列王纪下 22 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪下 22:1-20

约西亚做犹大王

1约西亚八岁登基,在耶路撒冷执政三十一年。他母亲叫耶底大,是波斯加亚大雅的女儿。 2约西亚做耶和华视为正的事,事事效法他祖先大卫,不偏不离。

发现律法书

3约西亚执政第十八年,他派米书兰的孙子、亚萨利的儿子沙番书记去耶和华的殿,并吩咐他说: 4“你去见大祭司希勒迦,让他清点奉献到耶和华殿中的银子,那些银子是殿门守卫从民众收集来的。 5-6然后把银子交给负责修理耶和华殿的督工,他们就可以购买木料和凿好的石头,雇用木匠、建筑工人和石匠来修理耶和华的殿。 7你不用查核他们的账目,因为他们都是忠诚可靠的人。”

8大祭司希勒迦告诉书记沙番说:“我在耶和华的殿里找到了律法书。”希勒迦把书交给沙番看。 9沙番禀告王说:“你的臣仆已经把殿里的银子清点完毕,交给了殿里的督工和工人。” 10他又告诉王:“希勒迦祭司给了我一卷书。”沙番就在王面前诵读这书。 11王听了律法书上的话,就撕裂衣服, 12吩咐希勒迦祭司、沙番的儿子亚希甘米该亚的儿子亚革波、书记沙番和王的臣仆亚撒雅13“你们为我、为民众和整个犹大去求问耶和华有关这书卷上的话。耶和华的烈怒已经临到我们身上,因为我们的祖先没有遵守这书卷上的话,没有遵行这书卷上的吩咐。”

户勒妲的预言

14于是,希勒迦祭司、亚希甘亚革波沙番亚撒雅去求问女先知户勒妲。她是负责管理礼服的沙龙的妻子,沙龙哈珥哈斯的孙子、特瓦的儿子。户勒妲住在耶路撒冷第二区。他们向她说明来意。 15她对他们说:“以色列的上帝耶和华要你们回去告诉差你们来见我的人, 16耶和华说,‘我要照犹大王所读的那书上的一切话,降灾难给这地方及这里的居民。 17因为他们背弃我,给别的神明烧香,制造偶像惹我发怒,我的怒火要在这地方燃烧,绝不止息。 18你们告诉差你们来求问耶和华的犹大王,至于你所听见的那些话,以色列的上帝耶和华说, 19因为你听到我对这地方及其居民的警告,知道这地方要受咒诅、沦为荒场,便悔改,在我面前谦卑,撕裂衣服,向我哭泣。因此,我垂听了你的祷告。这是我耶和华说的。 20我会让你平安入土到你祖先那里。你不会看到我要降给这地方的一切灾难。’”他们便回去禀告王。

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 22:1-20

Ekitabo ky’Amateeka Kizuulibwa

122:1 Yos 15:39Yosiya n’atandika okufuga nga wa myaka munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ng’erinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi. 222:2 a Ma 17:19 b Ma 5:32N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.

322:3 2By 34:20; Yer 39:14Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n’atuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya Mukama. N’amugamba nti, 422:4 2Bk 12:4-5“Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gw’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama abaggazi ze basoloozezza ku bantu. 522:5 2Bk 12:5, 11-14Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya Mukama, 622:6 2Bk 12:11-12ababazzi, n’abazimbi, n’abaasa b’amayinja. Ate era baguleko n’embaawo n’amayinja amateme nga byonna bya kuddaabiriza yeekaalu. 722:7 2Bk 12:15Naye tebabuuzibwa engeri gye bakozesezaamu ensimbi ezo, kubanga basajja abakola n’obwesigwa.”

822:8 Ma 31:24Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’ategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo eky’Amateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu22:8 Okuzuula okwo kwe kulaga obujeemu bwa Isirayiri obungi ennyo eri Katonda mu biro bya Manase. Ekitabo eky’Amateeka ekyazuulibwa kye kitabo Eky’amateeka Olwokubiri..” N’akiwa Safani n’akisoma. 9Safani omuwandiisi n’addayo eri kabaka n’amugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi n’abalabirizi ab’omulimu okuzikozesa n’okulabirira enkozesa yaazo.” 1022:10 Yer 36:21Ate era Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.

11Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo eky’Amateeka n’ayuza ebyambalo bye. 1222:12 2Bk 25:22; Yer 26:24N’alagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti, 1322:13 Ma 29:24-28; 31:17“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”

14Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi. 15N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, 1622:16 a Ma 31:29; Yos 23:15 b Ma 29:27; Dan 9:11‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye. 1722:17 Ma 29:25-27Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’ 1822:18 2By 34:26; Yer 21:2Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde: 1922:19 a Kuv 10:3; 1Bk 21:29; Zab 51:17; Is 57:15; Mi 6:8 b Yer 26:6 c Lv 26:31kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera Mukama. 2022:20 Is 57:1Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ”

Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.