列王紀下 16 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀下 16:1-20

亞哈斯做猶大王

1利瑪利的兒子比加執政第十七年,猶大約坦的兒子亞哈斯登基。 2他二十歲登基,在耶路撒冷統治十六年。他沒有效法他祖先大衛做耶和華視為正的事, 3反而步以色列諸王的後塵,效法耶和華在以色列人面前趕走的外族人的可憎行徑,把自己的兒子焚燒獻作祭物。 4他在邱壇、山岡和綠樹下獻祭燒香。

5亞蘭利汛利瑪利的兒子以色列比加前來攻打耶路撒冷,圍住亞哈斯,但屢攻不下。 6當時,亞蘭利汛收復以拉他,趕走城內的猶大人。亞蘭人至今居住在那裡。 7亞哈斯差遣使者去見亞述提革拉·毗列色,對他說:「我是你的僕人、你的兒子,現在亞蘭王和以色列王攻打我,求你從他們手中拯救我。」 8亞哈斯把耶和華殿裡和王宮庫房裡的金銀送給亞述王。 9亞述王答應了他,起兵攻陷大馬士革,殺了利汛,把城中的居民擄到吉珥

10亞哈斯王在大馬士革亞述提革拉·毗列色的時候,看到一座壇,便派人將壇的模型和詳細的製造方法送到烏利亞祭司那裡。 11烏利亞祭司按照送來的模型,在亞哈斯王返回之前建造了一座壇。 12王從大馬士革回來,看見那座壇,就到上面獻祭。 13他在上面獻上燔祭、素祭和奠祭,又將平安祭祭牲的血灑在壇上。 14他把獻給耶和華的銅壇從耶和華的殿前搬到新壇的北邊,銅壇原來放在殿和新壇之間。 15他吩咐烏利亞祭司:「要在這座大壇上獻早晨的燔祭、晚上的素祭,王的燔祭、素祭,國中民眾的燔祭、素祭和奠祭,燔祭牲和平安祭牲的血也要灑在上面,但銅壇要供我個人求問之用。」 16烏利亞祭司遵命而行。

17亞哈斯王拆掉盆座的鑲板,搬走盆,將銅海從銅牛背上搬下來,放在鋪石的地上。 18為了亞述王,他挪走耶和華殿裡為安息日而蓋的走廊,封閉了王從外面進耶和華殿的入口。

19亞哈斯其他的事都記在猶大的列王史上。 20亞哈斯與祖先同眠後,葬在大衛城他的祖墳裡。他兒子希西迦繼位。

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 16:1-20

Akazi Kabaka wa Yuda

116:1 Is 1:1; 14:28Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi16:1 Akazi yafugira wamu ne kitaawe Yosamu mu 735 bc. mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. 216:2 1Bk 14:8Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi. 316:3 a Lv 18:21; 2Bk 21:6 b Lv 18:3; Ma 9:4; 12:31N’atambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era n’okuwaayo n’awaayo mutabani we ng’ekiweebwayo, ng’agoberera eby’emizizo eby’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. 416:4 Ma 12:2; Ez 6:13N’awangayo ssaddaaka, era n’ayoterezanga n’obubaane ku bifo ebigulumivu, ku nsozi waggulu, ne wansi wa buli muti.

516:5 2Bk 15:37; Is 7:1, 4Lezini kabaka wa Busuuli ne Peka, mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulumba Yerusaalemi ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula. 616:6 a Is 9:12 b 2Bk 14:22; 2By 26:2Mu kiseera kye kimu, Lezini kabaka wa Busuuli n’agoba abasajja ba Yuda okuva mu Erasi n’akiddiza Abasuuli, era gye babeera ne leero.

716:7 a 2Bk 15:29 b Is 2:6; Yer 2:18; Ez 16:28; Kos 10:6Awo Akazi n’atuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; n’okuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye16:7 Ekikolwa ekyo ekya Akazi kyaleetera Yerusaalemi okuggyibwako obwetwaze bwakyo.” 816:8 2Bk 12:18Akazi n’aggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika ag’omu lubiri lwa kabaka, n’agiweereza ng’ekirabo eri kabaka w’e Bwasuli. 916:9 a 2Bk 15:29 b Is 22:6; Am 1:5; 9:7Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.

1016:10 Is 8:2Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, era eyo n’alabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona ekifaananyi ky’ekyoto ekyo, n’engeri gye kiteekwa okuzimbibwa. 11Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto, ng’ebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era n’agimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko. 1216:12 2By 26:16Kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, n’alaba ekyoto, n’akisemberera era ku kyo n’aweerako ssaddaaka. 1316:13 a Lv 6:8-13 b Lv 7:11-21N’aweerayo ssaddaaka ey’ekyokebwa ne ssaddaaka ey’obutta n’ayiwako ne ssaddaaka ey’ekyokunywa, era n’amansirako omusaayi ogw’ebiweebwayo olw’emirembe ku kyoto. 1416:14 2By 4:1N’aggyawo ekyoto eky’ekikomo ekyabeeranga mu maaso ga Mukama mu yeekaalu wakati w’ekyoto kye ne yeekaalu ya Mukama, n’akiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ekyoto kye.

1516:15 a Kuv 29:38-41 b 1Sa 9:9Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi, eky’okuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekyokuwaayo kye eky’obutta, n’ekyokuwaayo ekyokebwa eky’abantu ab’omu nsi, n’ekiweebwayo kyabwe eky’obutta, n’ekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa, n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto eky’ekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.” 16Uliya kabona n’akola byonna, nga kabaka Akazi bwe yamulagira.

1716:17 1Bk 7:27Kabaka Akazi n’atemako emigo gye biyimirirwako, ne bensani n’aziggya kwe zaabeeranga, ate n’aggya n’ennyanja okuva ku nte ennume ez’ekikomo, eza giwaniriranga, n’agiteeka ku mayinja amaliire. 1816:18 Ez 16:28N’aggyawo n’ekyabikkanga ku kkubo erya ssabbiiti eryali lizimbiddwa okumpi ne yeekaalu, ate era n’aggyawo n’ekkubo erya kabaka ery’ebweru wa yeekaalu ya Mukama, olwa kabaka w’e Bwasuli.

19Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu bufuzi Akazi, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20Awo Akazi n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Keezeekiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.