约书亚记 22 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 22:1-34

建祭坛之争

1约书亚召来了吕便迦得玛拿西半个支派的人来, 2对他们说:“你们都遵守了耶和华的仆人摩西的一切吩咐,也遵守了我的一切吩咐。 3这些日子以来,你们从没有离弃自己的弟兄,遵守了你们的上帝耶和华的吩咐。 4现在你们的上帝耶和华已经照祂的应许使你们的弟兄安居,你们可以回到约旦河东,到摩西赐给你们作产业的地方。 5不过,你们要谨遵耶和华的仆人摩西吩咐你们的诫命和律法,要爱你们的上帝耶和华,遵行祂的旨意,听从祂的命令,忠于祂,全心全意地事奉祂。”

6于是,约书亚为他们祝福,送他们回去,他们就各自返回家园去了。

7摩西已经在巴珊把土地分给了玛拿西半个支派,约书亚约旦河西的土地分给了玛拿西另外的半个支派及其他支派。约书亚派他们回家的时候,为他们祝福, 8说:“现在你们带着大量的财物、牲畜、金银、铜、铁和衣物返回家园,要把从敌人那里得来的财物分给你们的弟兄。” 9于是,吕便迦得玛拿西半个支派的人便离开在迦南示罗以色列人,返回耶和华借摩西分配给他们的基列

10他们来到约旦河附近的迦南境内,就在约旦河边筑了一座高大的祭坛。 11以色列人听见吕便迦得玛拿西半个支派的人在约旦河西的迦南境内筑起了一座祭坛, 12便全部聚集在示罗,要讨伐他们。

13以色列人派祭司以利亚撒的儿子非尼哈基列见他们, 14又从每支派差遣一位族长,共十位随行。 15他们来到基列吕便迦得玛拿西半个支派的人那里,对他们说: 16“耶和华的全体会众问你们,你们怎能这样背叛以色列的上帝,离弃耶和华,为自己另建祭坛呢? 17从前拜毗珥的罪恶不够大吗?那一次,瘟疫降到耶和华的会众身上,直到今日我们还没有洗净这罪。 18你们今日要离弃耶和华吗?今日你们背叛耶和华,明日祂必向以色列全体会众发怒。 19如果你们认为自己的土地不洁净,可以搬到耶和华的土地跟我们一起居住,这里有耶和华的圣幕。只是不可在耶和华的祭坛以外,自己另筑祭坛,以致背叛耶和华,连累我们。 20从前谢拉的曾孙亚干私自留下那些耶和华吩咐要毁灭的东西,以致耶和华的烈怒临到以色列全体会众,因他的罪而死的不只他一个人!”

21吕便迦得玛拿西半个支派的人便回答这些以色列的族长说: 22“大能的上帝耶和华,大能的上帝耶和华,祂知道一切!以色列人也当知道!如果我们做了违背或干犯耶和华的事,愿祂今天就不放过我们! 23如果我们离弃耶和华,为自己造祭坛,或是在坛上献燔祭、素祭和平安祭,愿耶和华亲自惩罚我们。 24我们这样做是怕以后你们的子孙可能会对我们的子孙说,‘你们和以色列的上帝耶和华有什么关系? 25耶和华把约旦河定为我们跟你们吕便迦得人的边界,你们与耶和华一点关系也没有。’这样,恐怕你们的子孙会使我们的子孙不再敬畏耶和华。 26因此,我们便商议在这里筑一座祭坛,这坛不是用来献燔祭或别的祭, 27只是在你们和我们之间,也在彼此的后人之间立个证据,证明我们也献燔祭、平安祭及其他祭事奉耶和华,免得日后你们的子孙对我们的子孙说,‘你们与耶和华一点关系也没有。’ 28万一你们对我们或我们的子孙这样说,我们可以回答说,‘你们看我们祖先筑的这座祭坛跟耶和华的祭坛一模一样,只是这座坛不是用来献燔祭或别的祭,而是作为你们和我们之间的证据!’ 29我们根本无意背叛、离弃我们的上帝耶和华,在祂圣幕前的祭坛以外另筑祭坛来献燔祭、素祭和别的祭。”

30祭司非尼哈以色列会众的族长听了他们的解释,都很满意。 31以利亚撒的儿子祭司非尼哈对他们说:“今日我们知道耶和华在我们当中,因为你们没有对耶和华不忠,现在你们使以色列人免遭耶和华的惩罚了。”

32以利亚撒的儿子非尼哈祭司和众族长便离开吕便人和迦得人,从基列回到迦南以色列人报告这事。 33大家听后,都很满意,便颂赞耶和华,打消了出兵讨伐吕便人和迦得人、毁灭他们家园的念头。

34吕便迦得人给那座祭坛取名叫“证坛”,意思是这坛在我们中间证明耶和华是上帝。

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 22:1-34

1Awo Yoswa n’ayita Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, 222:2 Kbl 32:25n’abagamba nti, “Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira. 3Ebbanga lyonna n’okutuusa leero temulekeredde baganda bammwe, mubadde beegendereza okukuuma ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. 422:4 a Kbl 32:22; Ma 3:20 b Kbl 32:18; Yos 1:13-15Era kaakano Mukama Katonda wammwe awadde baganda bammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo muddeeyo mu maka gammwe mu nsi Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa ku luuyi luli olulala olwa Yoludaani. 522:5 a Is 43:22 b Ma 5:29 c Ma 6:6, 17Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.” 622:6 Kuv 39:43Yoswa n’alyoka abasabira omukisa n’abasiibula ne baddayo mu maka gaabwe.

Ekyoto ku Yoludaani

722:7 a Kbl 32:33; Yos 12:5 b Yos 17:2, 5Ekitundu ekimu eky’ekika kya Manase, Musa yali akigabidde ettaka mu Basani, n’ekitundu ekirala eky’ekika kya Manase ne baganda baabwe, Yoswa n’akiwa ettaka ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa Yoludaani. Yoswa n’abawa omukisa n’abasiibula baddeyo ewaabwe. 822:8 a Ma 20:14 b Kbl 31:27 c Lub 49:27; 1Sa 30:16; Is 9:3N’abagamba nti, “Ente nnyingi, ne ffeeza, ne zaabu, n’ekikomo, n’ekyuma, era n’engoye nnyingi bye munyaze ku balabe bammwe; mubigabaane ne baganda bammwe.”

922:9 Kbl 32:26, 29Awo Abalewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nga bava mu baana ba Isirayiri mu Siiro ekiri mu nsi ya Kanani ne baddayo mu nsi yaabwe, mu Gireyaadi, gye baali bagabanye bo bennyini ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali okuyita mu Musa. 10Era bwe baatuuka mu kitundu ekiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, ne bazimba awo ekyoto, ekinene ddala. 11Wabula abantu ba Isirayiri bwe baawulira nti bazimbye ekyoto ku Yoludaani ku luuyi lwa Isirayiri, 1222:12 Yos 18:1ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bakuŋŋaana e Siiro beetegekere olutalo babalumbe.

1322:13 a Kbl 25:7 b Kbl 3:32; Yos 24:33Awo abaana ba Isirayiri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu nsi ya Gireyaadi. 1422:14 Kbl 1:4Ne batumirako abakungu kkumi, omu omu omukulu w’ennyumba mu buli kika kya Isirayiri.

15Bwe bajja eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekibiina kyonna ekya Manase mu nsi ya Gireyaadi ne babagamba nti, 1622:16 a Ma 13:14 b Ma 12:13-14“Ekibiina kyonna ekya Mukama bwe kiti bwe kigamba, ‘Muyinza mutya okukyama bwe muti okuva ku Mukama Katonda wa Isirayiri? Muyinza mutya okuva ku Mukama ne mwezimbira ekyoto ne mumujeemera awo? 1722:17 Kbl 25:1-9Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga n’okwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda, 1822:18 Lv 10:6; Kbl 16:22ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda? Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri. 19Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gy’eri, tugabane eno gye tuli; kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe. 2022:20 a Yos 7:1 b Zab 7:11 c Yos 7:5Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olw’ekibi kye.’ ”

21Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne balyoka baddamu abakulu b’ebika bya Isirayiri nti, 2222:22 a Ma 10:17 b Zab 50:1 c 1Bk 8:39; Yob 10:7; Zab 44:21; Yer 17:10Mukama Katonda ow’Amaanyi, Mukama ow’Amaanyi! Ye amanyi, era Isirayiri akimanye! Bwe kiba nga kyabadde mu kwediima oba kujeemera Mukama, temutusonyiwa leero. 2322:23 a Yer 41:5 b Ma 12:11; 18:19; 1Sa 20:16Bwe tuba nga ekyatuzimbya ekyoto kwe kuva ku Mukama, tukiweereko ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo ekyobutta oba ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, Mukama Katonda yennyini atuvunaane. 24Nedda, twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki? 25Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, n’Abagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.

26“Kyetwava tugamba nti, ‘Leka tuzimbe kaakano ekyoto ekitali kya kukozesa ku biweebwayo ebyokebwa, wadde ssaddaaka,’ 2722:27 a Lub 21:30; Yos 24:27 b Ma 12:6naye kibeere akabonero ak’obujulizi wakati waffe nammwe, era ne wakati we mirembe egirituddirira nti tugenda mu maaso ga Mukama Katonda ne tumusinza n’ebiweebwayo byaffe ebyokebwa ne ssaddaaka era n’ebiweebwayo olw’emirembe si kulwa nga abaana bammwe bagamba abaana baffe mu biseera ebijja nti, ‘Temulina mugabo gwonna eri Mukama Katonda.’ 28Kyetwava tugamba nti, ‘Bwe balitugamba batyo oba okugamba abaana baffe abaliddawo, tulibaddamu nti, “Mulabe ekifaananyi kye kyoto kya Mukama Katonda, bakitaffe kye baakola, si lwa biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka, naye okubeera omujulirwa wakati waffe nammwe.” ’ 2922:29 a Yos 24:16 b Ma 12:13-14Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era n’okumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby’empeke, oba ssaddaaka, ekitali kyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso ga Ssanduuko y’Endagaano ye!”

Ekyoto Kikkirizibwa

30Finekaasi kabona, n’abakulu b’ebibiina by’ebika bya Isirayiri abaali naye bwe baawulira ebigambo Abalewubeeni, n’Abagaadi n’aba Manase bye bayogera, ne bibasanyusa nnyo. 3122:31 Lv 26:11-12; 2By 15:2Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n’agamba Abalewubeeni n’Abagaadi n’abaana ba Manase nti, “Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda.” 32Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’abakulu b’ebika ne bava eri Abalewubeeni, n’Abagaadi mu nsi ye Kanani, ne baddayo eri abantu ba Isirayiri ne bababuulira ebibaddeyo. 3322:33 1By 29:20; Dan 2:19; Luk 2:28Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza Katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi Abalewubeeni, n’Abagaadi gye baali basenze.

3422:34 Lub 21:30Abalewubeeni n’Abagaadi ne batuuma ekyoto erinnya Mujulizi, ne bagamba nti, “Kubanga mujulizi eri ffe nti Mukama ye Katonda.”