列王紀下 17 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀下 17:1-41

何細亞做以色列王

1猶大亞哈斯執政第十二年,以拉的兒子何細亞撒瑪利亞登基做以色列王,執政九年。 2他做耶和華視為惡的事,不過沒有他之前的以色列諸王那麼敗壞。 3亞述撒縵以色攻打以色列何細亞納貢稱臣。 4然而,何細亞差遣使者向埃及求援,不再像往年那樣向亞述王進貢。亞述王發現後,把他抓起來囚在獄中。 5亞述王攻打以色列全境,並圍困撒瑪利亞三年。 6何細亞執政第九年,撒瑪利亞淪陷。亞述王把以色列人擄到亞述,安置在哈臘歌散哈博河一帶以及瑪代人的各城。

以色列人的罪惡史

7以色列人之所以有如此下場,是因為他們的上帝耶和華領他們出埃及,從埃及王法老手中救出他們,他們卻犯罪得罪祂。他們祭拜別的神明, 8效法耶和華在他們面前趕走的外族人的風俗和以色列諸王奉行的習俗。 9以色列人暗中做不義之事,冒犯他們的上帝耶和華。從瞭望塔到堅城,他們在各地建邱壇, 10在各高崗上、綠樹下立神柱和亞舍拉神像, 11在各邱壇燒香,如同耶和華在他們面前趕走的外族人一樣。他們邪惡的行為激怒了耶和華。 12儘管耶和華警告他們不可祭拜偶像,他們仍然執迷不悟。

13耶和華藉著祂的眾先知和先見警告以色列人和猶大人說:「你們要離開惡道,遵守我的誡命和律例,即我吩咐你們祖先遵守並藉著我的僕人——眾先知傳給你們的律法。」 14但他們充耳不聞,像他們祖先一樣頑固不化,不信靠他們的上帝耶和華, 15拒絕遵守祂的律例和祂與他們祖先所立的約,無視祂的警告。他們隨從虛無的偶像,自己也變得虛無。他們違背耶和華的命令,去效法周圍的外族人。 16他們把他們的上帝耶和華的誡命拋諸腦後,鑄造了兩個金牛犢,還造了亞舍拉神像。他們祭拜巴力和天上的萬象, 17把自己的兒女燒死獻作祭物。他們占卜,行邪術,出賣自己去做耶和華視為惡的事,惹祂發怒。

18因此,耶和華非常憤怒,從祂面前趕走以色列人,只留下猶大一個支派。 19猶大人也不遵守他們的上帝耶和華的誡命,反而效法以色列人的惡行。 20於是,耶和華棄絕了以色列全族,使他們飽嚐痛苦,任人宰割,直至把他們從自己眼前趕走。 21祂使以色列大衛家分裂出來,以色列人便擁立尼八的兒子耶羅波安為王。耶羅波安誘使以色列人遠離耶和華,使他們犯了大罪。 22以色列人沉溺於耶羅波安所犯的一切罪中,始終不肯回頭, 23直到耶和華把他們從自己眼前趕走,正如祂藉自己的僕人——眾先知對他們的警告。這樣,以色列人被擄到亞述,至今仍住在那裡。

外族人移居撒瑪利亞

24亞述王把巴比倫古他亞瓦哈馬西法瓦音等地的一些居民遷移到撒瑪利亞各城,代替以色列人。 25剛遷居到那裡的時候,他們不敬拜耶和華,所以耶和華差遣獅子闖入他們當中,咬死了一些人。 26有人稟告亞述王說:「你遷移到撒瑪利亞各城的那些人不知道當地神明的規矩,所以神明就差遣獅子闖入他們當中,咬死了一些人。」 27亞述王便下令:「派一位被擄來的祭司回去,讓他住在那裡,把當地神明的規矩教導給他們。」 28於是,有一位從撒瑪利亞被擄走的祭司回去住在伯特利,教導他們怎樣敬拜耶和華。

29可是,這些從各地遷來的民族都在所住的各城為自己製造神像,供奉在撒瑪利亞人在高崗上建造的神廟中。 30巴比倫人造疏割·比訥神像,古他人造匿甲神像,哈馬人造亞示瑪神像, 31亞瓦人造匿哈他珥他神像,西法瓦音人焚燒兒女向他們的神明亞得米勒亞拿米勒獻祭。 32他們也敬拜耶和華,卻委任各種人做祭司,在高崗上的神廟為他們獻祭。 33他們就這樣既敬拜耶和華,又各按各的風俗供奉自己的神明。

34直到現在,他們仍然執迷不悟,不敬畏耶和華,也不遵行耶和華賜給雅各子孫的律例、典章、法度和誡命。耶和華曾給雅各取名叫以色列35與他的子孫立約,吩咐他們:「不可祭拜其他神明,不可跪拜和供奉他們,也不可向他們獻祭。 36耶和華伸出大能的臂膀把你們領出埃及,你們要敬拜祂,要向祂跪拜、獻祭。 37你們要永遠謹遵祂所定的律例、典章、法度和誡命,不可祭拜其他神明。 38不可忘記我與你們立的約,不可祭拜其他神明。 39我是你們的上帝耶和華,你們要敬拜我,我必從一切仇敵手中救你們。」 40但是他們沒有聽從,依然仿效先前的風俗。 41那些移民到撒瑪利亞各城的外族人既敬拜耶和華,又供奉自己的偶像。直到今日,他們的子孫仍是這樣。

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 17:1-41

Koseya, Kabaka eyasembayo owa Isirayiri

117:1 2Bk 15:30Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda. 2N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.

317:3 2Bk 18:9-12; Kos 10:14Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. 4Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. 517:5 Kos 13:16Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. 617:6 a Kos 13:16 b Ma 28:36, 64; 2Bk 18:10-11 c 1By 5:26Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29) e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.

Isirayiri Batwalibwa mu Buwaŋŋanguse olw’Ekibi

717:7 a Yos 23:16; Bal 6:10 b Kuv 14:15-31Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala, 817:8 Lv 18:3; Ma 18:9; 2Bk 16:3ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. 917:9 2Bk 18:8Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 1017:10 a Kuv 34:13; Mi 5:14 b 1Bk 14:23Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti. 11Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama. 1217:12 Kuv 20:4Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.” 1317:13 a 1Sa 9:9 b Yer 18:11; 25:5; 35:15Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”

1417:14 Kuv 32:9; Ma 31:27; Bik 7:51Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. 1517:15 a Ma 29:25 b Ma 32:21; Bar 1:21-23 c Ma 12:30-31Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.

1617:16 a 1Bk 12:28 b 1Bk 14:15, 23 c 2Bk 21:3 d 1Bk 16:31Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali. 1717:17 a Ma 18:10-12; 2Bk 16:3 b Lv 19:26 c 1Bk 21:20Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.

18Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.17:18 Obwakabaka obw’omu Bukiikaddyo baali bazzukulu ba Simyoni ne Benyamini, wabula Yuda ky’ekika kyokka ekyekuuma okutambuliranga mu mateeka ga Mukama (laba 1Bk 11:31-32). 1917:19 1Bk 14:22-23; 2Bk 16:3Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri. 2017:20 2Bk 15:29Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.

2117:21 a 1Bk 11:11 b 1Bk 12:20Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo. 22Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo, 23okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.

Abayisirayiri Babeera awamu n’Abasuuli

2417:24 a Ezr 4:2, 10 b 2Bk 18:34Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo. 2517:25 Lub 37:20Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma17:25 Mu biro ebyo empologoma zaali zeeyongedde obungi, olw’ekitundu ekyo okuggwaamu abantu (Lv 26:21-22) ne zitta abamu ku bo. 26Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo,17:26 Kabona oyo eyaliwo mu biseera ebyo, y’omu ku bakabona ab’ennyana eya zaabu Yerobowaamu gye yabumbisa (1Bk 12:31) kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”

27Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.” 28Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.

2917:29 a Yer 2:28 b 1Bk 12:31 c Mi 4:5Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 3117:31 a 2Bk 19:37 b nny 24Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 3217:32 1Bk 12:31Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.

3417:34 Lub 32:28; 35:10; 1Bk 18:31Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 3517:35 Kuv 20:5; Bal 6:10Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 3617:36 Kuv 3:20; 6:6; Zab 136:12Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 3717:37 Ma 5:32Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 3817:38 Ma 4:23; 6:12Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”

40Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 4117:41 nny 32-33; 1Bk 18:21; Mat 6:24Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.