1 Crónicas 3 – OL & LCB

O Livro

1 Crónicas 3:1-24

A descendência de David

(2 Sm 3.2-5; 5.13-16; 1 Cr 14.4-7)

1São estes os filhos que naceram a David, quando estava a viver em Hebrom.

O filho mais velho do rei David foi Amnom, que lhe nasceu da sua mulher Ainoã, a jezreelita.

O segundo foi Daniel, cuja mãe foi Abigail, do Carmelo.

2O terceiro foi Absalão, filho de sua mulher Maacá, a qual era filha de Talmai, rei de Gesur.

O quarto, foi Adonias, filho de Hagite.

3O quinto, Sefatias, filho de Abital.

O sexto, Itreão, filho de sua mulher Egla.

4Estes seis nasceram-lhe em Hebrom, onde reinou sete anos e meio.

Depois foi viver para Jerusalém, que passou a ser a capital do reino, e onde permaneceu durante 33 anos. 5Em Jerusalém, a sua mulher Bate-Seba, filha de Amiel, deu à luz

Simeia, Sobabe, Natã e Salomão.

6David teve ainda mais outros nove filhos: Ibar, Elisama, Elifelete, 7Nogá, Nefegue, Jafia, 8Elisama, Eliada e Elifelete.

9Esta lista não inclui os filhos das suas concubinas. David teve também uma filha, Tamar.

10São estes os descendentes do rei Salomão:

Roboão,

Abias,

Asa,

Jeosafá,

11Jeorão,

Acazias,

Joás,

12Amazias,

Azarias,

Jotão,

13Acaz,

Ezequias,

Manassés,

14Amom,

Josias.

15Os filhos de Josias foram:

Joanã,

Joaquim,

Zedequias,

Salum.

16Os filhos de Joaquim:

Jeconias,

Zedequias.

17Estes são os filhos que nasceram ao rei Jeconias durante o tempo em que esteve sob prisão:

Sealtiel, 18Malquirão, Pedaías, Senazar, Jecamias, Hosama e Nedabias.

19-20Pedaías foi pai de

Zorobabel e de Simei.

Os filhos de Zorobabel foram:

Mesulão, Hananias, Hasubá, Oel, Berequias, Hasadias, Jusabe-Hesede, e uma filha: Selomite.

21Os filhos de Hananias foram Pelatias e Jesaías; o filho de Jesaías foi Refaías; o filho de Refaías foi Arnã; o filho de Arnã foi Obadias; o filho de Obadias foi Secanias.

22O filho de Secanias foi Semaías;

Semaías teve seis filhos, entre os quais: Hatus, Igal, Bariá, Nearias e Safate.

23Nearias teve três filhos:

Elioenai, Ezequias, Azricão.

24Elioenai teve sete filhos:

Hodavias, Eliasibe, Pelaías, Acube, Joanã, Delaías e Anani.

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 3:1-24

Ennyumba ya Dawudi

13:1 a 1By 14:3; 28:5 b Yos 15:56 c 1Sa 25:42Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni:

Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri;

owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;

23:2 1Bk 2:22owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli;

n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.

3Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali

n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.

43:4 a 2Sa 5:4; 1By 29:27 b 2Sa 2:11; 5:5Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.

Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu, 53:5 2Sa 11:3; 12:24era bano be baana be yazaalira eyo:

Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.

6N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti, 7ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 8ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.

93:9 a 2Sa 13:1 b 1By 14:4Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.

Olulyo lwa Sulemaani

103:10 a 1Bk 11:43; 14:21-31; 2By 12:16 b 2By 17:1–21:3Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,

ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu,

ne Asa nga ye mutabani wa Abiya,

ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,

113:11 a 2Bk 8:16-24; 2By 21:1 b 2By 22:1-10 c 2Bk 11:1–12:21ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati,

ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu,

ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,

123:12 a 2Bk 14:1-22; 2By 25:1-28 b Is 1:1; Kos 1:1; Mi 1:1Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,

ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,

ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.

133:13 a 2Bk 16:1-20; 2By 28:1; Is 7:1 b 2Bk 18:1–20:21; 2By 29:1; Yer 26:19 c 2By 33:1Akazi yali mutabani wa Yosamu,

ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,

ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.

143:14 a 2Bk 21:19-26; 2By 33:21; Zef 1:1 b 2By 34:1; Yer 1:2; 3:6; 25:3Amoni yali mutabani wa Manase,

ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.

153:15 a 2Bk 23:34 b Yer 37:1 c 2Bk 23:31Batabani ba Yosiya baali

Yokanaani omuggulanda,

ne Yekoyakimu ye yali owookubiri,

ne Zeddekiya nga wa wakusatu,

ne Sallumu nga wakuna.

163:16 a 2Bk 24:6, 8; Mat 1:11 b 2Bk 24:18Batabani ba Yekoyakimu baali

Yekoniya

ne Zeddekiya.

Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse

173:17 Ezr 3:2Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba:

Seyalutyeri mutabani we, 183:18 a Ezr 1:8; 5:14 b Yer 22:30ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.

193:19 Ezr 2:2; 3:2; 5:2; Nek 7:7; 12:1; Kag 1:1; 2:2; Zek 4:6Batabani ba Pedaya baali

Zerubbaberi ne Simeeyi.

Batabani ba Zerubbaberi baali

Mesullamu ne Kananiya,

ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe. 20N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.

21Batabani ba Kananiya baali

Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.

223:22 Ezr 8:2-3Ab’olulyo lwa Sekaniya baali

Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.

23Batabani ba Neyaliya baali

Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.

24Batabani ba Eriwenayi baali

Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.