ผู้วินิจฉัย 19 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

ผู้วินิจฉัย 19:1-30

คนเลวีกับภรรยาน้อย

1สมัยนั้นอิสราเอลไม่มีกษัตริย์ปกครอง

มีชายตระกูลเลวีคนหนึ่ง อาศัยอยู่ในพื้นที่ห่างไกลในแดนเทือกเขาแห่งเอฟราอิม เขาได้พาหญิงสาวคนหนึ่งจากเบธเลเฮมในยูดาห์มาเป็นภรรยาน้อย 2แต่หญิงนั้นไม่ซื่อสัตย์ต่อสามี นางทิ้งเขากลับไปอยู่บ้านของบิดาที่เบธเลเฮมในยูดาห์ได้สี่เดือน 3แล้วสามีของนางไปเยี่ยมนางพร้อมคนใช้ของเขาและลาสองตัว เพื่อชักชวนให้กลับมาอยู่ด้วยกันอีก นางพาเขาเข้าไปในบ้านของบิดา เมื่อบิดาเห็นเขาก็ต้อนรับด้วยความยินดี 4พ่อตาจึงชวนลูกเขยให้พักอยู่ด้วย เขาก็กินดื่มและพักอยู่ที่นั่นเป็นเวลาสามวัน

5ในวันที่สี่พวกเขาก็ตื่นแต่เช้าเตรียมออกเดินทาง แต่บิดาของหญิงนั้นกล่าวกับบุตรเขยว่า “หาอะไรกินให้ชื่นใจก่อนที่จะไป” 6ดังนั้นเขาและพ่อตาจึงนั่งลงกินดื่มด้วยกัน ต่อมาพ่อตาได้ชักชวนว่า “ขอให้พักผ่อนให้สำราญอีกสักคืนเถิด” 7เมื่อชายนั้นลุกขึ้นเตรียมจะไป พ่อตาก็พูดโน้มน้าวอีก ดังนั้นเขาจึงค้างคืนที่นั่น 8เช้าวันที่ห้า เมื่อเขาลุกขึ้นจะไป พ่อตากล่าวว่า “พักให้สดชื่น คอยจนบ่ายหน่อยแล้วค่อยไป!” แล้วเขากับพ่อตาก็นั่งลงกินด้วยกันอีก

9เมื่อชายผู้นั้นกับภรรยาน้อยและคนรับใช้กำลังจะไป พ่อตาก็พูดว่า “นี่ก็จวนจะเย็นแล้ว ค้างอีกสักคืนเถอะ คืนนี้เราจะได้ฉลองอีกครั้ง แล้วพรุ่งนี้ลูกค่อยตื่นแต่เช้าออกเดินทางไป” 10แต่ชายผู้นั้นยืนกรานไม่ยอมค้างคืน พวกเขาจึงออกเดินทางมุ่งไปยังเยบุส (คือเยรูซาเล็ม) พร้อมด้วยภรรยาน้อยและลาสองตัวที่มีอาน

11เมื่อพวกเขามาเกือบถึงเยบุสก็ใกล้ค่ำแล้ว คนรับใช้นั้นพูดกับนายว่า “ให้เราแวะพักที่เมืองของชาวเยบุส และค้างคืนกันที่นี่เถิด”

12นายของเขาตอบว่า “ไม่ได้ เราจะไม่พักอยู่ในเมืองของคนต่างชาติ ซึ่งไม่ใช่ชาวอิสราเอล เราจะไปต่อจนถึงกิเบอาห์” 13เขากล่าวอีกว่า “ให้เราพยายามไปถึงกิเบอาห์หรือรามาห์ แล้วค่อยค้างคืนที่ใดที่หนึ่ง” 14ดังนั้นพวกเขาจึงเดินทางต่อไป ขณะที่เขามาถึงกิเบอาห์ในเขตเบนยามิน ดวงอาทิตย์กำลังจะลับฟ้า 15เขาหยุดเพื่อจะค้างคืนที่นั่น แต่เนื่องจากไม่มีใครเชิญให้พักด้วย พวกเขาจึงไปนั่งอยู่ที่ลานเมือง

16เย็นวันนั้นชายชราผู้หนึ่งซึ่งมาจากแดนเทือกเขาแห่งเอฟราอิม เขากลับจากทำงานในทุ่งนาเพื่อจะกลับบ้านในกิเบอาห์ (ซึ่งชาวเบนยามินอาศัยอยู่ที่นั่น) 17เมื่อเห็นนักเดินทางนั่งอยู่ที่ลานเมือง ชายชราผู้นั้นจึงถามว่า “พวกท่านมาจากที่ไหน? และกำลังจะไปที่ไหน?”

18เขาตอบว่า “พวกเรามาจากเบธเลเฮมในแผ่นดินยูดาห์ กำลังจะกลับไปยังบ้านของเรา ซึ่งเป็นพื้นที่ห่างไกลในแดนเทือกเขาแห่งเอฟราอิม ข้าพเจ้าได้ไปเมืองเบธเลเฮมในแผ่นดินยูดาห์ และขณะนี้กำลังจะไปยังพระนิเวศขององค์พระผู้เป็นเจ้าแต่ไม่มีใครเชิญเราเข้าไปในบ้าน 19เรามีทั้งฟางและหญ้าสำหรับลา และขนมปังกับเหล้าองุ่นสำหรับผู้รับใช้ของท่านคือตัวข้าพเจ้า ภรรยา และคนรับใช้ พวกเราไม่ขาดสิ่งใด”

20ชายชราผู้นั้นจึงกล่าวว่า “เชิญไปพักที่บ้านของข้าพเจ้า ให้ข้าพเจ้าจัดหาสิ่งที่ท่านต้องการ ขอเพียงอย่าพักที่ลานเมืองนี้เลย” 21ชายชราจึงพาคนเหล่านั้นไปที่บ้านของเขาและให้อาหารแก่ลา หลังจากที่พวกเขาล้างเท้าแล้ว ก็กินดื่มด้วยกัน

22ขณะที่พวกเขากำลังรื่นเริงอยู่นั้น ก็มีกลุ่มคนชั่วของเมืองนั้นมาล้อมบ้านชายชราไว้ แล้วทุบประตู พร้อมทั้งตะโกนใส่ชายชราเจ้าของบ้านว่า “จงนำชายคนนั้นที่มาพักอยู่ในบ้านของเจ้าออกมา เพื่อเราจะได้ร่วมเพศกับเขา”

23เจ้าของบ้านผู้นั้นจึงออกไปข้างนอกพูดกับคนเหล่านั้นว่า “ไม่ได้หรอกเพื่อนเอ๋ย อย่าทำสิ่งเลวทรามต่ำช้าเช่นนั้นเลย เพราะว่าเขาเป็นแขกของข้าพเจ้า อย่าทำสิ่งน่าละอายนี้เลย 24นี่แน่ะ ข้าพเจ้าจะพาลูกสาวพรหมจารีของข้าพเจ้าและภรรยาน้อยของชายคนนั้นออกมาให้พวกท่านทำอะไรก็ได้ตามใจชอบ แต่อย่าทำสิ่งน่าละอายกับชายคนนั้นเลย”

25แต่พวกเขาไม่ยอมฟัง ชายตระกูลเลวีจึงผลักภรรยาน้อยออกไป คนเหล่านั้นก็รุมข่มขืนและทำร้ายนางตลอดคืน แล้วปล่อยตัวนางมาเมื่อรุ่งสาง 26นางจึงกลับมาที่บ้านที่สามีของนางพักอยู่ แล้วล้มลงที่หน้าประตูบ้าน นอนอยู่ที่นั่นจนกระทั่งสว่าง

27เมื่อสามีของนางตื่นขึ้นในตอนเช้าและเปิดประตูออกมาเพื่อเดินทางต่อไป ก็พบภรรยาน้อยของตนล้มฟุบนอนอยู่ที่นั่น มือสองข้างพาดธรณีประตู 28เขาจึงกล่าวกับนางว่า “ลุกขึ้นไปกันเถอะ” แต่ไม่มีเสียงตอบ เขาจึงช้อนร่างของนางพาดบนหลังลา แล้วพากลับบ้าน

29เมื่อถึงบ้านแล้วก็หยิบมีดมาฟันร่างของนางแยกเป็นสิบสองท่อน ส่งไปยังเผ่าต่างๆ ของอิสราเอลเผ่าละท่อน 30ทุกคนที่เห็นพูดกันว่า “ตั้งแต่วันที่อิสราเอลออกมาจากอียิปต์ ไม่เคยมีเหตุการณ์อย่างนี้เลย ลองคิดดู! ลองพิจารณาดู! โปรดบอกพวกเราว่าจะต้องทำอย่างไร!”

Luganda Contemporary Bible

Balam 19:1-30

Omuleevi ne mukazi we

119:1 a Bal 18:1 b Lus 1:1Awo mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri.

Ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga mu kyalo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu eyawasa omukazi mu Besirekemu mu Yuda. 2Naye mukazi we oyo n’ataba mwesigwa n’anoba ku bba, n’addayo mu nnyumba ya kitaawe e Besirekemu mu Yuda n’amalayo emyezi ena. 3Bba n’agolokoka n’agenda n’omuweereza we n’endogoyi bbiri okwogera ne mukazi we amukomyewo. Omukazi n’amutwala mu nnyumba ya kitaawe era kitaawe w’omuwala bwe yamulaba n’asanyuka era n’amwaniriza. 419:4 Kuv 32:6Awo mukoddomi we, kitaawe w’omuwala n’amuwaliriza asigaleyo ennaku ssatu. Ne balya ne banywa ne basula eyo.

519:5 nny 8; Lub 18:5Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka mu makya, Omuleevi ne yeeteekateeka okugenda. Kyokka kitaawe w’omuwala n’agamba mukoddomi we nti, “Mwesanyuse mumale okulya ku mmere, mulyoke mugende.” 619:6 nny 9, 22; Bal 16:25Ne batuula ne balya era ne banywa bonna wamu. Kitaawe w’omuwala n’agamba omusajja nti, “Kaakano kkiriza osule, omutima gwo gusanyukeko.” 7Omusajja bwe yagolokoka okugenda, mukoddomi we n’amuwaliriza okusigala era n’asula ekiro ekyo. 8Ku lunaku olwokutaano, bwe yagolokoka mu makya okugenda, kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Weesanyuse kaakano. Ojjira weesanyusa okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Ne balya bonna wamu.

9Omusajja bwe yagolokoka okugenda ne mukazi we n’omugole we, mukoddomi we kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Laba, kaakano obudde buzibye. Sula obudde buyise. Sigala wano weesanyuse, onoogolokoka enkya n’oddayo ewuwo.” 1019:10 Lub 10:16; Yos 15:8; 1By 11:4-5Naye omusajja n’atakkiriza. N’asitula n’agenda ne mukazi we, n’endogoyi ze zombi nga zeetisse, ku luuyi olw’e Yebusi, ye Yerusaalemi.

1119:11 Yos 3:10Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, n’obudde nga buyise, omuweereza n’agamba mukama we nti, “Jjangu tukyame tuyingire mu kibuga kino eky’Abayebusi tusule omwo.” 12Mukama we n’amuddamu nti, “Tetuukyame kuyingira mu kibuga ky’abatali baana ba Isirayiri, eky’abannaggwanga. Tujja kweyongerayo tulage e Gibea.” 1319:13 Yos 18:25N’agamba omuweereza we nti, “Tusemberere ekimu ku bifo ebyo, tusule e Gibea oba mu Laama.” 1419:14 1Sa 10:26; Is 10:29Ne beeyongerayo. Enjuba n’egwa nga basemberera Gibea ekya Benyamini. 1519:15 Lub 19:2Ne bakyama eyo mu Gibea, gye baba basula. Ne balaga mu kifo ekigazi eky’ekibuga ne batuula eyo, kyokka ne wataba muntu n’omu eyajja okubatwala ewuwe.

1619:16 a Zab 104:23 b nny 1Era laba, ne wajja omusajja omukadde eyali ava ku mirimu gye egy’omu nnimiro akawungeezi, ng’asibuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’abeera mu Gibea. Abantu b’e Gibea baayitibwanga Babenyamini. 1719:17 Lub 29:4N’ayimusa amaaso ge n’alaba omusajja omutambuze, ng’ali mu kifo ekigazi eky’ekibuga. Omusajja n’amubuuza nti, “Ova wa era olaga wa?” 1819:18 Bal 18:31N’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemu mu Yuda, ndaga mu byalo eby’ensi ey’ensozi eya Efulayimu gye mbeera. Nva mu Besirekemu mu Yuda, nzirayo mu nnyumba ya Mukama, naye tewali anyannirizza mu nnyumba ye.” 1919:19 a Lub 24:25 b Lub 14:18Wabula nnina essubi n’emmere ey’endogoyi zange, ate naffe abaweereza bo tulina emmere ne wayini ebitumala nze, n’omuweereza wo omukazi, n’omuvubuka.

20Omusajja omukadde n’abagamba nti, “Mbanirizza ewange mwenna. Temwetaaga kusula mu kifo ekigazi eky’ekibuga.” 2119:21 Lub 24:32-33; Luk 7:44Awo n’abatwala mu nnyumba ye, n’aliisa endogoyi ze, ne banaaba ku bigere19:21 Okunaaza ebigere by’omugenyi kyali kikolwa kya kwaniriza, kubanga abantu mu bitundu ebyo baatambuliranga mu sapatu mu nguudo ezirimu enfuufu., ne balya, ne banywa.

2219:22 a Bal 16:25 b Ma 13:13 c Lub 19:4-5; Bal 20:5; Bar 1:26-27Awo bwe baali nga beesanyusaamu, laba, abasajja ab’omu kibuga ekyo, abaana ab’obutali butuukirivu ne bazingiza ennyumba nga bwe bakoona oluggi. Ne bagamba nannyini nnyumba, omusajja omukadde nga bwe bawowoggana nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, tumusiyage.”

2319:23 a Lub 19:6 b Lub 34:7; Lv 19:29; Ma 22:21; Bal 20:6; 2Sa 13:12; Bar 1:27Nannyini nnyumba n’afuluma, n’abagamba nti, “Nedda mikwano gyange, temubeera bagwenyufu. Olw’okuba ng’omusajja ono azze mu nnyumba yange, temukola kintu kya buswavu bwe kityo. 2419:24 Lub 19:8; Ma 21:14Mulaba muwala wange wuuno, mbeerera, ate n’omukazi w’omusajja naye nzija kubamuwa. Baabo mubakole kye mwagala. Naye omusajja ono temumukola kintu kya buswavu bwe kityo.”

2519:25 1Sa 31:4Naye abasajja ne bagaana okumuwuliriza. Omusajja kyeyava addira mukazi we, n’amufulumya, ne bamukwata ne bamusobyako ekiro kyonna, ne bamuta agende ng’emmambya esala. 26Omukazi n’addayo n’atuuka obudde nga bukya, n’agwa ku luggi lw’ennyumba, mukama we gye yali asuze, n’abeera awo okutuusa obudde bwe bwakya.

27Mukama we bwe yagolokoka mu makya, n’aggulawo enzigi z’ennyumba ye n’afuluma agende ku lugendo lwe, laba, mukazi we ng’agudde mu maaso g’ennyumba, ng’emikono gye gikunukkiriza omulyango. 28N’agamba mukazi we nti, “Golokoka tugende.” Kyokka ne wataba kanyego. Omusajja n’amuteeka ku ndogoyi, n’agenda ewuwe.

2919:29 a Lub 22:6 b Bal 20:6; 1Sa 11:7Bwe yatuuka ewuwe, n’addira akambe, n’akwata mukazi we, n’amusalaasalamu ebifi kkumi na bibiri, n’abiweereza mu buli kitundu ekya Isirayiri. 3019:30 a Kos 9:9 b Bal 20:7; Nge 13:10Awo buli muntu eyabirabangako n’agamba nti, “Ekikolwa ekiri nga kino tekikolebwanga so tekirabibwanga okuva ku lunaku abaana ba Isirayiri lwe baayambukirako okuva mu nsi y’e Misiri n’okutuusa leero. Mukirowoozeeko, mukifumiitirizeeko era tulabe eky’okukola.”