箴言 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

箴言 6:1-35

日常警言

1孩子啊,你若为邻人作保,

为外人击掌立约;

2你若被自己口中的话套住,

被自己的诺言缠住,

3孩子啊,你已落入邻人的手中,

你当如此自救:

要谦卑地向他求情。

4勿让你的眼睛睡觉,

莫叫你的眼皮打盹。

5要救自己脱离困境,

像羚羊挣脱猎人的手,

飞鸟逃脱捕鸟人的手。

6懒惰的人啊,去看看蚂蚁,

观察它的生活,就会有智慧。

7蚂蚁没有元帅,

没有官长,

也没有君王,

8却在夏季储备粮食,

在收割时积聚食物。

9懒惰的人啊,你要躺到何时?

要睡到何时才起床?

10再睡一会儿,再打个盹儿,

抱着手躺一会儿,

11贫穷要像盗贼一样攻击你,

缺乏要像武士一样扑向你。

12无赖与恶人满口诡诈,

13挤眉弄眼,手脚示意,

14心术不正,设下诡计,惹事生非。

15因此,灾难必突然临到,

他们顷刻之间遭到毁灭,

无可挽救。

16耶和华所憎恶的事有六样,

连祂厌恶的事共有七样:

17高傲的眼睛,

撒谎的舌头,

杀害无辜的手,

18图谋诡计的心,

奔跑作恶的脚,

19撒谎的假证人和在弟兄中挑起争端的人。

20孩子啊,要遵守你父亲的诫命,

不可背弃你母亲的训言。

21你要常常将这些刻在心坎上,

系在颈项上。

22你行走,它们必引领你;

你躺卧,它们必护卫你;

你醒来,它们必与你交谈。

23因为诫命是灯,训言是光,

管教责备是生命之道,

24能使你远离邪恶的女人,

避开油嘴滑舌的妓女。

25你的心不要贪恋她的美色,

也不要被她的媚眼所迷惑,

26因为娼妓会使人倾家荡产6:26 娼妓会使人倾家荡产”或译“娼妓的淫资不过是一个饼”。

淫妇会猎杀人宝贵的生命。

27人若将火藏在怀中,

哪能不烧着衣服呢?

28人若行走在火炭上,

哪能不烫伤双脚呢?

29与别人妻子通奸也是这样,

凡靠近她的必难逃罪责。

30贼因充饥而偷,

没有人藐视他;

31但若被抓到,他要偿还七倍,

就是倾家荡产也要偿还。

32和有夫之妇通奸的,

实在愚不可及,

他是自寻死路。

33他必挨打,受辱,

他的耻辱永难抹去。

34那丈夫妒火燃烧,

报仇时绝不留情。

35赔他再多财物,他也不会接受;

送他再多礼物,他都不肯罢休。

Luganda Contemporary Bible

Engero 6:1-35

Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru

16:1 a Nge 17:18 b Nge 11:15; 22:26-27Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,

ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.

2Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,

ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,

3kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,

kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:

Yanguwa, ogende weetoowaze,

weegayirire muliraanwa wo.

46:4 Zab 132:4Amaaso go togaganya kwebaka,

wadde ebikowe byo okubongoota.

56:5 Zab 91:3Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,

era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.

66:6 Nge 20:4Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;

fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.

7Tebirina mukulembeze,

mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,

86:8 Nge 10:4kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,

ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

96:9 Nge 24:30-34Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?

Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?

106:10 Nge 24:33Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,

n’okufunya emikono okuwummulako,

116:11 Nge 24:30-34obwavu bulikutuukako ng’omutemu,

era n’obwetaavu ng’omutemu.

Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi

12Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi

agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,

136:13 Zab 35:19agenda atemyatemya ku liiso,

nga bw’akuba ebigere

ate nga bw’asongasonga olunwe,

146:14 a Mi 2:1 b nny 16-19olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,

bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!

156:15 2By 36:16Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,

mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.

Okulabula ku Bibi Omusanvu

16Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,

weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.

176:17 a Zab 120:2; Nge 12:22 b Ma 19:10; Is 1:15; 59:7Amaaso ag’amalala,

emimwa egirimba,

okuttira abantu obwereere;

186:18 Lub 6:5omutima ogutegeka okukola ebibi,

ebigere ebyanguwa okukola ebibi,

196:19 a Zab 27:12 b nny 12-15obujulizi obw’obulimba,

n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Okulabula Ku Bwenzi

206:20 Nge 1:8Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,

era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.

216:21 Nge 3:3; 7:1-3Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna

era obisibe binywerere mu bulago bwo.

22Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,

ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,

ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.

236:23 Zab 19:8; 119:105Kubanga amateeka ttabaaza,

era n’okuyigiriza kitangaala,

okukulabula olw’okukuluŋŋamya,

ly’ekkubo ery’obulamu,

246:24 Nge 2:16; 7:5okukuwonya omukazi ow’ebibi,

okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.

25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,

wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,

266:26 Nge 7:22-23; 29:3kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,

era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.

27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,

ebyambalo bye ne bitaggya?

28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,

ebigere bye ne bitasiriira?

296:29 a Kuv 20:14 b Nge 2:16-19; 5:8Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,

buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

30Abantu tebasekerera muntu bw’abba,

olw’okwewonya enjala.

316:31 Kuv 22:1-14Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;

ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.

326:32 a Kuv 20:14 b Nge 7:7; 9:4, 16Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;

kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.

336:33 Nge 5:9-14Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;

n’obuswavu tebulimusangulibwako.

346:34 a Kbl 5:14 b Lub 34:7Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,

era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.

356:35 Yob 31:9-11; Lu 8:7Talikkiriza mutango gwonna,

wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.