约书亚记 21 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 21:1-45

分给利未人的城邑

1-2利未人的众族长到迦南示罗见祭司以利亚撒的儿子约书亚以色列各支派的首领,说:“耶和华借着摩西曾吩咐你们把一些城邑分给我们住,让我们可以在城郊牧养牲畜。” 3以色列人便按照耶和华的吩咐,从他们的产业中把以下的城邑及城郊分给了利未人。

4利未哥辖宗族中大祭司亚伦的子孙从犹大西缅便雅悯支派的产业中抽签得了十三座城。 5哥辖宗族中其他的人也从以法莲玛拿西半个支派的产业中抽签得了十座城。 6革顺的子孙从以萨迦亚设拿弗他利和在巴珊玛拿西半个支派的产业中抽签得了十三座城。 7米拉利的子孙按宗族从吕便迦得西布伦支派的产业中抽签得了十二座城。

8以色列人照耶和华对摩西的吩咐,把这些城邑及其草场用抽签的方式分给利未人。

9-10利未支派哥辖宗族中亚伦的子孙得到第一签,以下是从犹大西缅两支派的产业中抽出来分给他们的土地: 11犹大山区的基列·亚巴及其草场,亚巴原是亚衲人的祖先,基列·亚巴就是希伯仑12而城周围的田地和乡村已经分给耶孚尼的儿子迦勒作产业。

13以色列人把避难城希伯仑分给祭司亚伦的子孙,并把立拿14雅提珥以实提莫15何仑底璧16亚因淤他伯·示麦共九座城及其草场分给了他们。这都是从犹大西缅两支派分出来的。 17便雅悯支派的产业中分给他们的城有:基遍迦巴18亚拿突亚勒们四座城及其草场。 19亚伦的子孙中做祭司的共分到十三座城邑及其草场。

20利未哥辖宗族其他的子孙从以法莲支派的产业中分到的城邑有: 21以法莲山区的避难城示剑基色22基伯先伯·和仑共四座城及其草场。 23支派的产业中分给他们的城邑有:伊利提基基比顿24亚雅仑迦特·临门四座城及其草场。 25他们从玛拿西半个支派的产业中分到他纳迦特·临门两座城及其草场。 26以上是哥辖其他的子孙所分到的十座城及其草场。

27以色列人分给利未支派中革顺子孙的城邑有:玛拿西半个支派中巴珊哥兰避难城和比·施提拉及其草场,共两座城; 28以萨迦支派的基善大比拉29耶末隐·干宁四座城及其草场; 30亚设支派的米沙勒押顿31黑甲利合四座城及其草场; 32拿弗他利支派的哈末·多珥加珥坦加利利的避难城基低斯三座城及其草场。 33革顺人按宗族共分到十三座城邑及其草场。 34其余的利未人,就是米拉利的子孙所分到的城邑有:西布伦支派的约念加珥他35丁拿拿哈拉四座城及其草场; 36吕便支派的比悉雅杂37基底莫米法押四座城及其草场; 38迦得支派的玛哈念基列的避难城拉末39希实本雅谢四座城及其草场。 40利未人中米拉利的子孙按宗族所分到的城邑共有十二座。

41利未人从以色列各支派共分到四十八座城及其草场, 42这些城周围都有草场,城城如此。

43这样,耶和华把从前起誓赐给以色列人祖先的整个地区都赐给了以色列人,以色列人都分到土地,住了下来。 44耶和华照着给他们祖先的应许,使他们四境安宁,没有仇敌能抵挡他们。耶和华将所有仇敌都交在了他们手中。 45耶和华给以色列人的美好应许没有一句落空,全部实现了。

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 21:1-45

Ebibuga by’Abaleevi

121:1 Yos 14:1Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri 221:2 a Yos 18:1 b Kbl 35:2-3e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”

3Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.

421:4 nny 19Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.

521:5 nny 26Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

621:6 Lub 30:18N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.

721:7 a Kuv 6:16 b Yos 19:10Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.

8Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.

9Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: 10bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.

1121:11 Yos 15:13; 1By 6:55Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. 12Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. 1321:13 Yos 15:42; 1By 6:57Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, 1421:14 a Yos 15:48 b Yos 15:50ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, 1521:15 Yos 15:51ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, 1621:16 a Yos 15:55 b Yos 15:10ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.

1721:17 Yos 18:24Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba 18ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.

19Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

20Eri Abakokasi21:20 Abakokasi Tebaali bakabona kubanga tebaali bazzukulu ba Alooni. abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.

2121:21 Yos 17:7; 20:7N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo, 2221:22 a Yos 10:10 b 1Sa 1:1ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,

23ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, 2421:24 Yos 19:45Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.

25Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.

26Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.

2721:27 a Yos 12:5 b Kbl 35:6N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi,

ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.

2821:28 Lub 30:18Ne mu kika kya Isakaali,

Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo, 29Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,

3021:30 Yos 17:7ne mu kika kya Aseri,

Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo, 31Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.

3221:32 a Yos 12:22 b Kbl 35:6; Yos 20:7Ne mu kika kya Nafutaali,

Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.

3321:33 nny 6Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

3421:34 Yos 19:10; 1By 6:77Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa

okuva mu kika kya Zebbulooni,

Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo, 35Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.

3621:36 Yos 20:8Ne mu kika kya Lewubeeni,

Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo, 37Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.

3821:38 a Ma 4:43 b Lub 32:2Ne mu kika kya Gaadi,

Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo. 39Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.

40Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.

4121:41 Kbl 35:7Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye. 42Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.

4321:43 a Ma 34:4 b Ma 11:31 c Ma 17:14Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. 4421:44 a Kuv 33:14; Yos 1:13 b Ma 6:19 c Kuv 23:31 d Ma 7:24; 21:10Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe. 4521:45 Yos 23:14; Nek 9:8Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.