อพยพ 24 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

อพยพ 24:1-18

การยืนยันพันธสัญญา

1แล้วพระองค์ตรัสกับโมเสสว่า “จงขึ้นมาเข้าเฝ้าองค์พระผู้เป็นเจ้าพร้อมกับอาโรน นาดับ อาบีฮู และผู้อาวุโสทั้งเจ็ดสิบคนของอิสราเอล พวกเจ้าทุกคนจะนมัสการอยู่ห่างๆ 2แต่โมเสสคนเดียวเท่านั้นจะขึ้นมาเข้าเฝ้าองค์พระผู้เป็นเจ้าอย่างใกล้ชิด ส่วนคนอื่นๆ อย่าเข้ามาใกล้ ห้ามประชาชนทั่วไปขึ้นมาด้วย”

3โมเสสจึงแจ้งให้เหล่าประชากรทราบถึงบทบัญญัติและพระดำรัสทั้งสิ้นขององค์พระผู้เป็นเจ้าเขาทั้งปวงก็ตอบรับเป็นเสียงเดียวกันว่า “เราจะปฏิบัติตามทุกสิ่งที่องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสไว้” 4โมเสสจึงบันทึกทุกสิ่งที่องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสไว้

เช้าตรู่วันรุ่งขึ้นโมเสสก่อแท่นบูชาที่เชิงเขาและตั้งเสาหินสิบสองต้นเป็นตัวแทนสิบสองเผ่าของอิสราเอล 5แล้วเขาสั่งให้ชายหนุ่มชาวอิสราเอลถวายเครื่องเผาบูชาและถวายวัวหนุ่มจำนวนหนึ่งเป็นเครื่องสันติบูชาแด่องค์พระผู้เป็นเจ้า 6โมเสสแบ่งเลือดจากสัตว์ที่เป็นเครื่องบูชามาครึ่งหนึ่งใส่ลงในอ่าง อีกครึ่งหนึ่งเขาพรมลงบนแท่นบูชา 7แล้วโมเสสอ่านหนังสือพันธสัญญานั้นให้ประชาชนฟัง พวกเขาก็ตอบว่า “เราจะปฏิบัติตามทุกสิ่งที่องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสไว้ เราจะเชื่อฟัง”

8โมเสสจึงนำเลือดในอ่างพรมประชาชนและกล่าวว่า “นี่คือเลือดแห่งพันธสัญญาที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงกระทำไว้กับท่านทั้งหลายตามพระดำรัสทั้งสิ้นนี้”

9จากนั้นโมเสส อาโรน นาดับ อาบีฮู และผู้อาวุโสทั้งเจ็ดสิบคนของอิสราเอลขึ้นไปบนภูเขา 10และเห็นพระเจ้าแห่งอิสราเอล พื้นใต้พระบาทเป็นแนวเจิดจรัสราวกับแก้วไพฑูรย์สุกปลั่งแจ่มจ้าเหมือนท้องฟ้า 11ถึงแม้ผู้นำเหล่านี้ของอิสราเอลเห็นพระเจ้า พระองค์ก็ไม่ได้ทรงทำลายพวกเขา และเขาทั้งหมดกินดื่มร่วมกัน

12องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสว่า “จงขึ้นมาหาเราบนภูเขา รออยู่ที่นี่ แล้วเราจะมอบบทบัญญัติและพระบัญชาซึ่งเราจารึกบนแผ่นศิลาให้เจ้าเพื่อไว้สั่งสอนประชากร”

13ดังนั้นโมเสสและโยชูวาผู้ช่วยของเขาจึงขึ้นไปบนภูเขาของพระเจ้า 14โมเสสกล่าวกับผู้อาวุโสเหล่านั้นว่า “ขอให้ท่านรออยู่ที่นี่จนกว่าพวกเราจะกลับมา อาโรนและเฮอร์อยู่กับพวกท่าน ใครมีเรื่องมีราวให้ไปหาเขาทั้งสองได้”

15โมเสสจึงขึ้นไปบนภูเขา แล้วกลุ่มเมฆก็ปกคลุมภูเขานั้น 16และพระเกียรติสิริขององค์พระผู้เป็นเจ้าอยู่บนภูเขาซีนาย มีเมฆปกคลุมอยู่ตลอดหกวัน ในวันที่เจ็ดองค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสเรียกโมเสสจากเมฆ 17ชนอิสราเอลเห็นพระเกียรติสิริขององค์พระผู้เป็นเจ้าบนยอดเขา แลดูเหมือนไฟลุกจ้า 18แล้วโมเสสก็เข้าไปในกลุ่มเมฆบนยอดเขา และอยู่ที่นั่นตลอดสี่สิบวันสี่สิบคืน

Luganda Contemporary Bible

Okuva 24:1-18

Isirayiri Akkiriza Endagaano

124:1 a Kuv 6:23; Lv 10:1-2 b Kbl 11:16Awo Mukama n’alagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga, 2Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”

324:3 Kuv 19:8; Ma 5:27Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama by’agambye tunaabikola.” 424:4 a Ma 31:9 b Lub 28:18Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera.

Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali. 5N’atuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ne ssaddaaka ey’emirembe ey’ente. 624:6 Beb 9:18Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto. 724:7 Beb 9:19N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”

824:8 Beb 9:20*; 1Pe 1:2Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”

924:9 nny 1Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka; 1024:10 a Mat 17:2; Yk 1:18 b Ez 1:26 c Kub 4:3ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire. 1124:11 Lub 32:30; Kuv 19:21Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.

1224:12 Kuv 32:15-16Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”

1324:13 a Kuv 17:9 b Kuv 3:1Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda. 14N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”

1524:15 Kuv 19:9Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka. 1624:16 a Kuv 16:10 b Zab 99:7Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire. 1724:17 Kuv 3:2; Ma 4:36Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi. 1824:18 a Ma 9:9 b Kuv 34:28Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.