如果是你把祂搬走了,請告訴我放在哪裡了,我好搬回來。」

16耶穌說:「瑪麗亞。」

瑪麗亞立即轉過頭來用希伯來話對祂說:「拉波尼!」拉波尼的意思是老師。

17耶穌說:「不要拉著我,我還沒有升到父那裡。你先去找我的眾弟兄,告訴他們我要升天去見我的父,也是你們的父;去見我的上帝,也是你們的上帝。」

18抹大拉瑪麗亞就去向門徒報訊,說:「我看見主了!」又把主對她說的話告訴門徒。

向門徒顯現

19當天晚上,即週日晚上,門徒因為害怕猶太人,把房門都關上了。忽然,耶穌來了,站在他們當中,對他們說:「願你們平安!」 20說完,讓他們看祂的手和肋旁。門徒看見主,十分歡喜。

21耶穌又說:「願你們平安。父怎樣差遣我,我也照樣差遣你們。」 22然後祂向他們吹了一口氣,說:「你們領受聖靈吧! 23你們赦免誰的罪,誰的罪就得到赦免;你們不赦免誰的罪,誰的罪就得不到赦免。」

向多馬顯現

24耶穌顯現的時候,十二個門徒中綽號「雙胞胎」的多馬不在場。 25其他門徒告訴他:「我們看見主了!」可是多馬說:「除非我親眼看見祂手上的釘痕,用手摸到祂手上的釘痕和祂的肋旁,否則我決不信。」

26過了八天,門徒又聚在一起,多馬也在,門都關著。突然耶穌來了,站在他們當中說:「願你們平安!」 27然後對多馬說:「把你的指頭放在我手上摸摸看,伸出手來摸摸我的肋旁。不要懷疑,要信!」

28多馬回答說:「我的主,我的上帝!」

29耶穌說:「你看見我才信,那些沒有看見就信的人有福了。」

30耶穌在門徒面前還行了許多神蹟,只是沒有記在這本書裡。 31而記載這些事的目的是為了使你們相信耶穌就是基督,是上帝的兒子,並且使你們這些信祂的人可以靠祂的名得到生命。

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 20:1-31

Okuzuukira kwa Yesu

120:1 a nny 18; Yk 19:25 b Mat 27:60, 66Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana. 220:2 a Yk 13:23 b nny 13N’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo n’abagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”

320:3 Luk 24:12Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. 4Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana. 520:5 a nny 11 b Yk 19:40N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana. 6Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo. 720:7 Yk 11:44N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali. 820:8 nny 4N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza. 920:9 a Mat 22:29; Yk 2:22 b Luk 24:26, 46Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu. 10Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.

Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene

1120:11 nny 5Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba, 1220:12 Mat 28:2, 3; Mak 16:5; Luk 24:4; Bik 5:19n’alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.

1320:13 a nny 15 b nny 2Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?”

N’abaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!” 1420:14 a Mat 28:9; Mak 16:9 b Luk 24:16; Yk 21:4Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.

1520:15 nny 13Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?”

Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, “Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”

1620:16 a Yk 5:2 b Mat 23:7Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!”

Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.”

1720:17 a Mat 28:10 b Yk 7:33Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”

1820:18 a nny 1 b Luk 24:10, 22, 23Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be

1920:19 a Yk 7:13 b Yk 14:27 c nny 21, 26; Luk 24:36-39Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 2020:20 a Luk 24:39, 40; Yk 19:34 b Yk 16:20, 22Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

2120:21 a nny 19 b Yk 3:17 c Mat 28:19; Yk 17:18N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” 2220:22 Yk 7:39; Bik 2:38; 8:15-17; 19:2; Bag 3:2Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu. 2320:23 Mat 16:19; 18:18Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”

Yesu Alabikira Tomasi

2420:24 Yk 11:16Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 2520:25 a nny 20 b Mak 16:11Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”

Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

2620:26 a Yk 14:27 b nny 21Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 2720:27 nny 25; Luk 24:40Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

2920:29 a Yk 3:15 b 1Pe 1:8Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”

3020:30 a Yk 2:11 b Yk 21:25Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. 3120:31 a Yk 3:15; 19:35 b Mat 4:3 c Mat 25:46Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.