撒母耳記上 9 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 9:1-27

掃羅尋驢

1有一個便雅憫人名叫基士,很有威望,是亞斐亞的玄孫、比歌拉的曾孫、洗羅的孫子、亞別的兒子。 2他的兒子掃羅年輕英俊,在以色列人中無人能比,高出其他人一個頭。 3一天,基士丟失了幾頭驢,他就對兒子掃羅說:「你帶一個僕人去找驢吧。」 4他們找遍了以法蓮的山區、沙利沙地區、沙琳地區和便雅憫地區,都找不著。

5最後,他們來到蘇弗掃羅對僕人說:「我們還是回家去吧,恐怕我父親不再為驢擔心,反而為我們擔心。」 6但僕人答道:「且慢,這城裡有一位上帝的僕人,很受人敬重,他所說的都會應驗。我們去找他吧,也許他會告訴我們該到哪裡去找驢。」 7掃羅答道:「如果去,我們有什麼可以送給他呢?我們袋裡的食物也吃完了,我們還有什麼可以送給上帝的僕人呢?」 8僕人說:「我這裡還有三克銀子,我們可以送給上帝的僕人,請他告訴我們去哪裡找驢。」 9從前在以色列,如果人們要求問上帝,他們會說:「讓我們去找先見吧。」當時「先知」被稱為「先見」。 10掃羅說:「好,我們去吧。」於是,他們前往上帝僕人住的城。 11他們走上山坡,正要進城的時候,遇見一些少女出來打水,就問:「先見在這裡嗎?」 12她們答道:「他在這裡,就在你們前面。你們快去吧,他今天剛到城裡來,因為今天人們在邱壇獻祭。 13你們一進城,就會在他上邱壇吃祭物之前遇見他。因為他不來,人們不能吃,他要先為祭物祝謝後,人們才可以吃。你們現在上去吧,一定會遇見他。」 14他們就趕往城內,剛走進城,就看見撒母耳迎面而來,要上邱壇去。

15掃羅來的前一天,耶和華已經啟示撒母耳說: 16「明天這個時候,我會從便雅憫境內差遣一個人到你這裡,你要膏立他做我以色列子民的首領,他會從非利士人手中把我的子民拯救出來,因為我已聽到我子民的呼求,我要施恩給他們。」

17撒母耳看見掃羅的時候,耶和華就對他說:「這就是我對你說的那個人,他將統治我的子民。」 18掃羅來到在城門口的撒母耳面前,問道:「請你告訴我先見住在哪裡?」 19撒母耳答道:「我就是先見。你先上邱壇去,今天你要和我一起吃飯。明天早上我會送你上路,並把你想知道的事告訴你。 20不要再掛念三天前丟失的驢了,已經找到了。以色列人所仰慕的人是誰呢?不是你和你父親全家嗎?」 21掃羅答道:「我來自以色列最小的便雅憫支派,我的家族在便雅憫支派中最小,你何出此言?」

22撒母耳帶著掃羅和他的僕人來到一個大廳,讓他們在請來的三十位客人中坐上座。 23撒母耳對廚師說:「把我交給你的那份祭肉拿來。」 24廚師就拿來那塊腿肉,擺在掃羅面前。撒母耳說:「這是為你留的,請吃吧。這是我在請客人時特意為你留的。」於是,掃羅撒母耳一起吃飯。 25他們從邱壇下來,回到城裡後,撒母耳掃羅帶到屋頂上談話。 26次日黎明時分,撒母耳呼喚屋頂上的掃羅:「起來吧,我該送你上路了。」於是掃羅起床後,與撒母耳一起往外走。 27他們來到城邊的時候,撒母耳掃羅吩咐僕人先走。僕人離去後,他對掃羅說:「你在這裡留一會兒,我要把上帝的話告訴你。」

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 9:1-27

Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta

19:1 1Sa 14:51; 1By 8:33; 9:39Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini. 29:2 a 1Sa 10:24 b 1Sa 10:23Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.

3Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.” 49:4 a Yos 24:33 b 2Bk 4:42Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.

59:5 a 1Sa 1:1 b 1Sa 10:2Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.” 69:6 a Ma 33:1; 1Bk 13:1 b 1Sa 3:19Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.” 79:7 1Bk 14:3; 2Bk 5:5, 15; 8:8Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”

8Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.” 99:9 2Sa 24:11; 2Bk 17:13; 1By 9:22; 26:28; 29:29; Is 30:10; Am 7:12(Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).

10Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali. 119:11 Lub 24:11, 13Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?” 129:12 a Kbl 28:11-15; 1Sa 7:17 b Lub 31:54; 1Sa 10:5; 1Bk 3:2Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu. 13Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira9:13 Ebijjulo byabeerangawo oluvannyuma lw’emikolo egimu egy’okuwaayo ssaddaaka mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”

14Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu. 15Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti, 169:16 a 1Sa 10:1 b Kuv 3:7-9“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”

179:17 1Sa 16:12Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.” 18Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?” 19Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo. 209:20 a nny 3 b 1Sa 8:5; 12:13Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?” 219:21 a 1Sa 15:17 b Bal 20:35, 46Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?” 22Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.

23Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”

249:24 Lv 7:32-34; Kbl 18:18Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo. 259:25 Ma 22:8; Bik 10:9Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu. 26Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga. 27Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”