Михей 6 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Михей 6:1-16

Аллах обвиняет Исраил

1Послушайте, что говорит Вечный:

– Поднимись, изложи своё дело перед горами;

пусть слышат холмы то, что ты говоришь.

2Слушайте, горы, тяжбу Вечного,

и вы, прочные основания земли!

У Вечного тяжба с Его народом,

Он будет состязаться с Исраилом.

3Народ Мой, что Я сделал тебе?

Чем измучил тебя? Ответь Мне.

4Я вывел тебя из Египта,

выкупил из края неволи.

Я послал Мусу, Харуна и Марьям,

чтобы вести тебя.

5Вспомни, народ Мой,

что задумал Валак, царь Моава,

и что ответил ему Валаам, сын Беора6:5 Валак и Валаам – см. Чис. 22–24.,

и что случилось по пути из Шиттима в Гилгал6:5 См. Иеш. 3–4.;

вспомни, чтобы постичь праведные дела Вечного.

6С чем мне предстать перед Вечным,

с чем мне склониться перед Богом небесным?

Предстать ли со всесожжениями,

с телятами годовалыми?

7Можно ли Вечному угодить тысячами баранов,

нескончаемыми реками масла?

Отдам ли первенца в жертву за грех мой,

плод тела – за грех моей души?

8О человек, Вечный сказал тебе, что есть добро

и чего Он требует от тебя:

действовать справедливо, любить милосердие

и смиренно жить перед твоим Богом.

Вина и наказание Исраила

9Голос Вечного взывает к городу

(и мудрость – бояться Его имени):

– Внимайте жезлу и Тому,

Кто его поставил.

10Забуду ли, о дом злодеев, злодейством нажитое богатство

и меру уменьшенную, которая Мне ненавистна?

11Потерплю ли неправильные весы

и обманные гири?

12Богачи твои кровожадны,

твои обитатели лгут,

обман у них на устах.

13За это Я начал губить тебя,

разорять дотла за твои грехи.

14Будешь есть, но не наешься;

желудок твой останется пустым.

Будешь копить, но не сбережёшь,

а то, что сбережёшь, Я предам мечу.

15Будешь сеять, а жать не будешь;

будешь давить оливки, но не будешь умащаться маслом;

будешь топтать виноград, но вина пить не будешь.

16Ты соблюдал злые уставы царя Омри

и сохранил все нечестивые обычаи дома царя Ахава6:16 Омри и Ахав – см. 3 Цар. 16:21-34. Об этих царях говорится, что они делали больше зла, чем все их предшественники.;

всем их традициям следовал.

За это предам тебя разорению,

а твоих обитателей – позору;

ты будешь сносить глумление народов6:16 Или: «поругание Моего народа»..

Luganda Contemporary Bible

Mikka 6:1-16

16:1 Zab 50:1; Ez 6:2Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,

“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,

n’obusozi buwulire bye mugamba.

26:2 a Ma 32:1 b Kos 12:2 c Zab 50:7“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;

nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.

Mukama alina ensonga ku bantu be

era agenda kuwawabira Isirayiri.

36:3 Yer 2:5“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?

Nnali mbazitooweredde? Munziremu.

46:4 a Ma 7:8 b Kuv 4:16 c Zab 77:20 d Kuv 15:20Nabaggya mu nsi ye Misiri

ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,

ne mbawa Musa,

ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.

56:5 a Kbl 22:5-6 b Kbl 25:1 c Yos 5:9-10 d Bal 5:11; 1Sa 12:7Mmwe abantu bange mujjukire

ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu

n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.

Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali

mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”

66:6 Zab 40:6-8; 51:16-17Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama

nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?

Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,

n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?

76:7 a Is 40:16 b Zab 50:8-10 c Lv 18:21 d 2Bk 16:3Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,

oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?

Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,

nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?

86:8 a Is 1:17; Yer 22:3 b Is 57:15 c Ma 10:12-13; 1Sa 15:22; Kos 6:6Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.

Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,

okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa

era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

9Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.

“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,

n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.

106:10 Ez 45:9-10; Am 3:10; 8:4-6Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,

mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,

erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?

116:11 Lv 19:36; Kos 12:7Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,

alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?

126:12 a Is 1:23 b Is 3:8 c Yer 9:3Abagagga baakyo bakambwe

n’abatuuze baamu balimba

n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.

136:13 Is 1:7; 6:11Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,

nkumalewo olw’ebibi byo.

146:14 a Is 9:20 b Is 30:6Onoolyanga, naye n’otokutta,

era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.

Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka

kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.

156:15 a Ma 28:38; Yer 12:13 b Am 5:11; Zef 1:13Olisiga naye tolikungula,

oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,

olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.

166:16 a 1Bk 16:25 b 1Bk 16:29-33 c Yer 7:24 d Yer 25:9 e Yer 51:51Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli

n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu

n’ogoberera n’emizizo gyabwe,

kyendiva nkufuula ekifulukwa,

n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa

era olibaako ekivume ky’amawanga.”