Job 25 – NVI & LCB

Nueva Versión Internacional

Job 25:1-6

Tercer discurso de Bildad

1A esto respondió Bildad de Súah:

2«Dios es poderoso e infunde temor;

él pone orden en las alturas de los cielos.

3¿Pueden contarse acaso sus ejércitos?

¿Sobre quién no alumbra su luz?

4¿Cómo puede una persona declararse justo ante Dios?

¿Cómo puede alegar pureza quien ha nacido de mujer?

5Si a sus ojos no tiene brillo la luna,

ni son puras las estrellas,

6mucho menos el hombre, simple gusano;

¡mucho menos el hombre, miserable lombriz!».

Luganda Contemporary Bible

Yobu 25:1-6

Birudaadi Addamu

1Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

225:2 Yob 9:4; Kub 1:6“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;

ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.

325:3 Yak 1:17Amaggye ge gasobola okubalibwa?

Ani atayakirwa musana gwe?

425:4 Yob 4:17; 14:4Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?

Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?

525:5 a Yob 31:26 b Yob 15:15Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,

n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.

625:6 a Yob 7:17 b Zab 22:6Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,

omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”