Иов 37 – NRT & LCB

New Russian Translation

Иов 37:1-24

1От этого сердце мое трепещет

и бросается с места прочь.

2Слушайте! Слушайте гром Его голоса

и грохот из уст Его!

3По всему поднебесью посылает Он молнии,

посылает их до краев земли.

4Голос Его рокочет вослед,

гласом величия Он гремит

и не сдерживает зарниц,

когда голос Его услышан.

5Дивно грохочет Бог Своим голосом,

Он творит великое – не постичь нам.

6Говорит Он снегу: «Пади на землю»,

дождю и ливню: «Лейте сильнее!»

7Он прекращает труды каждого человека,

чтобы все люди знали дело Его37:7 Смысл этого стиха в еврейском тексте неясен..

8И уходят звери в свои убежища

и в берлогах своих лежат.

9Из Его покоев приходит вихрь,

и северный ветер приносит стужу.

10Дыханием Божьим творится лед

и твердеют вольные воды.

11Наполняет Он тучи влагой

и молнии мечет из облаков.

12Кружат они по воле Его

над лицом всей земли,

совершая, что Он повелит.

13То приходят, как бич, покарать людей,

то, даруя им милость, насыщают землю.

14Выслушай это, Иов;

подумай, как чудны Божьи дела.

15Знаешь ли ты, как управляет тучами Бог,

как блестит зарницей из облака Своего?

16Знаешь ли ты, как уравновешены облака,

знаешь ли чудеса Того, Кто познанием совершенен?

17О ты, кому жарко в своей одежде,

когда замолкнет земля перед южным ветром,

18ты ли вместе с Ним распростер небеса,

твердые, словно литое зеркало?

19Научи нас, что нам Ему сказать,

мы не в силах найти слова из-за тьмы.

20Сообщить ли Ему, что хочу с Ним говорить?

Но кто себе желает смерти?

21Никто не может взглянуть на солнце,

когда оно блестит в небесах,

после того, как расчистит их ветер.

22С севера грядет блеск золотой;

Бог приближается в страшном великолепии.

23Всемогущий – мы не можем Его постичь,

силой и правдой Он велик,

праведностью богат, никого не угнетает.

24Поэтому люди боятся Его,

разве не боятся Его все мудрые сердцем?37:24 Или: «разве не смотрят на Него все, кто сердцем мудр?»; или: «Поэтому – бойтесь Его, люди, не посмотрит Он на всю (вашу) мудрость!»

Luganda Contemporary Bible

Yobu 37:1-24

1“Kino kikankanya omutima gwange,

ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.

237:2 Zab 29:3-9Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,

n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.

3Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,

n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.

4Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,

abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,

era eddoboozi lye bwe liwulirwa,

tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.

537:5 Yob 5:9Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;

akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.

637:6 a Yob 38:22 b Yob 36:27Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’

ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’

737:7 Yob 12:14Emirimu gya buli muntu giyimirira,

buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.

837:8 Yob 38:40; Zab 104:22Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,

ne zigenda zeekukuma.

9Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,

n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.

1037:10 Yob 38:29-30; Zab 147:17Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda

n’amazzi amangi ne gekwata kitole.

1137:11 Yob 36:27, 29Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,

n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.

1237:12 Zab 148:8Byetooloolatooloola nga y’abiragira,

ne bituukiriza byonna by’abiragira,

ku nsi yonna okubeera abantu.

1337:13 a 1Sa 12:17 b Kuv 9:18; 1Bk 18:45; Yob 38:27Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi

oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.

14“Wuliriza kino Yobu;

sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.

15Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,

n’aleetera eggulu okumyansa?

1637:16 Yob 36:4Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,

amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?

17Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,

ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,

1837:18 Yob 9:8; Zab 104:2; Is 44:24oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,

eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?

19“Tubuulire kye tunaamugamba;

tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.

20Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?

Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?

21Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,

olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,

ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.

22Mu bukiikakkono evaayo zaabu;

Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.

2337:23 a Yob 9:4; 36:4; 1Ti 6:16 b Yob 8:3 c Is 63:9; Ez 18:23, 32Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,

mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.

2437:24 a Mat 10:28 b Mat 11:25Noolwekyo abantu bamutya,

takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”