歷代志下 30 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 30:1-27

預備守逾越節

1希西迦派人通告以色列猶大全境,又寫信通知以法蓮人和瑪拿西人,叫他們到耶路撒冷耶和華的殿,向以色列的上帝耶和華守逾越節。 2王、眾官員及耶路撒冷的全體會眾決定在二月守逾越節。 3他們不能在一月守節期,因為潔淨自己的祭司不夠多,民眾也沒有聚集在耶路撒冷4王與全體會眾都很贊成這個計劃。 5於是,他們下令通告全以色列,從別示巴直到,讓人們到耶路撒冷以色列的上帝耶和華守逾越節,因為人們不常照律例守這節期。

6信差遵照王的命令帶著王和眾官員的信走遍以色列猶大,宣告說:「以色列人啊,你們應當歸向亞伯拉罕以撒以色列的上帝耶和華,好使祂轉向你們這些從亞述王手中逃脫的餘民。 7不要效法你們的祖先和親族,他們對他們祖先的上帝耶和華不忠,以致耶和華使他們的下場很可怕,正如你們所見的。 8現在,不要像你們的祖先那樣頑固不化;要順服耶和華,進入祂永遠聖潔的聖所,事奉你們的上帝耶和華,好使祂的烈怒轉離你們。 9你們若歸向祂,你們的弟兄和兒女必蒙擄走他們之人的憐憫,得以回歸此地,因為你們的上帝耶和華有恩典,好憐憫。你們若歸向祂,祂必不會轉臉不顧你們。」

10信差將這通告逐城傳遍以法蓮瑪拿西,直到西布倫,可是那些地方的人卻嘲笑、戲弄他們。 11然而,有些亞設人、瑪拿西人和西布倫人謙卑悔改,來到耶路撒冷12耶和華上帝感動猶大人,使他們一心遵從王與眾官員奉祂的指示所下的命令。

守逾越節

13二月,大群的人聚到耶路撒冷守除酵節。 14他們除去耶路撒冷的祭壇和所有香壇,把它們丟進汲淪溪。 15二月十四日,他們宰了逾越節的羊羔。祭司和利未人覺得慚愧,就潔淨自己,把燔祭帶到耶和華的殿裡, 16然後照上帝的僕人摩西的律法照常供職。祭司從利未人手中接過血,灑在壇上。 17因為會眾中間有許多人沒有潔淨自己,利未人就為所有不潔之人宰逾越節的羊羔獻給耶和華。 18-19有許多以法蓮人、瑪拿西人、以薩迦人和西布倫人沒有潔淨自己就吃了逾越節的羊羔,違背了律法的規定。希西迦就為他們禱告說:「凡誠心尋求他祖先的上帝耶和華的人,雖然沒有照聖所的律例潔淨自己,願良善的耶和華赦免他!」 20耶和華垂聽希西迦的禱告,就赦免30·20 赦免」希伯來文是「醫治」。了他們。

21耶路撒冷以色列人非常喜樂地守除酵節七天。利未人和祭司用響亮的樂器天天頌讚耶和華。 22希西迦慰勞所有善於事奉耶和華的利未人。於是,眾人歡宴過節七天,又獻上平安祭,稱謝他們祖先的上帝耶和華。

再次守節期

23全體會眾商議要再守節期七天,於是大家又歡歡喜喜地守節期七天。 24猶大希西迦送給會眾一千頭公牛和七千隻羊,眾官員也送給會眾一千頭公牛和一萬隻羊,並且很多祭司都已潔淨自己。 25猶大全體會眾、祭司、利未人和從以色列來的全體會眾,以及寄居在以色列猶大的人盡都歡喜。 26耶路撒冷都喜氣洋洋,因為自以色列大衛的兒子所羅門時代以來,耶路撒冷從未有過這樣的盛會。 27利未祭司起來為民眾祝福,他們的禱告得蒙垂聽,達到天上的聖所。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 30:1-27

Keezeekiya Atukuza Embaga ey’Okuyitako

130:1 a Lub 41:52 b Kuv 12:11; Kbl 28:16Awo Keezeekiya n’aweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, n’awandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ng’abayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya Mukama, okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri. 230:2 Kbl 9:10Kabaka n’abakungu be, n’ekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogwokubiri; 330:3 2By 29:34baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga n’abantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 4Enteekateeka eyo n’erabika nga nnungi eri kabaka n’ekibiina kyonna. 530:5 Bal 20:1Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ng’ekibiina ekinene eky’awamu, nga bwe kyawandiikibwa.

6Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka n’abakungu be, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti,

“Abantu ba Isirayiri, mudde eri Mukama Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli. 730:7 a Zab 78:8, 57; 106:6; Ez 20:18 b 2By 29:8Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abataali beesigwa eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’abafuula ekyelolerwa, nga bwe mulaba. 830:8 a Kuv 32:9 b Kbl 25:4; 2By 29:10So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko. 930:9 a Ma 30:2-5; Is 1:16; 55:7 b 1Bk 8:50; Zab 106:46 c Kuv 34:6-7; Ma 4:31; Mi 7:18Bwe munadda eri Mukama, olwo ne baganda bammwe n’abaana bammwe banaalaba ekisa mu maaso g’abo abaabawamba, ne bakomawo mu nsi eno. Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.”

1030:10 2By 36:16Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira. 1130:11 nny 25Kyokka abamu ku bantu ab’e Aseri, ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bagenda e Yerusaalemi. 1230:12 Yer 32:39; Ez 11:19; Baf 2:13Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka n’abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.

1330:13 Kbl 28:16Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. 1430:14 a 2By 28:24 b 2Sa 15:23Ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n’ebyoto byonna eby’okwoterezaako obubaane, ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni.

1530:15 2By 29:34Ne batta Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogwokubiri. Bakabona n’Abaleevi ne baswala, ne beetukuza, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama. 1630:16 2By 35:10Ne bayimirira mu bifo byabwe ng’etteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi. 1730:17 2By 29:34Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama. 1830:18 Kuv 12:43-49; Kbl 9:6-10Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu 19amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka g’awatukuvu.” 2030:20 a 2By 6:20 b 2By 7:14; Mal 4:2 c Yak 5:16Mukama n’awulira okusaba kwa Keezeekiya, n’atabazikiriza.

2130:21 Kuv 12:15, 17; 13:6Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga Mukama buli lunaku, nga bakuba n’ebivuga eby’okumutendereza.

22Keezeekiya n’ayogera ebigambo eby’okugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa Mukama. Abantu ne balya emmere ey’embaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, ne batendereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.

2330:23 1Bk 8:65; 2By 7:9Ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okweyongerayo ennaku endala musanvu nga bali ku mbaga; bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga bajaguza. 2430:24 1Bk 8:5; 2By 29:34; 35:7; Ezr 6:17; 8:35Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume nga nto lukumi n’endiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. 2530:25 nny 11Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, n’abagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, n’abagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu. 2630:26 2By 7:8Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi. 2730:27 Kuv 39:43; Kbl 6:23; Ma 26:15; 2By 23:18; Zab 68:5Awo bakabona n’Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda n’abawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gy’abeera, mu ggulu.