利未记 16 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 16:1-34

赎罪日的条例

1亚伦的两个儿子死在耶和华面前以后, 2耶和华对摩西说:“告诉你哥哥亚伦,他不可随意进入幔子里面的至圣所,走到约柜上的施恩座前,免得死亡,因为我要在施恩座之上的云彩中显现。 3亚伦进入圣所时,要带一只作赎罪祭的公牛犊和一只作燔祭的公绵羊。 4他要穿上圣洁的细麻内袍、细麻裤子,束上细麻腰带,戴上细麻礼冠。这些是圣洁的衣物,他必须沐浴后才可穿戴。 5他要从以色列会众那里取两只公山羊作赎罪祭、一只公绵羊作燔祭。 6亚伦要先献上那头公牛犊作赎罪祭,为自己和全家赎罪。 7然后,他要把两只公山羊带到会幕门口,放在耶和华面前, 8抽签决定哪只归耶和华、哪只归阿撒泻勒16:8 阿撒泻勒”是希伯来文的音译,意义不确定。9亚伦要献上那只归耶和华的公山羊作赎罪祭, 10要将那只归阿撒泻勒的公山羊活着献给耶和华,然后把它放到旷野归阿撒泻勒,用来赎罪。

11亚伦要把那只为他作赎罪祭的公牛犊牵来宰杀,为自己和全家赎罪, 12然后拿一个香炉,盛满从耶和华面前的祭坛上取的火炭,再拿两把磨细的香带进幔子里。 13他要在耶和华面前烧香,使香的烟笼罩约柜上的施恩座,免得他死亡。 14他要取一些牛血,用手指弹洒在施恩座的东面,也要在施恩座前用手指弹洒七次。 15然后,亚伦要出去宰杀那只为民众作赎罪祭的公山羊,把羊血带进幔子里,像洒牛血一样洒在施恩座的上面和前面。 16以色列人的污秽、叛逆和罪恶,他要这样为至圣所赎罪。他也要同样为会幕赎罪,因为会幕座落在以色列人中间,处在他们的污秽中。 17从他进入圣所为自己全家和以色列全体会众赎罪开始,直到他赎完罪出来为止,任何人都不可待在会幕里。 18之后,他要来到耶和华面前的祭坛那里,为祭坛赎罪。他要取一些牛血和羊血,抹在祭坛的四角上, 19用手指向祭坛洒血七次,除掉以色列人的污秽,使祭坛圣洁。

20“他为至圣所、会幕和祭坛赎罪后,要牵来那只活山羊, 21把双手放在羊头上,承认以色列人的过犯、叛逆和罪恶,将这一切罪归到公山羊的头上,然后派人把它送到旷野。 22这只公山羊担当他们的一切罪,将这一切罪带到荒无人烟的地方。

23亚伦要走进会幕,脱下他进至圣所时穿的细麻衣服,放在会幕里。 24他要在圣洁之处沐浴,穿上平时的衣服出去为自己和民众献燔祭,为自己和民众赎罪。 25他要将赎罪祭牲的脂肪焚烧在坛上。 26把羊送交阿撒泻勒的人要洗衣、沐浴,然后才可回到营里。 27作赎罪祭的公牛和公山羊的血被带进圣所用来赎罪,要把公牛和公山羊带到营外,用火焚烧它们的皮、肉和粪。 28负责焚烧的人要洗衣、沐浴,然后才可回到营里。

29“每年七月十日,不论是你们,还是寄居在你们中间的外族人,都要禁食,停止所有工作。这是你们要永远遵守的律例。 30因为在这一天要为你们赎罪,使你们在耶和华面前洁净。 31这天是你们的安息日,你们要禁食。这是一条永远不变的律例。 32那受膏、承受圣职、替代父亲做大祭司的要献祭赎罪。他要穿上圣洁的细麻衣, 33为至圣所、会幕和祭坛赎罪,也要为祭司和全体会众赎罪。 34这是你们要永远遵守的律例——每年一次为以色列人赎罪。”

于是,摩西遵行了耶和华的吩咐。

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 16:1-34

Omukolo ogw’Okutangiririra

116:1 Lv 10:1Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama. 216:2 a Kuv 30:10; Beb 9:7 b Beb 9:25; 10:19 c Kuv 25:22 d Kuv 40:34Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira. 316:3 Beb 9:24, 25Naye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa. 416:4 a Kuv 28:39 b Kuv 28:42 c nny 24; Beb 10:22Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala. 516:5 a Lv 4:13-21 b 2By 29:23Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.

616:6 Lv 9:7; Beb 5:3; 7:27; 9:7, 12“Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge. 7Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 8Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango. 9Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona. 1016:10 Is 53:4-10; Bar 3:25; 1Yk 2:2Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.

Ekiweebwayo olw’Ekibi ekya Kabona n’Abantu

1116:11 Beb 7:27; 9:7“Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi. 1216:12 a Lv 10:1 b Kuv 30:34-38Anaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi. 1316:13 Kuv 28:43; Lv 22:9Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa. 1416:14 a Lv 4:5; Beb 9:7, 13, 25 b Lv 4:6Anaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira.

1516:15 a Beb 9:7, 12 b Beb 9:3“Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo. 1616:16 Kuv 29:36Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. 17Mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri. 1816:18 a Lv 4:7 b Lv 4:25Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto. 1916:19 Ez 43:20Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.

Embuzi Esibibwako Omusango

20“Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu. 2116:21 Lv 5:5Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo. 2216:22 Is 53:12Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu.

2316:23 Ez 42:14; 44:19“Alooni anaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo. 2416:24 nny 3-5Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre. 25Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.

2616:26 Lv 11:25“Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira. 2716:27 Lv 4:12, 21; Beb 13:11Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga. 28Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.

Olunaku olw’Okutangiririra

2916:29 Lv 23:27, 32; Kbl 29:7; Is 58:3“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe, 3016:30 Yer 33:8; Bef 5:26kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda. 3116:31 Is 58:3, 5Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna. 3216:32 nny 4; Kbl 20:26, 28Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu, 3316:33 nny 11, 16-18n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.

3416:34 Beb 9:7, 25“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.”

Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.