使徒行传 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 6:1-15

选立执事

1那时,门徒的人数与日俱增。当中有些讲希腊话的犹太人埋怨讲希伯来话的犹太人,说对方在日常分配食物的事上怠慢了他们的寡妇。 2于是,十二使徒召集所有的门徒,对他们说:“我们不应该忽略传上帝的道,去管理膳食。 3弟兄姊妹,请从你们中间选出七位声誉良好、被圣灵充满、有智慧的人来负责膳食, 4而我们要专心祈祷和传道。”

5大家一致同意,便选出充满信心、被圣灵充满的司提凡,此外还有腓利伯罗哥罗尼迦挪提门巴米拿,以及曾信过犹太教、来自安提阿的外族人尼哥拉6大家将这七个人带到使徒面前。使徒把手按在他们身上,为他们祷告。

7上帝的道兴旺起来,耶路撒冷的门徒大大增多,连许多祭司也皈信了。

司提凡被捕

8司提凡得到极大的恩典和能力,在百姓中间行了惊人的神迹奇事。 9但有些来自古利奈亚历山大基利迦亚细亚、属于“自由人6:9 自由人”指的是原为奴隶,后来获得自由的人。会堂”的犹太人联合起来与司提凡辩论。 10他们无法驳倒司提凡,因为他靠着智慧和圣灵说话。

11于是,他们暗中唆使一些人诬告司提凡说:“我们听见他说亵渎摩西和上帝的话!” 12又煽动百姓、长老和律法教师抓住司提凡,把他押到公会。 13他们还派人作伪证说:“司提凡常常讲侮辱圣地6:13 圣地”指“圣殿”。和律法的话。 14我们听见他说那个拿撒勒人耶稣要毁坏圣殿,还要摒弃摩西传给我们的规矩。” 15在场的人都盯着司提凡,只见他的容貌好像天使一样。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 6:1-15

16:1 a Bik 2:41 b Bik 9:29 c Bik 9:39, 41 d Bik 4:35Awo mu biseera ebyo abakkiriza bwe baagenda beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya nti bannamwandu baabwe basosolwa, ne bataweebwa kyenkanyi. 2Awo ekkumi n’ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abayigirizwa, ne babagamba nti, “Kirungi ebiseera byaffe tubimalire ku kubuulira Njiri, so si mu kugabanya mmere. 36:3 Bik 1:16Noolwekyo, abooluganda, mwerondemu abasajja musanvu, abasiimibwa abantu, ng’abantu b’amagezi, era abajjudde Mwoyo Mutukuvu, tubakwase omulimu ogwo. 46:4 Bik 1:14Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, n’okubuulira n’okuyigiriza.”

56:5 a nny 8; Bik 11:19 b Bik 11:24 c Bik 8:5-40; 21:8Ebigambo ebyo byonna abaakuŋŋaana ne babisiima. Ne balonda Suteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo eyava mu Antiyokiya, 66:6 a Bik 1:24; 8:17; 13:3; 2Ti 1:6 b Kbl 8:10; Bik 9:17; 1Ti 4:14ne babanjula eri abatume. Abatume ne babasabira, ne babasaako emikono.

76:7 Bik 12:24; 19:20Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna n’omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera obunene mu Yerusaalemi; era ne bakabona, ekibiina kinene, ne beewaayo okukkiriza.

Okukwatibwa kwa Suteefano

86:8 Yk 4:48Suteefano, ng’ajjudde ekisa kya Katonda n’amaanyi, n’akolanga ebyamagero bingi n’obubonero mu bantu. 96:9 a Mat 27:32 b Bik 15:23, 41; 22:3 c Bik 2:9Naye abamu ku b’omu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, n’Abakuleene n’Abalegezanderiya, n’Abakirukiya n’Abasiya, ne bawakana ne Suteefano. 106:10 Luk 21:15Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi n’Omwoyo bye yayogeza.

116:11 a 1Bk 21:10 b Mat 26:59-61Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti twamuwulira ng’ayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.

126:12 Mat 5:22Abantu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka ne banyiiga nnyo. Ne bakwata Suteefano ne bamuleeta mu Lukiiko Olukulu. 136:13 Bik 21:28Abajulizi ab’obulimba ne boogera nti, “Omuntu ono buli kiseera avvoola ekifo kino ekitukuvu n’amateeka. 146:14 Bik 15:1; 21:21Era twamuwulira ng’agamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino n’obulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”

156:15 Mat 5:22Ab’Olukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ng’amasamasa ng’aga malayika!