撒母耳記上 10 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 10:1-27

立掃羅為王

1撒母耳把一瓶膏油倒在掃羅的頭上,親吻他,說:「耶和華已經膏立你做祂子民的首領。 2你離開我以後,會在便雅憫境內的泄撒、靠近拉結的墓旁遇見兩個人。他們會告訴你,走失的驢已經找到,現在你父親不再為驢擔心,反為你擔心,說,『我該怎樣找到我的兒子呢?』 3你繼續往前走,會在他泊的橡樹那裡遇見三個人。他們要到伯特利去敬拜上帝,一個牽著三隻山羊羔,一個帶著三個餅,一個拿著一皮袋酒。 4他們會問候你,送你兩個餅,你會把餅收下。 5此後,你會去上帝的山,那裡有非利士人的駐軍。你一進城,就會遇見一群先知從邱壇下來,前面有人鼓瑟、敲鼓、吹笛、彈琴,先知們會說預言。 6耶和華的靈會降在你身上,你就會跟他們一起說預言,那時,你會變成另一個人。 7這些兆頭臨到你的時候,你就要見機行事,因為上帝與你同在。 8你先到吉甲去,在那裡等我七天,我會到那裡獻燔祭和平安祭。我到了以後會告訴你怎麼做。」

9掃羅轉身離開撒母耳,上帝使他心靈煥然一新。撒母耳所說的預言那天都應驗了。 10掃羅和他的僕人來到上帝的山,遇見了一群先知。上帝的靈降在掃羅身上,他就和他們一起說起預言來。 11以前認識掃羅的人看見他跟先知一起說預言,就議論說:「基士的兒子怎麼了?掃羅也做了先知嗎?」 12當地的一個人說:「他們的父親是誰?」自此以後,「掃羅也做了先知嗎」就成為一句諺語。 13掃羅說完預言以後,就去了邱壇。

14掃羅的叔叔問他和他的僕人:「你們到哪裡去了?」掃羅答道:「我們去找驢,沒找著,就去見撒母耳。」 15掃羅的叔叔說:「請把撒母耳對你們說的話告訴我。」 16掃羅答道:「他肯定地告訴我們驢已經找到了。」但掃羅沒有把自己做王的事告訴叔叔。

17撒母耳把所有以色列人招聚到米斯巴耶和華那裡, 18說:「以色列的上帝耶和華這樣說,『我帶領你們離開埃及,從埃及人及壓迫你們的各國之人手中救出你們。』 19但你們現在卻背棄了拯救你們脫離一切災難和困苦的上帝,竟然對祂說,『我們要你立一位王來統治我們。』所以你們現在就按著支派宗族站在耶和華面前吧!」

20撒母耳以色列各支派來抽籤,結果抽中了便雅憫支派。 21然後撒母耳便雅憫支派的各宗族來抽,結果抽中了瑪特利家族,最後又抽中了基士的兒子掃羅。大家找掃羅,卻找不到他。 22他們便求問耶和華,說:「這人來了嗎?」耶和華說:「他來了,躲在行李堆中。」 23他們就跑去把掃羅請來。掃羅站在百姓當中,高出眾人一頭。 24撒母耳對百姓說:「這就是耶和華為你們選的人。在以色列沒有人能比得上他。」眾人高呼:「願王萬歲!」

25撒母耳向百姓說明做君王的權利和責任,又把這些都記在冊子上,放在耶和華面前,然後讓百姓各自回家。 26掃羅返回基比亞自己的家時,有一群被上帝感動的勇士跟隨他。 27但有一些市井之徒說:「這人怎能救我們?」就鄙視他,沒有送禮物給他,但掃羅沒有說什麼。

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 10:1-27

110:1 a 1Sa 16:13; 2Bk 9:1, 3, 6 b Zab 2:12 c Ma 32:9; Zab 78:62, 71Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri. 210:2 a Lub 35:20 b 1Sa 9:4 c 1Sa 9:5Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’ 

310:3 Lub 28:22; 35:7-8“Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. 4Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize.

510:5 a 1Sa 13:3 b 1Sa 9:12 c 2Bk 3:15 d 1Sa 19:20; 1Ko 14:1“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. 610:6 nny 10; Kbl 11:25; 1Sa 19:23-24Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya. 710:7 a Mub 9:10 b Yos 1:5; Bal 6:12; Beb 13:5Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky’onoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe.

810:8 1Sa 11:14-15“Serengeta onsookeyo e Girugaali10:8 Girugaali kye kifo mu Kanani eyasokerwa okuzimbibwa awasinzibwa (Yos 4:19-24).. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.”

Sawulo Afuulibwa Kabaka

910:9 nny 6Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. 1010:10 nny 5-6; 1Sa 19:20Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo. 1110:11 a Mat 13:54; Yk 7:15 b 1Sa 19:24Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?” 12Omu ku batuuze b’ekitundu ekyo n’abuuza nti, “Ye kitaabwe y’ani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?” 13Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, n’ayambuka mu kifo ekigulumivu.

1410:14 1Sa 14:50Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.” 15Kojja wa Sawulo n’amugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.” 1610:16 1Sa 9:20Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka.

1710:17 Bal 20:1; 1Sa 7:5Samwiri n’ayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri Mukama e Mizupa10:17 Mizupa kye kifo abantu gye baasisinkananga okuteesa ku nsonga enkulu (Bal 20:1; 21:1). 1810:18 Bal 6:8-9N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. 1910:19 a 1Sa 8:5-7; 12:12 b Yos 7:14; 24:1Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”

20Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu10:20 Akalulu kaakubibwanga okusinziira ku wurimu ne Sumimu. 21N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika. 2210:22 1Sa 23:2, 4, 9-11Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?”

Awo Mukama n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”

2310:23 1Sa 9:2Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu. 2410:24 a Ma 17:15; 2Sa 21:6 b 1Bk 1:25, 34, 39Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”

2510:25 Ma 17:14-20; 1Sa 8:11-18Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe.

2610:26 1Sa 11:4Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima. 2710:27 a Ma 13:13 b 1Bk 10:25; 2By 17:5Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega.