歷代志下 29 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 29:1-36

猶大王希西迦

1希西迦二十五歲登基,在耶路撒冷執政二十九年。他母親叫亞比雅,是撒迦利雅的女兒。 2希西迦效法他祖先大衛,做耶和華視為正的事。

潔淨聖殿

3希西迦元年一月,他開啟耶和華殿的門,重新修理。 4他把眾祭司和利未人召集在東邊的廣場, 5對他們說:「利未人啊,請聽我說!現在你們要潔淨自己,也要潔淨你們祖先的上帝耶和華的殿,除去聖所中的污穢之物。 6我們的祖先行事不忠,做我們的上帝耶和華視為惡的事,背棄祂,轉臉背向祂的居所。 7他們封鎖殿廊的門,吹滅燈火,不在聖所裡向以色列的上帝燒香、獻燔祭。 8因此,耶和華的烈怒臨到猶大耶路撒冷,使他們的遭遇令人恐懼、震驚、嗤笑,正如你們親眼所見的。 9所以我們的祖先死在刀下,我們的妻兒也被擄去。 10現在我決心要與以色列的上帝耶和華立約,好使祂的烈怒轉離我們。 11我的孩子們啊,不要懈怠!因為耶和華揀選你們站在祂面前事奉祂,向祂燒香。」

12於是,利未人開始供職。其中哥轄宗族有亞瑪賽的兒子瑪哈亞撒利雅的兒子約珥米拉利宗族有亞伯底的兒子基士耶哈利勒的兒子亞撒利雅革順宗族有薪瑪的兒子約亞約亞的兒子伊甸13以利撒反宗族有申利耶利亞薩宗族有撒迦利雅瑪探雅14希幔宗族有耶歇示每耶杜頓宗族有示瑪雅烏薛15他們召集其他利未人一起潔淨自己,並遵照王的吩咐和耶和華的命令,進去潔淨耶和華的殿。 16祭司們進入耶和華的殿,把所有污穢之物搬到耶和華殿的院子裡,然後再由利未人運到外面的汲淪溪丟掉。 17他們一月一日開始潔淨的工作,到一月八日已經潔淨到耶和華殿的走廊,又用八天潔淨耶和華的殿,一月十六日完成潔淨的工作。

重新奉獻聖殿

18然後,他們晉見希西迦王,說:「我們已經潔淨了整個耶和華的殿、燔祭壇以及壇上的一切器皿、供餅的桌子及桌子上的一切器皿。 19我們已備齊亞哈斯王對上帝不忠時所廢棄的器皿,並潔淨了它們,現在都放在耶和華的壇前。」

20希西迦王清早起來,召集城中官員一同上到耶和華的殿。 21他們牽來七頭公牛、七隻公綿羊、七隻羊羔和七隻公山羊,作國家、聖所和猶大人的贖罪祭。王吩咐做祭司的亞倫子孫把這些牲畜獻在耶和華的壇上。 22他們宰了公牛,祭司取過血來灑在壇上,然後宰了公綿羊並把血灑在壇上,又宰了羊羔並把血灑在壇上。 23有人把作贖罪祭的公山羊牽到王和會眾面前,他們就將手按在公山羊身上。 24祭司宰了公山羊,把血灑在壇上作贖罪祭,為所有以色列人贖罪,因為王吩咐要為所有以色列人獻上燔祭和贖罪祭。

25王又分派利未人在耶和華的殿裡敲鈸、鼓瑟、彈琴,正如大衛王、王的先見迦得和先知拿單的指示,即耶和華藉先知所吩咐的。 26利未人拿著大衛的樂器侍立在那裡,祭司拿著號角侍立在那裡。 27希西迦下令在壇上獻燔祭。開始獻燔祭時,伴隨著號角聲和以色列大衛的樂器聲,響起了頌讚耶和華的歌聲。 28全體會眾伴著歌聲和號角聲俯伏敬拜,直到獻完燔祭。 29獻完燔祭後,王和所有在場的人都俯伏敬拜。 30希西迦王與眾官員又吩咐利未人用大衛亞薩先見的詩詞頌讚耶和華。他們歡喜地歌唱,並低頭敬拜。

31希西迦說:「你們既然已經把自己獻給了耶和華,現在就把祭物和感恩祭帶到耶和華的殿裡來吧。」於是,會眾就把祭物和感恩祭送來,有些人甘心樂意地送來燔祭。 32會眾獻給耶和華作燔祭的有七十頭公牛、一百隻公綿羊、二百隻羊羔, 33獻為聖物的有六百頭公牛、三千隻綿羊。 34但祭司人數太少,剝不完燔祭牲的皮,於是他們的親族利未人就來幫助他們,直到獻完燔祭,並且別的祭司也潔淨了自己,因為利未人比祭司更誠心潔淨自己。 35他們獻上大量的燔祭,以及很多平安祭祭牲的脂肪和與燔祭同獻的奠祭。

從此,耶和華殿裡的事奉恢復了。 36希西迦和民眾因上帝為他們所做的而歡喜快樂,因為這事情很快成就了。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 29:1-36

Keezeekiya Atukuza Yeekaalu

129:1 1By 3:13Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. 229:2 2By 28:1; 34:2Keezeekiya n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.

329:3 2By 28:24Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, n’aziddaabiriza. 4N’ayingiza bakabona n’Abaleevi, n’abakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olw’ebuvanjuba, 529:5 2By 35:6n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu. 629:6 a Zab 106:6-47; Yer 2:27 b 1By 5:25; Ez 8:16Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega. 7Baggalawo n’enzigi ez’ekisasi ne bazikiza n’ettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri. 829:8 a Ma 28:25; 2By 24:18 b Yer 18:16; 19:8; 25:9, 18Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe. 929:9 2By 28:5-8, 17Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe. 1029:10 2By 15:12; 23:16Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko. 1129:11 a Kbl 3:6; 8:6, 14 b 1By 15:2Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.”

1229:12 a Kbl 3:17-20 b 2By 31:15Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali:

Makasi mutabani wa Amasayi,

ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi,

ne Kiisi mutabani wa Abudi,

ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali,

ne Yowa mutabani wa Zimma,

ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni,

1329:13 1By 6:39ne Simuli ne Yeyeri

bazzukulu ba Erizafani,

ne Zekkaliya ne Mattaniya,

bazzukulu ba Asafu,

14ne Yekweri ne Simeeyi,

bazzukulu ba Kemani,

ne Semaaya ne Wuziyeeri

bazzukulu ba Yedusuni.

1529:15 nny 5; 1By 23:28; 2By 30:12Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya Mukama. 1629:16 2Sa 15:23Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni. 17Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza.

18Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna. 1929:19 2By 28:24N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya Mukama.”

20Awo bwe bwakya, enkeera kabaka Keezeekiya n’akuŋŋaanya abakungu ab’omu kibuga, ne balaga mu yeekaalu ya Mukama. 2129:21 Lv 4:13-14Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento nga nnume musanvu, n’embuzi ennume musanvu okuba ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ne ku lwa watukuvu, ne ku lwa Yuda. N’alyoka alagira bakabona, bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama. 2229:22 Lv 4:18Awo ne batta ente ennume, bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku kyoto, oluvannyuma ne batta endiga ennume ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto, n’oluvannyuma ne batta n’endiga ento ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto. 2329:23 Lv 4:15Embuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe, 2429:24 Kuv 29:36; Lv 4:26n’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna.

2529:25 a 1By 25:6; 2By 8:14 b 1Sa 22:5; 2Sa 24:11N’ateeka Abaleevi mu yeekaalu ya Mukama nga balina ebitaasa, entongooli, n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri Mukama ng’ayita mu bannabbi be. 2629:26 a 1By 15:16 b 1By 15:24; 23:5; 2By 5:12Awo Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga bakutte amakondeere.

2729:27 2By 23:18Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira Mukama, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga. 28Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n’abamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa.

2929:29 2By 20:18Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka n’abo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza. 30Kabaka Keezeekiya n’abakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi n’ebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza n’essanyu, ne bavuunama ne basinza.

3129:31 a Beb 13:15-16 b Kuv 25:2; 35:22Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.

32Omuwendo gw’ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, n’endiga ennume kikumi, n’endiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ng’ebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 33N’ensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, n’endiga enkumi ssatu. 3429:34 a 2By 35:11 b 2By 30:3, 15Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona. 3529:35 a Kuv 29:13; Lv 3:16 b Lv 7:11-21 c Kbl 15:5-10Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa.

Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo. 36Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.