使徒行传 5 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 5:1-42

欺骗圣灵

1一个名叫亚拿尼亚的人与妻子撒非喇也把田产卖了。 2他私自留下一部分钱,然后把其余的拿去交给使徒,这件事他妻子也知道。 3彼得说:“亚拿尼亚,你为什么让撒旦充满你的心,欺骗圣灵,私自留下一些卖地的钱呢? 4田产没有卖的时候属于你,即使卖了,卖地的钱也由你支配。你怎么做出这种事呢?你不是欺骗人,你是欺骗上帝!” 5亚拿尼亚听见这话,当场倒地而死。听见这件事的人都非常惧怕。 6有几个青年上前把他的尸体裹起来,抬出去埋葬了。

7大约过了三个小时,亚拿尼亚的妻子也进来了,她还不知道发生了什么事。 8彼得问她:“你们卖田地的钱就这么多吗?”她说:“是的,就这么多。”

9彼得说:“你们二人怎么串通起来试探主的灵呢?埋葬你丈夫的人就到门口了,他们也要把你抬出去。” 10撒非喇立刻倒在彼得脚前死了。那些青年进来看见她已经死了,便把她抬出去葬在她丈夫的旁边。 11整个教会和听见这件事的人都非常惧怕。

神迹奇事

12主借着使徒们在百姓中行了许多神迹奇事,大家同心合意地在所罗门廊那里聚会。 13其他人不敢接近他们,不过百姓都很敬重他们。 14信主的人数不断增加,男女都有。 15人们甚至把病人抬到街上,放在床上或垫子上,希望彼得路过时的影子可以落在病人身上。 16还有大群的人从耶路撒冷附近的城镇带着病人和被污鬼搅扰的人赶来,他们都得了医治。

使徒受迫害

17大祭司和他的同党撒都该人看见这情形,妒火中烧, 18便把使徒拘捕,关在监里。 19当天晚上,有一位主的天使把狱门打开,领他们出来, 20说:“你们到圣殿去,把这生命之道传给百姓。” 21使徒遵从命令,在黎明的时候来到圣殿开始教导众人。

大祭司和他的同党召集了所有公会5:21 公会是犹太人的最高立法与司法机关。的人和以色列的众长老,然后派人去监狱把使徒押来受审。 22差役来到监狱时,发现使徒已经不见了,就回去禀告,说: 23“我们看见牢门紧锁,守卫都站在门外,但打开门一看,里面却空无一人!”

24圣殿护卫长和祭司长听后,都很困扰,不知道是怎么回事。 25这时有人来报告说:“你们关押在牢里的人正在圣殿里教导人!” 26圣殿护卫长和差役再去把使徒抓回来。这次他们不敢动粗,生怕百姓会用石头打他们。

27使徒被带来后站在公会前,大祭司盘问他们,说: 28“我们不是严禁你们奉耶稣的名去教导百姓吗?你们竟然在耶路撒冷各处传道,还想把杀那人的血债归到我们身上!”

29彼得和其他使徒申辩说:“我们要服从的是上帝,而非人。 30你们钉死在十字架上的耶稣,我们祖先的上帝已经使祂复活了。 31上帝把祂提升到自己的右边,立祂为君王和救主,好赐给以色列人悔改的机会,使他们的罪得到赦免。 32我们就是这些事的见证人,上帝赐给顺服祂之人的圣灵也同样做见证。”

33他们听了,怒气冲天,打算杀掉使徒。 34公会中有一位名叫迦玛列的法利赛人,是个德高望重的律法教师。他站起来,叫人把使徒暂且押到外面, 35然后说:“以色列人啊,你们应当慎重处置这些人。 36不久前,有个名叫杜达的人起来自立山头,吸引了差不多四百个跟随者,但他被杀之后,那些跟随者就各奔东西,销声匿迹了。 37后来,又有个加利利犹大在户口登记期间鼓动百姓跟随他造反。他被杀之后,那些跟随者也烟消云散了。 38所以,像现在这种情形,我劝大家还是不要管他们,随他们去吧。他们的计划和行为如果是出于人意,终必失败; 39但如果是出于上帝,你们不但无法阻止他们,恐怕反而是在抵挡上帝!”

40公会采纳了他的意见,于是把使徒召回来打了一顿,再次警告他们不可奉耶稣的名传道,才放了他们。 41使徒离开公会后,为自己有资格为主的名受辱而欢喜。 42他们每天在圣殿里及各家各户教导人,传扬耶稣是基督。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 5:1-42

Ananiya ne Safira

1Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye 25:2 Bik 4:35, 37ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume.

35:3 a Mat 4:10 b Yk 13:2, 27 c nny 9Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro? 4Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”

55:5 a nny 10 b nny 11Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi. 65:6 Yk 19:40Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.

7Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo. 85:8 nny 2Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.”

95:9 nny 3Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”

105:10 nny 5Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. 115:11 nny 5; Bik 19:175:11 nny 21, 25; Bik 26:32; 28:19Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.

Abatume Bawonya Abantu Bangi

125:12 a Bik 2:43 b Bik 4:32 c Bik 3:11Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. 135:13 Bik 2:47; 4:21So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo. 14Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. 155:15 Bik 19:12Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze. 165:16 Mak 16:17Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.

Abatume Bayigganyizibwa

175:17 a Bik 15:5 b Bik 4:1Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya. 185:18 Bik 4:3Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna. 195:19 a Mat 1:20; Luk 1:11; Bik 8:26; 27:23 b Bik 16:26Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya, 205:20 Yk 6:63, 68n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.”

215:21 a Bik 4:5, 6 b nny 27, 34, 41; Mat 5:22Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.

Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese. 22Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu 23nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.” 245:24 Bik 4:1Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.

25Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.” 265:26 Bik 4:21Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja. 275:27 Mat 5:22Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza 285:28 a Bik 4:18 b Mat 23:35; 27:25; Bik 2:23, 36; 3:14, 15; 7:52ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”

295:29 Bik 4:19Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu. 305:30 a Bik 3:13 b Bik 2:24 c Bik 10:39; 13:29; Bag 3:13; 1Pe 2:24Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti. 315:31 a Bik 2:33 b Luk 2:11 c Mat 1:21; Luk 24:47; Bik 2:38Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi. 325:32 a Luk 24:48 b Yk 15:26Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”

335:33 Bik 2:37; 7:54Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta. 345:34 a Bik 22:3 b Luk 2:46Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru. 35N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako. 36Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo. 375:37 Luk 2:1, 2Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako. 385:38 Mat 15:13Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma. 395:39 Nge 21:30; Bik 7:51; 11:17Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.

405:40 Mat 10:17Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.

415:41 a Mat 5:12 b Yk 15:21Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya. 425:42 Bik 2:46Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.