Мудрые изречения 11 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Мудрые изречения 11:1-31

1Мерзость для Вечного – неверные весы,

а верный вес угоден Ему.

2Вслед за гордыней приходит позор,

а за смирением – мудрость.

3Прямодушных ведёт их непорочность,

а коварных губит их же лукавство.

4Бесполезно богатство в день гнева,

а праведность спасает от смерти.

5Праведность непорочных делает их пути прямыми,

а нечестивые падают от своего нечестия.

6Праведность прямодушных спасает их,

а вероломных захватывают злые страсти.

7Когда умирает грешник, гибнет его надежда;

ожидания нечестивых не сбудутся.

8Праведник избавляется от беды,

вместо него попадает в неё грешник.

9Своими устами безбожные губят ближнего,

но праведные спасаются своим знанием.

10Когда праведные процветают, город радуется;

когда гибнут грешные, звучат крики радости.

11Благословением праведных город превознесён,

но уста нечестивых его разрушают.

12Человек нерассудительный позорит ближнего,

а разумный сдерживает язык.

13Сплетник предаёт доверие,

а надёжный человек хранит тайну.

14При недостатке мудрого руководства народ гибнет,

а много советников обеспечивают победу.

15Всякий, ручающийся за чужого, накличет беду,

а избегающий поручительств – в безопасности.

16Добрая женщина приобретает славу,

и трудолюбивые мужчины скопят богатства11:16 Или: «а безжалостные мужчины скопят лишь богатства»..

17Милостивый человек сам себя вознаграждает,

а жестокий сам причиняет себе зло.

18Нечестивый трудится за призрачную награду,

а сеющий праведность получит верное вознаграждение.

19Держащийся праведности будет жить,

а гоняющийся за злом умрёт.

20Вечный гнушается сердцем лукавого,

но угодны Ему те, чей путь непорочен.

21Твёрдо знай: нечестивый не останется безнаказанным,

а те, кто праведен, спасутся.

22Что золотое кольцо у свиньи в пятачке,

то красивая, но безрассудная женщина.

23Ожидания праведных есть одно лишь благо,

а ожидания нечестивцев – гнев.

24Один даёт щедро, а всё богатеет;

другой бережлив непомерно, а впадает в нужду.

25Щедрая душа будет обогащена;

утоливший жажду другого и сам не будет жаждать.

26Того, кто прячет зерно, народ проклинает,

но кто готов продавать, увенчан благословением.

27Тот, кто стремится к добру, найдёт благоволение,

а зло придёт к тому, кто его искал.

28Надеющийся на богатства увянет,

а праведный будет цвести, как зелёная ветка.

29Наводящий беду на семью унаследует только ветер,

и глупец будет прислуживать мудрому.

30От плода праведных произрастает дерево жизни,

и мудрец привлекает души.

31Если праведным на земле воздаётся,

то нечестивцам и грешникам и подавно.

Luganda Contemporary Bible

Engero 11:1-31

111:1 a Lv 19:36; Ma 25:13-16; Nge 20:10, 23 b Nge 16:11Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,

naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

211:2 a Nge 16:18 b Nge 18:12; 29:23Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,

naye obwetoowaze buleeta amagezi.

311:3 Nge 13:6Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya,

naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.

411:4 a Ez 7:19; Zef 1:18 b Lub 7:1; Nge 10:2Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,

naye obutuukirivu buwonya okufa.

511:5 Nge 5:21-23Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu

naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.

6Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya,

naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.

711:7 Nge 10:28Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula,

ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.

811:8 Nge 21:18Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana,

naye jjijjira omukozi w’ebibi.

9Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa,

naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.

1011:10 Nge 28:12Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza;

abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.

1111:11 Nge 29:8Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga:

naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.

Abeesigwa n’Abatambuza Eŋŋambo

1211:12 Nge 14:21Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we,

naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.

1311:13 Lv 19:16; Nge 20:19; 1Ti 5:13Aseetula olugambo atta obwesigwa,

naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.

1411:14 a Nge 20:18 b Nge 15:22; 24:6Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana,

naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.

1511:15 Nge 6:1Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona,

naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.

1611:16 Nge 31:31Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,

naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.

17Omusajja alina ekisa aganyulwa,

naye alina ettima yeereetako akabi.

1811:18 Kos 10:12-13Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa,

naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.

19Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu,

naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.

2011:20 1By 29:17; Zab 119:1; Nge 12:2, 22Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu,

naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.

2111:21 Nge 16:5Mutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa,

naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.

22Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi,

bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.

23Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere,

naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.

Omuntu Omugabi

24Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;

naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.

2511:25 Mat 5:7; 2Ko 9:6-9Omuntu agaba anagaggawalanga,

n’oyo ayamba talibulako amuyamba.

26Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu,

naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.

2711:27 Es 7:10; Zab 7:15-16Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja,

naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.

2811:28 a Yob 31:24-28; Zab 49:6; 52:7; Mak 10:25; 1Ti 6:17 b Zab 1:3; 92:12-14; Yer 17:8Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa,

naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.

2911:29 Nge 14:19Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;

era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.

3011:30 Yak 5:20Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,

era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.

3111:31 Nge 13:21; Yer 25:29; 1Pe 4:18Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,

oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?