โยชูวา 4 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

โยชูวา 4:1-24

1เมื่อเหล่าประชากรข้ามแม่น้ำจอร์แดนไปทุกคนแล้ว องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโยชูวาว่า 2“จงคัดเลือกชายสิบสองคนจากเหล่าประชากรเผ่าละหนึ่งคน 3และสั่งพวกเขาให้ยกก้อนหินมาสิบสองก้อน จากกลางแม่น้ำจอร์แดนตรงที่เหล่าปุโรหิตยืน และตั้งไว้ในสถานที่ซึ่งเจ้าจะไปตั้งค่ายพักค่ำวันนี้”

4โยชูวาจึงเรียกชายสิบสองคนนั้นซึ่งคัดเลือกจากชนอิสราเอลเผ่าละหนึ่งคนมา 5และสั่งว่า “จงออกไปกลางแม่น้ำจอร์แดนตรงที่หีบพันธสัญญาของพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านตั้งอยู่ แล้วแบกหินขึ้นบ่ามาคนละหนึ่งก้อน ตามจำนวนเผ่าของชนอิสราเอล 6เพื่อเป็นอนุสรณ์ท่ามกลางพวกท่าน ในอนาคตเมื่อลูกหลานของท่านถามว่า ‘หินเหล่านี้มีความหมายว่าอย่างไร?’ 7จงบอกพวกเขาว่าแม่น้ำจอร์แดนแยกออกต่อหน้าหีบพันธสัญญาขององค์พระผู้เป็นเจ้าเมื่อหีบข้ามแม่น้ำจอร์แดน น้ำในแม่น้ำจอร์แดนก็แยกขาดจากกัน หินเหล่านี้จะเป็นอนุสรณ์เตือนใจชนอิสราเอลตลอดไป”

8ชนอิสราเอลก็ทำตามที่โยชูวาสั่ง พวกเขาขนหินสิบสองก้อนจากกลางแม่น้ำจอร์แดนตามจำนวนเผ่าของอิสราเอล ตามที่องค์พระผู้เป็นเจ้าได้ทรงบัญชาโยชูวาไว้ และยกมาวางลงในสถานที่ตั้งค่ายพักแรมของพวกเขาในคืนวันนั้น 9โยชูวาให้นำหินสิบสองก้อนที่เคยอยู่กลางแม่น้ำจอร์แดน ในบริเวณที่ปุโรหิตผู้หามหีบพันธสัญญายืนอยู่นั้นมาตั้งไว้4:9 หรือโยชูวาให้ตั้งหินสิบสองก้อนที่กลางแม่น้ำจอร์แดนในบริเวณที่ปุโรหิตผู้หามหีบพันธสัญญายืนอยู่ และหินเหล่านั้นยังคงอยู่ที่นั่นจวบจนทุกวันนี้

10ปุโรหิตผู้หามหีบพันธสัญญายืนอยู่กลางแม่น้ำตราบจนเหล่าประชากรทำครบถ้วนทุกอย่างตามที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงบัญชาโยชูวา ดังที่โมเสสได้กำชับโยชูวา เหล่าประชากรรีบรุดข้ามแม่น้ำไป 11เมื่อทุกคนข้ามไปแล้ว ประชากรพากันมองดูปุโรหิตหามหีบพันธสัญญาขององค์พระผู้เป็นเจ้าขึ้นจากแม่น้ำ 12ชนเผ่ารูเบน กาด และมนัสเสห์ครึ่งเผ่าก็ข้ามแม่น้ำไป พวกเขาคาดอาวุธนำหน้าชนอิสราเอลตามที่โมเสสได้สั่งพวกเขาไว้ 13มีคนราวสี่หมื่นคนจับอาวุธออกรบต่อหน้าองค์พระผู้เป็นเจ้าบุกไปยังที่ราบเยรีโค

14วันนั้นองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงยกชูโยชูวาขึ้นต่อหน้าปวงชนอิสราเอล และพวกเขายำเกรงโยชูวาตลอดชีวิตของโยชูวาเหมือนที่เคยยำเกรงโมเสส

15แล้วองค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโยชูวาว่า 16“จงสั่งปุโรหิตผู้หามหีบแห่งพันธสัญญาให้ขึ้นจากแม่น้ำจอร์แดน”

17โยชูวาก็ออกคำสั่งแก่ปุโรหิตว่า “จงขึ้นมาจากแม่น้ำจอร์แดน”

18ปุโรหิตจึงหามหีบพันธสัญญาขององค์พระผู้เป็นเจ้าขึ้นจากแม่น้ำ ทันทีที่เท้าของพวกเขาแตะพื้นตลิ่ง สายน้ำก็ไหลกลับลงท่วมตลิ่งดังเดิม

19ในวันที่สิบของเดือนแรก เหล่าประชากรข้ามแม่น้ำจอร์แดนไปตั้งค่ายพักแรมที่กิลกาล ชิดเขตแดนด้านตะวันออกของเมืองเยรีโค 20โยชูวาก็ให้ตั้งหินสิบสองก้อนที่ยกมาจากแม่น้ำจอร์แดนนั้นไว้ที่กิลกาล 21เขากล่าวแก่ชนอิสราเอลว่า “ในอนาคตเมื่อลูกหลานของท่านถามว่า ‘ก้อนหินเหล่านี้มีความหมายว่าอย่างไร?’ 22จงบอกเขาว่า ‘อิสราเอลเดินข้ามแม่น้ำจอร์แดนบนพื้นแห้ง’ 23เพราะพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านทรงบันดาลให้แม่น้ำจอร์แดนแห้งต่อหน้าพวกท่าน เพื่อพวกท่านจะข้ามไปได้ เหมือนที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านเคยทำให้ทะเลแดง4:23 คือ ทะเลต้นกกแห้งเป็นทางต่อหน้าเราจนพวกเราได้ข้ามไป 24ทั้งนี้เพื่อชาวโลกทั้งปวงจะรู้ว่าพระหัตถ์ขององค์พระผู้เป็นเจ้านั้นทรงอานุภาพ และเพื่อท่านทั้งหลายจะยำเกรงพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านตลอดไป”

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 4:1-24

Amayinja Ekkumi n’Abiri ag’Ekijjukizo

14:1 Ma 27:2Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’agamba Yoswa nti, 24:2 Yos 3:12“Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.” 34:3 a nny 20 b nny 19Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”

4Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti, 5“Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye. 64:6 nny 21; Kuv 12:26Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza, 74:7 a Yos 3:13 b Kuv 12:14mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”

84:8 nny 20Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa. 94:9 Lub 28:18; Yos 24:26; 1Sa 7:12Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.

10Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro. 11Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya Mukama abantu bonna nga babayeegese amaaso. 124:12 Kbl 32:27Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba, 13bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ng’ena mu maaso ga Mukama Katonda, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lw’e Yeriko. 144:14 Yos 3:7Ku lunaku olwo Mukama n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.

15Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, 164:16 Kuv 25:22“Lagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Obujulirwa baveeyo mu mugga.” 17Bw’atyo Yoswa n’alagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.” 184:18 Yos 3:15Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo. 194:19 Yos 5:9Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko. 204:20 nny 3, 8Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali. 214:21 nny 6N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano, 224:22 Yos 3:17mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani, 234:23 Kuv 14:21Mukama n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’ 244:24 a 1Bk 8:42-43; 2Bk 19:19; Zab 106:8; Yer 10:7 b Kuv 15:16; 1By 29:12; Zab 89:13 c Kuv 14:31Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”