約翰福音 21 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約翰福音 21:1-25

海邊顯現

1後來,耶穌在提比哩亞海邊又向門徒顯現。當時的情形是這樣的: 2西門·彼得、綽號「雙胞胎」的多馬加利利迦拿拿但業西庇太的兩個兒子以及其他兩個門徒都在一起。

3西門·彼得對他們說:「我要去打魚了!」

眾人說:「我們也跟你去。」於是他們就出去,上了船,但那一夜什麼也沒打到。 4天將破曉的時候,耶穌站在岸上,但門徒都不知道是耶穌。

5耶穌對他們說:「孩子們,打到魚沒有?」

他們回答說:「沒有!」

6耶穌說:「在船的右邊下網就會打到魚。」於是他們照著祂的話把網撒下去,網到的魚多到連網都拉不動。

7耶穌所愛的那個門徒對彼得說:「是主!」那時西門·彼得赤著身子,一聽見是主,立刻束上外衣,跳進海裡。 8其他門徒離岸不遠,約有一百米,他們隨後用船把那一網魚拖到岸邊。 9他們上岸後,看見有一堆炭火,上面有魚和餅。

10耶穌說:「拿幾條剛打的魚來。」 11西門·彼得就上船把網拉上岸。網裡一共有一百五十三條大魚!雖然魚這麼多,網卻沒有破。

12耶穌又說:「你們來吃早餐吧!」沒有一個門徒敢問祂是誰,他們都知道祂是主。 13耶穌就過來把餅和魚分給他們。

14這是耶穌從死裡復活後第三次向門徒顯現。

耶穌和彼得

15吃過早餐,耶穌對西門·彼得說:「約翰的兒子西門,你比這些人更愛我嗎?21·15 你比這些人更愛我嗎」或譯「你愛我比愛這些更深嗎」。

彼得說:「主啊!是的,你知道我愛你。」

耶穌對他說:「你要餵養我的小羊。」

16耶穌第二次問:「約翰的兒子西門,你愛我嗎?」

彼得說:「主啊!是的,你知道我愛你。」

耶穌說:「你要牧養我的羊。」

17耶穌第三次問:「約翰的兒子西門,你愛我嗎?」

彼得因為耶穌一連三次這樣問他,就難過起來,於是對耶穌說:「主啊!你是無所不知的,你知道我愛你。」

耶穌說:「你要餵養我的羊。 18我實實在在地告訴你,你年輕力壯的時候,自己穿上衣服,想去哪裡就去哪裡。但到你年老的時候,你將伸出手來,別人要把你綁起來帶你到你不願意去的地方。」 19這話是暗示彼得將要怎樣死來使上帝得榮耀。之後,耶穌又對他說:「你跟從我吧!」

20彼得轉身看見耶穌所愛的那個門徒跟在後面,就是吃最後的晚餐時靠在耶穌身邊問「主啊!是誰要出賣你?」的那個門徒。 21彼得問耶穌:「主啊!他將來會怎樣呢?」

22耶穌說:「如果我要他活到我再來,與你有什麼關係?你只管跟從我吧!」

23於是在信徒中間就傳說那個門徒不會死。其實耶穌並沒有說他不會死,只是說:「如果我要他活到我再來,與你有什麼關係?」

24為這些事做見證、記錄這些事的就是那個門徒,我們都知道他的見證是真實的。 25耶穌還做了許多其他的事,如果都寫成書,我想整個世界也容納不下。

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 21:1-25

Yesu Alabikira Abayigirizwa be musanvu

121:1 a Yk 20:19, 26 b Yk 6:1Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya.21:1 ye Nnyanja ey’e Ggaliraaya Yabalabikira bw’ati: 221:2 a Yk 11:16 b Yk 1:45 c Yk 2:1 d Mat 4:21Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. 321:3 Luk 5:5Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.

421:4 Luk 24:16; Yk 20:14Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.

5Yesu n’ababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?”

Ne baddamu nti, “Nedda.”

621:6 Luk 5:4-7Yesu n’abagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!

721:7 Yk 13:23Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. 8Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda. 921:9 a Yk 18:18 b nny 10, 13Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.

10Yesu n’abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.”

11Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka. 12Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” Naye ku bayigirizwa tewaali n’omu yategana ku mubuuza nti, “Ggwe ani?” Kubanga bonna baamanya nti ye Mukama waffe. 1321:13 nny 9Yesu n’atoola omugaati n’abagabira era n’ebyennyanja n’akola bw’atyo. 1421:14 Yk 20:19, 26Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng’amaze okuzuukira.

Yesu Azzaamu Peetero Amaanyi

1521:15 a Mat 26:33, 35; Yk 13:37 b Luk 12:32Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?”

Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”

1621:16 Mat 2:6; Bik 20:28; 1Pe 5:2, 3Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?”

Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”

1721:17 a Yk 13:38 b Yk 16:30 c nny 16Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?”

Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange. 18Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.” 1921:19 a Yk 12:33; 18:32 b 2Pe 1:14Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

2021:20 a nny 7; Yk 13:23 b Yk 13:25Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?” 21Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”

2221:22 a Mat 16:27; 1Ko 4:5; Kub 2:25 b nny 19Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.” 2321:23 Bik 1:16Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”

2421:24 a Yk 15:27 b Yk 19:35Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga by’ategeeza bya mazima.

Ebifundikira

2521:25 Yk 20:30Waliwo n’ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.