撒母耳記上 11 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 11:1-15

掃羅打敗亞捫人

1亞捫拿轄率軍上來圍困基列·雅比,城內的居民對拿轄說:「你與我們立約吧!我們願意服從你。」 2亞捫拿轄說:「好,但有一個條件,我要挖去你們每一個人的右眼作為對全體以色列人的羞辱。」 3雅比的長老說:「請寬限我們七天,我們好派遣使者去以色列全境。要是沒有人來營救我們,我們就向你投降。」 4雅比的使者來到掃羅的家鄉基比亞,把他們的情況告訴眾人,大家聽了放聲大哭。 5那時掃羅剛好趕著牛從田間回來,便問道:「發生了什麼事?為什麼大家都在哭?」百姓把雅比的情況告訴了他。 6掃羅聽後,上帝的靈降在他身上,他勃然大怒, 7牽來兩頭牛,把牠們切成碎塊,然後派使者把碎塊分發到以色列全境,並且宣佈:「誰拒絕跟隨掃羅撒母耳出戰,他的牛就要被砍成這樣。」上帝使百姓充滿恐懼,他們都同心合意地回應。 8掃羅比色統計以色列人,共有三十萬,從猶大來的有三萬。 9他們讓雅比的使者回去告訴基列·雅比人,說:「明天中午,你們必得拯救。」使者回去告訴雅比人,他們非常歡喜, 10便對亞捫人說:「明天我們會出來歸順你們,你們怎樣對待我們都可以。」 11第二天,掃羅以色列人分成三隊,在黎明時分突襲亞捫人的軍營,把他們殺得大敗,直到中午才收兵。亞捫人的殘兵四散奔逃。

12以色列人對撒母耳說:「是誰說掃羅不該做王?把他們帶來,我們要處死他們。」 13掃羅卻說:「今天不可殺人,因為今天耶和華拯救了以色列。」 14撒母耳對民眾說:「來吧,我們到吉甲去,在那裡重新立國。」 15於是,他們來到吉甲,在耶和華面前立掃羅為王,又向耶和華獻上平安祭。掃羅和全體以色列人都非常歡喜。

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 11:1-15

Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi

111:1 a 1Sa 12:12 b Bal 21:8 c 1Bk 20:34; Ez 17:13Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni11:1 Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:38; Ma 2:19). Baali baagezaako dda okulumba Isirayiri ku mirembe gy’abalamuzi (Bal 3:13; 11:4-33) n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” 211:2 a Kbl 16:14 b 1Sa 17:26Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” 3Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.”

411:4 a 1Sa 10:5, 26; 15:34 b Bal 2:4; 1Sa 30:4Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. 5Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese.

611:6 Bal 3:10; 6:34; 13:25; 14:6; 1Sa 10:10; 16:13Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. 711:7 a Bal 19:29 b Bal 21:5N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. 811:8 a Bal 20:2 b Bal 1:4Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu.

9Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. 1011:10 nny 3Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” 1111:11 Bal 7:16Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne.

Sawulo Akakasibwa Okuba Kabaka

1211:12 1Sa 10:27; Luk 19:27Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”

1311:13 a 2Sa 19:22 b Kuv 14:13; 1Sa 19:5Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero Mukama alokodde Isirayiri.” 1411:14 a 1Sa 10:8 b 1Sa 10:25Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” 1511:15 1Sa 10:8, 17Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.