เลวีนิติ 18 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

เลวีนิติ 18:1-30

ความสัมพันธ์ทางเพศที่ผิดธรรมบัญญัติ

1องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสว่า 2“ให้แจ้งชนอิสราเอลว่า ‘เราคือพระยาห์เวห์พระเจ้าของเจ้า 3เจ้าอย่าประพฤติตนตามอย่างชาวอียิปต์ซึ่งเจ้าทั้งหลายเคยอาศัยอยู่ด้วย และเจ้าอย่าทำอย่างชาวคานาอันในดินแดนซึ่งเรากำลังจะพาพวกเจ้าไป อย่าทำตามอย่างพวกเขา 4จงเชื่อฟังบทบัญญัติของเราและใส่ใจทำตามกฎหมายของเรา เราคือพระยาห์เวห์พระเจ้าของเจ้า 5จงทำตามกฎหมายและบทบัญญัติของเรา เพราะผู้ใดที่เชื่อฟังจะมีชีวิตอยู่โดยสิ่งเหล่านี้ เราคือพระยาห์เวห์

6“ ‘อย่าให้ผู้ใดในพวกเจ้าเข้าหาและมีเพศสัมพันธ์กับญาติสนิท เราคือพระยาห์เวห์

7“ ‘อย่าทำให้บิดาอับอายขายหน้าโดยมีเพศสัมพันธ์กับมารดาของเจ้า นางเป็นมารดาของเจ้า อย่ามีเพศสัมพันธ์กับนาง

8“ ‘อย่าทำให้บิดาอับอายขายหน้าโดยมีเพศสัมพันธ์กับภรรยาของบิดา

9“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับพี่สาวน้องสาวของเจ้า ไม่ว่าจะเป็นลูกสาวของบิดาหรือของมารดาเจ้า ไม่ว่าเกิดในบ้านเดียวกันหรือเกิดคนละที่

10“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับหลานสาวของเจ้าซึ่งทำให้ตัวเจ้าเองอับอายขายหน้า

11“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับลูกสาวของภรรยาของบิดาซึ่งเป็นเลือดเนื้อเชื้อไขของบิดาเจ้า เพราะนางคือพี่น้องของเจ้า

12“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับป้าหรืออาเพราะเป็นญาติสนิทของบิดาเจ้า

13“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับป้าหรือน้าเพราะเป็นญาติสนิทของมารดาเจ้า

14“ ‘อย่าทำให้พี่ชายหรือน้องชายของบิดาเจ้าอับอายขายหน้า โดยมีเพศสัมพันธ์กับภรรยาของเขา เพราะนางเป็นป้าสะใภ้หรืออาสะใภ้ของเจ้า

15“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับบุตรสะใภ้ของเจ้า นางเป็นภรรยาของบุตรชายของเจ้า อย่ามีเพศสัมพันธ์กับนาง

16“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับภรรยาของพี่ชายหรือของน้องชายเจ้าเพราะนั่นทำให้พี่น้องของเจ้าอับอายขายหน้า

17“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับหญิงคนใดและกับลูกสาวของนาง และอย่ามีเพศสัมพันธ์กับหลานสาวของนาง เพราะหญิงเหล่านั้นเป็นญาติสนิทของนาง การทำเช่นนั้นเป็นความชั่ว

18“ ‘อย่าเอาพี่สาวหรือน้องสาวของภรรยาของเจ้ามาเป็นคู่แข่งของนาง อย่ามีเพศสัมพันธ์กับพี่น้องของภรรยา ขณะที่ภรรยายังมีชีวิตอยู่

19“ ‘อย่าเข้าหาเพื่อมีเพศสัมพันธ์กับหญิงที่กำลังมีประจำเดือน

20“ ‘อย่ามีเพศสัมพันธ์กับภรรยาของเพื่อนบ้าน อันเป็นการสร้างมลทินแก่ตัวเองร่วมกับนาง

21“ ‘อย่าเอาลูกหลานลุยไฟเซ่นบูชาพระโมเลค อย่าหมิ่นประมาทพระนามพระเจ้าของเจ้า เราคือพระยาห์เวห์

22“ ‘อย่าสมสู่รักร่วมเพศอันเป็นสิ่งน่ารังเกียจเดียดฉันท์

23“ ‘อย่าสมสู่กับสัตว์ทำให้ตัวเองเป็นมลทิน ผู้หญิงก็ห้ามทอดกายให้สัตว์สมสู่ด้วย นั่นเป็นความวิปริต

24“ ‘อย่าทำตัวให้มีมลทินด้วยเหตุใดๆ ในข้อเหล่านี้ ซึ่งเป็นการกระทำของชนชาติต่างๆ ซึ่งเรากำลังจะขับไล่ออกไปให้พ้นหน้าเจ้า 25ทั่วดินแดนนั้นแปดเปื้อนมลทิน เราจึงลงโทษบาปของเขาเหล่านั้นและแผ่นดินกำลังสำรอกผู้ที่อาศัยอยู่ที่นั่นออกมา 26แต่เจ้าต้องถือรักษากฎหมายและบทบัญญัติของเรา ทั้งชนอิสราเอลโดยกำเนิดและคนต่างด้าวซึ่งอาศัยอยู่ในหมู่พวกเจ้า จะต้องไม่ทำสิ่งที่น่ารังเกียจเหล่านี้ 27เพราะประชาชนในดินแดนตรงหน้าเจ้าได้ทำสิ่งเหล่านี้ แผ่นดินนั้นจึงเป็นมลทิน 28และหากเจ้าทำให้แผ่นดินเป็นมลทิน แผ่นดินนั้นก็จะสำรอกพวกเจ้าออกมา เหมือนที่ได้สำรอกชนชาติต่างๆ ออกมาก่อนหน้าเจ้า

29“ ‘ทุกคนที่ทำสิ่งน่ารังเกียจอย่างใดอย่างหนึ่งเหล่านี้ จะต้องถูกตัดออกจากหมู่ประชากรของเขา 30ฉะนั้นจงปฏิบัติตามข้อกำหนดของเรา อย่าดำเนินตามเยี่ยงอย่างอันน่ารังเกียจเหล่านี้ ซึ่งทำกันอยู่ก่อนหน้าพวกเจ้าเข้ามา อย่าทำตัวแปดเปื้อนไปกับพวกเขา เราคือพระยาห์เวห์พระเจ้าของเจ้า’ ”

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 18:1-30

Okusula n’Omukazi mu Ngeri Emenya Amateeka

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 218:2 Kuv 6:7; Lv 11:44; Ez 20:5“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe. 318:3 nny 24-30; Kuv 23:24; Lv 20:23Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 418:4 nny 2Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe. 518:5 Ez 20:11; Bar 10:5*; Bag 3:12*Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda.

6“ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.

718:7 a Lv 20:11 b Ez 22:10“ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu.

818:8 a 1Ko 5:1 b Lv 20:11“ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.

918:9 Lv 20:17“ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.

10“ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.

11“ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.

1218:12 Lv 20:19“ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu.

13“ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu.

1418:14 Lv 20:20“ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto.

1518:15 Lv 20:12“ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu.

1618:16 Lv 20:21“ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu.

1718:17 Lv 20:14“ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene.

18“ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu.

1918:19 Lv 15:24; 20:18“ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.

2018:20 Kuv 20:14; Lv 20:10; Mat 5:27, 28; 1Ko 6:9; Beb 13:4“ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.

2118:21 a Ma 12:31 b Lv 20:2-5 c Lv 19:12; 21:6; Ez 36:20“ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.

2218:22 Lv 20:13; Ma 23:18; Bar 1:27“ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.

2318:23 Kuv 22:19; Lv 20:15; Ma 27:21“ ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.

2418:24 a nny 3, 27, 30 b Ma 18:12“ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu; 2518:25 a Lv 20:23; Ma 9:5; 18:12 b nny 28; Lv 20:22n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema. 26Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo. 27Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu. 28Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.

29“ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe. 3018:30 a Ma 11:1 b nny 2Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”