Prædikerens Bog 3 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

Prædikerens Bog 3:1-22

Tid til alt

1Alt i livet har sin egen tid:

2Tid til at fødes og tid til at dø,

tid til at plante og tid til at høste,

3tid til at dræbe og tid til at læge,

tid til at bryde ned og tid til at bygge op,

4tid til at græde og tid til at le,

tid til at sørge og tid til at danse,

5tid til at dænge sten på en mark3,5 Jf. 2.Kong. 3,25. og tid til at samle dem,

tid til at omfavne og tid til ikke at omfavne,

6tid til at finde og tid til at miste,

tid til at gemme og tid til at kassere,

7tid til at flænge og tid til at lappe,

tid til tavshed og tid til tale,

8tid til at elske og tid til at hade,

tid til krig og tid til fred.

Gud er suveræn

9Hvad har man så ud af alt sit slid? 10Gud har givet menneskene mange ting at beskæftige sig med. 11Alt har han skabt, så det har sin tid og tjener hans plan. Men skønt han har lagt evigheden i vores hjerter, fatter vi dog ikke hans plan og virke fra begyndelsen til enden. 12Derfor er det bedste, man kan gøre, at glæde sig og nyde livet, så længe det er muligt, 13for det at spise og drikke og finde tilfredsstillelse i sit arbejde er en Guds gave.

14Jeg ved, at hvad Gud gør, står ikke til at ændre. Man kan hverken lægge noget til eller trække noget fra. Hans hensigt er, at vi skal have ærefrygt for ham.

15Hvad der sker nu, er allerede sket før, og hvad der sker i fremtiden, er også sket før. Gud lader historien gentage sig.

16Jeg lagde også mærke til, at der var gudløshed og ondskab, hvor der burde være retfærdighed og godhed, 17og jeg sagde til mig selv: „Når tiden er inde, vil Gud dømme de gode såvel som de onde.” 18-19Gud lader verden gå sin gang for at lade os forstå, at den samme skæbne venter både mennesker og dyr: Alle indånder de den samme luft, og alle skal de dø en dag. Mennesket er i det stykke ikke bedre stillet end et dyr, for begges liv synes at være uden formål. 20Alle ender samme sted, for af jord er de kommet, og til jord skal de blive. 21Hvem ved, om menneskets ånd går opad, og dyrets ånd går nedad?

22Jeg fandt altså, at det bedste for et menneske er at glæde sig ved sit arbejde. Ingen af os kan vide, hvad der sker efter døden.

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 3:1-22

Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo

13:1 nny 11, 17; Mub 8:6Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,

na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

2Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;

ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;

3ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;

ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;

4ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;

ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;

5ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;

ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;

6waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;

ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;

73:7 Am 5:13n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;

ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;

8waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;

ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.

93:9 Mub 1:3Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 103:10 Mub 1:13Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 113:11 a nny 1 b Yob 11:7; Mub 8:17 c Yob 28:23; Bar 11:33Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 133:13 a Mub 2:3 b Zab 34:12 c Ma 12:7, 18; Mub 2:24; 5:19Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 143:14 Yob 23:15; Mub 5:7; 7:18; 8:12-13; Yak 1:17Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.

153:15 a Mub 6:10 b Mub 1:9Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;

n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;

era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.

16Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,

mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;

ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.

173:17 a Yob 19:29; Mub 11:9; Mat 16:27; Bar 2:6-8; 2Bs 1:6-7 b nny 1Ne njogera munda yange nti,

“Katonda aliramula

abatuukirivu n’aboonoonyi;

kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;

era na buli mulimu.”

183:18 Zab 73:22Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 193:19 Mub 2:14Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 203:20 Lub 2:7; 3:19; Yob 34:15Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 213:21 Mub 12:7Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”

223:22 a Mub 2:24; 5:18 b Yob 31:2Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.