約珥書 2 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約珥書 2:1-32

耶和華審判的日子

1你們要在錫安吹響號角,

在我的聖山上發出警訊,

地上的居民都要戰抖,

因為耶和華的日子將要來臨,

已經近了。

2那將是烏雲密佈、

天昏地暗的日子。

來了一支空前絕後、強盛無比的蝗蟲大軍,

牠們像曙光一樣佈滿山頭。

3牠們的前隊如火燎原,

後隊如熊熊烈焰。

牠們未到以前,

大地美得像伊甸園;

牠們過去之後,

大地變成一片荒場,

地上的一切都逃不過這一場浩劫。

4牠們的形狀像馬,

快速奔馳如戰馬,

5在山嶺上跳躍奔騰,

如隆隆戰車,

好像烈火吞噬乾草的聲音,

又如大軍擺開陣式準備打仗。

6牠們一來,百姓就驚慌失措,

面如死灰。

7牠們快速奔跑像勇士,

攀登城牆如戰士,

有條不紊地前進。

8隊伍整齊,各行其道,

勢如破竹,無堅不摧。

9牠們衝向城邑,躥上城牆,

爬進房屋,

如盜賊般破窗而入。

10所到之處,

天搖地動,

日月昏暗,

星辰無光。

11耶和華向祂的軍隊發號施令,

祂的隊伍不計其數,

執行祂命令的是一支勁旅。

耶和華的日子偉大而可畏,

誰能承受得住呢?

呼籲人民悔改

12耶和華說:

「現在,你們要禁食、哭泣、哀號,

全心回轉歸向我。」

13你們要撕心般地悔改,

而不是撕裂衣服。

歸向你們的上帝耶和華吧,

因為祂有恩典和憐憫,

不輕易發怒,

有無限的慈愛,

不忍心降災禍。

14誰知道呢?

或許祂轉念心生憐憫,

給你們留下祝福,

使你們可以再次向你們的上帝耶和華獻上素祭和奠祭。

15要在錫安山吹響號角,

宣佈禁食的日子,

舉行莊嚴的聚會。

16要招聚老人,聚集孩童,

包括吃奶的嬰兒;

要吩咐新郎出洞房、

新娘出內室;

要召集全體人民,

讓他們潔淨自己。

17讓事奉耶和華的祭司站在聖殿門廊和祭壇中間,

哭泣懇求說:

「耶和華啊,

求你顧惜你的子民,

不要讓外族人侮辱、

譏笑你的產業說,

『你們的上帝在哪裡呢?』」

再賜祝福

18耶和華為自己的土地發熱心,

祂憐憫自己的子民。

19祂回應他們說:

「我必賜五穀、新酒和油給你們,

使你們飽足,

不再讓你們受列國的羞辱。

20我要趕出從北方來的軍隊,

把他們驅逐到一個乾旱荒蕪的地方,

把他們的領頭部隊趕進死海,

再把他們的殿後部隊趕進地中海,

那時他們必臭氣沖天、

腥味騰空,

因為耶和華為你們行了大事。」

21大地啊,不用懼怕,

倒要歡喜快樂;

因為耶和華行了大事。

22田野的走獸啊,不要懼怕,

因為綠草鋪遍了原野,

樹木也結滿了果子,

無花果樹和葡萄樹都結實纍纍。

23錫安的人民啊,

你們應當歡喜快樂,

從你們的上帝耶和華那裡得到喜樂。

因為祂按時2·23 按時」希伯來文是「按公義」。降下甘霖,

像從前一樣賜給你們秋雨、

春雨。

24麥場必堆滿五穀,

酒槽裡的酒和油槽裡的油必滿溢。

25「我派蝻蟲、蚱蜢、螞蚱

和蝗蟲大軍在那些年所吃掉的,

我要補償你們。

26你們必吃得飽足,

並讚美你們的上帝耶和華的名,

因祂為你們行了奇事。

我的子民永遠不會再蒙羞。

27這樣,你們就知道我在以色列

知道我是你們的上帝耶和華,

除我以外別無他神。

我的子民永遠不會再蒙羞。

28「以後,我要將我的靈澆灌所有的人。

你們的兒女要說預言,

老人要做異夢,

青年要見異象。

29在那些日子,

我要將我的靈澆灌我的僕人和婢女。

30「我要在天上地下行奇事,你們將看見血、火和煙柱。 31太陽要變得昏暗,月亮要變得血紅。在耶和華偉大而可畏的日子來臨以前,這些事都會發生。 32那時候,凡求告耶和華之名的人都必得救,因為在錫安山,在耶路撒冷城,必有逃脫災難的人,耶和華所呼召的人必倖存下來,正如耶和華所言。」

Luganda Contemporary Bible

Yoweeri 2:1-32

Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja

12:1 a Yer 4:5 b nny 15 c Yo 1:15; Zef 1:14-16 d Ob 15Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.

N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.

Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,

kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,

era lunaatera okutuuka.

22:2 a Am 5:18 b Dan 9:12 c Yo 1:6 d Yo 1:2Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;

olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.

Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,

ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.

Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,

era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.

32:3 a Lub 2:8 b Zab 105:34-35Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,

n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.

Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,

naye gye ziva buli kimu zikiridde;

ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.

42:4 Kub 9:7Zifaanana ng’embalaasi,

era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.

52:5 a Kub 9:9 b Is 5:24; 30:30Zigenda zibuuka ku nsozi

nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;

ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga

ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.

62:6 a Is 13:8 b Nak 2:10Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,

era bonna beeraliikirivu.

72:7 Is 5:27Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,

ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.

Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi

awatali kuwaba n’akamu.

8Tezirinnyaganako,

buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.

Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,

ne watabaawo kisobola kuziziyiza.

92:9 Yer 9:21Zifubutuka ne zigwira ekibuga.

Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.

Zirinnya amayumba

ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.

102:10 a Zab 18:7 b Mat 24:29 c Is 13:10; Ez 32:8Zikankanya ensi

era n’eggulu ne lijugumira.

Zibuutikira enjuba n’omwezi,

era n’emmunyeenye tezikyayaka.

112:11 a Yo 1:15 b Zef 1:14; Kub 18:8 c Ez 22:14Mukama akulembera eggye lye

n’eddoboozi eribwatuuka.

Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.

Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.

Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu

era lwa ntiisa nnyo.

Ani ayinza okulugumira?

Abantu Bayitibwa Okwenenya

122:12 Yer 4:1; Kos 12:6Mukama kyava agamba nti,

“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.

Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

132:13 a Zab 34:18; Is 57:15 b Yob 1:20 c Kuv 34:6 d Yer 18:8Muyuze emitima gyammwe

so si byambalo byammwe.

Mudde eri Mukama Katonda wammwe,

kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,

era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;

n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.

142:14 a Yer 26:3 b Kag 2:19 c Yo 1:13Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,

n’abawa omukisa gwe

ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe

ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

152:15 a Kbl 10:2 b Yer 36:9 c Yo 1:14Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,

mulangirire okusiiba okutukuvu.

Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.

162:16 a Kuv 19:10, 22 b Zab 19:5Mukuŋŋaanye abantu bonna.

Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.

Muyite abakulu abakulembeze.

Muleete abaana abato

n’abo abakyali ku mabeere.

N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,

n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.

172:17 a Ez 8:16; Mat 23:35 b Ma 9:26-29; Zab 44:13 c Zab 42:3Bakabona abaweereza ba Mukama

bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,

bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;

abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga

era n’okubasekerera.

Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,

‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Mukama Asaasira Abantu Be

182:18 Zek 1:14Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,

n’asaasira abantu be.

192:19 a Yer 31:12 b Ez 34:29N’ayanukula abantu be nti,

“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,

ebimala okubakkusiza ddala,

era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,

bannaggwanga amalala ne babasekerera.

202:20 a Yer 1:14-15 b Is 34:3“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono

ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.

Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,

n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.

Ekivundu n’okuwunya birituuka wala

okusinga ebyo byonna bye libakoze.”

212:21 a Is 54:4; Zef 3:16-17 b Zab 126:3Mwe abali mu nsi, temutya.

Musanyuke era mujaguze;

kubanga Mukama abakoledde ebikulu.

222:22 a Zab 65:12 b Yo 1:18-20Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;

kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.

Emiti gibaze ebibala byagyo,

era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.

232:23 a Zab 149:2; Is 12:6; 41:16; Kbk 3:18; Zek 10:7 b Lv 26:4Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;

mujagulize Mukama Katonda wammwe.

Kubanga abawadde

enkuba esooka mu butuukirivu.

Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo

mu mwaka ng’obw’edda.

242:24 a Lv 26:10; Mal 3:10 b Am 9:13Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,

n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.

25“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.

Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,

n’enzige ezisala obusazi,

awamu n’ezo ezizikiririza ddala.

262:26 a Lv 26:5 b Is 62:9 c Zab 126:3; Is 25:1Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.

Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe

abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.

Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

272:27 Yo 3:17Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,

era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,

so tewali mulala;

n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

282:28 Ez 39:29“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,

ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.

Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;

abakadde baliroota ebirooto,

n’abavubuka bammwe balyolesebwa.

292:29 1Ko 12:13; Bag 3:28Mu biro ebyo

ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.

302:30 a Luk 21:11 b Mak 13:24-25Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu

ne ku nsi:

omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.

312:31 a Mat 24:29 b Is 13:9-10; Mal 4:1, 5Enjuba erifuuka ekizikiza,

n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,

olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.

322:32 a Bik 2:17-21*; Bar 10:13* b Is 46:13 c Ob 17 d Is 11:11; Mi 4:7; Bar 9:27Awo olulituuka buli alikoowoola

erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.

Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi

walibaawo abaliwona

nga Mukama bw’ayogedde,

ne mu abo abalifikkawo

mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”