Иеремия 50 – NRT & LCB

New Russian Translation

Иеремия 50:1-46

Пророчество о Вавилоне

1Слово, которое Господь сказал через пророка Иеремию о Вавилоне и земле халдеев:

2– Объявите и возвестите среди народов,

поднимите знамя и возвестите,

не скрывайте, скажите:

«Вавилон будет взят;

опозорится Бел,

Меродах50:2 Бел и Меродах – имена вавилонского бога, которые переводятся как «господин». будет полон страха.

Будут опозорены его истуканы,

и наполнятся его идолы страхом».

3Двинется на него народ с севера

и опустошит его землю.

Никто не будет на ней жить:

разбегутся и люди, и звери.

4В те дни, в то время, –

возвещает Господь, –

народ Израиля вместе с народом Иудеи

пойдут, рыдая, искать Господа, своего Бога.

5Они будут расспрашивать о дороге к Сиону,

обратив к нему лица.

Они придут и соединятся

с Господом заветом вечным,

который не будет забыт никогда.

6Мой народ был как пропавшие овцы;

пастухи сбили их с пути

и позволили разбежаться по горам;

они бродили по горам и холмам

и забыли свое пристанище.

7Каждый, кто ни находил, пожирал их;

их враги говорили: «На нас нет вины,

ведь они согрешили против Господа,

истинного пастбища их,

против Господа, надежды их отцов».

8Бегите из Вавилона,

оставьте землю халдеев

и будьте как козлы,

что идут впереди отары.

9Я подниму и пошлю на Вавилон

собрание великих народов из северных земель.

Они встанут против него боевым строем

и захватят его с севера.

Стрелы их врагов как искусные воины,

что без добычи не возвращаются.

10Так земля халдеев будет разграблена;

все, кто придут ее грабить, насытятся вдоволь, –

возвещает Господь. –

11За то, что вы радовались и ликовали,

расхитители Моего наследия,

за то, что резвились, как телица на траве,

и ржали, как жеребцы,

12опозорена будет ваша мать,

обесславлена будет родившая вас.

Среди народов будет она меньшей:

пустыней, иссохшей землей, голой степью.

13Из-за гнева Господнего она не заселится,

и придет целиком в запустение.

Все, проходящие мимо Вавилона,

ужаснутся и поиздеваются

над всеми его ранами.

14Становитесь в строй вокруг Вавилона,

все, натягивающие луки.

Стреляйте в него! Не жалейте стрел,

потому что он согрешил против Господа.

15Со всех сторон поднимите на него крик.

Он сдается, его укрепления пали,

его стены разрушены!

Это Господня месть!

Отомстите Вавилону!

Как он поступал с другими,

так и вы поступите с ним.

16Истребите в Вавилоне сеятеля

и жнеца с серпом в пору жатвы.

Из-за страха перед мечом притеснителя

пусть каждый вернется к своему народу,

пусть каждый бежит в свою землю.

17Израиль – рассеявшаяся отара,

которую разогнали львы.

Первым, кто пожирал его,

был царь Ассирии,

а этот последний, разгрызший его кости, –

Навуходоносор, царь Вавилона.

18Поэтому так говорит Господь Сил, Бог Израиля:

– Я накажу царя Вавилона и его страну

так же, как Я наказал царя Ассирии.

19А Израиль Я верну на его пастбище,

и он будет пастись на Кармиле и в Башане;

он утолит свой голод на холмах

Ефрема и Галаада50:19 Кармил, Башан, холмы Ефрема и Галаад – эти районы отличались плодородием..

20В те дни, в то время, –

возвещает Господь, –

будут искать за Израилем вину,

но ее не окажется,

будут искать грехи за Иудой,

но ничего не найдут,

потому что Я прощу тех,

кого оставлю в живых.

21Нападайте на землю Мератаим50:21 Мератаим («Двойной Бунт») – это вероятно название земли на юге Вавилона.

и на тех, кто живет в Пекоде50:21 Пекод («Наказание») – область к востоку от Тигра. Здесь используется игра слов: значения этих названий символизируют весь Вавилон и его судьбу..

Убивайте, истребляйте их до последнего50:21 На языке оригинала стоит слово, которое говорит о полном посвящении предметов или людей Господу, часто осуществлявшемся через их уничтожение. То же в ст. 26; 51:3., –

возвещает Господь. –

Исполните все, что Я повелел вам.

22Шум битвы слышен в стране,

шум лютой гибели!

23Как расколот и сокрушен

молот вселенной!

Каким ужасом стал Вавилон

среди народов!

24Я расставил тебе западню, Вавилон,

и ты попался, прежде чем это заметил.

Ты был найден и схвачен за то,

что был против Господа.

25Господь отворил Свое хранилище

и взял оружие Своего гнева,

так как Владыка, Господь Сил,

желает завершить Свои замыслы

в земле халдеев.

26Идите же против него отовсюду.

Открывайте его амбары;

собирайте в кучу все, что найдете,

и уничтожьте полностью,

не оставляйте ничего!

27Убивайте его воинов;

пусть шагают, как волы, на бойню!

Горе им! Настал их день,

пришло время расплаты!

28– Слышите! Беженцы и уцелевшие из Вавилона

идут рассказать на Сионе

как Господь, наш Бог, отомстил за Свой храм.

29– Призовите стрелков на Вавилон,

всех, кто натягивает лук.

Все встаньте лагерем вокруг него,

чтобы никто не спасся.

Воздайте ему за его дела;

поступите с ним так, как поступал он с вами.

Ведь он бросил вызов Господу,

Святому Израиля.

30За это его юноши падут на улицах,

все его воины умолкнут в тот день, –

возвещает Господь. –

31Я против тебя, гордец, –

возвещает Владыка, Господь Сил, –

так как день твой настал,

время твоей кары пришло.

32Гордец споткнется и упадет,

и никто его не поднимет;

Я зажгу огонь в его городах,

и он пожрет все, что вокруг него.

33Так говорит Господь Сил:

– Народ Израиля угнетен,

как и народ Иудеи.

Все взявшие их в плен крепко держат их,

отказываясь отпустить.

34Но их Искупитель могуч;

Его имя – Господь Сил.

Он обязательно вступится за Свой народ,

чтобы дать покой их земле

и тревогу – жителям Вавилона.

35Меч поразит халдеев, –

возвещает Господь, –

жителей вавилонских,

его вождей и мудрецов!

36Меч поразит его лжепророков –

они обезумеют.

Меч поразит его воинов –

они задрожат от страха.

37Меч поразит его коней и колесницы,

и всех иноземцев в его войсках –

станут они трусливы, как женщины.

Меч поразит его сокровища:

они будут разграблены.

38Поразит засуха его воды –

они пересохнут.

Ведь это – земля истуканов,

где сошли с ума от чудовищ-идолов.

39Поэтому поселятся в Вавилоне

звери пустыни и гиены,

и будут в нем жить совы.

Впредь не заселится он никогда

и будет необитаем из поколения в поколение.

40Как Бог низверг Содом и Гоморру

с их окрестными городами50:40 См. Быт. 18:20–19:29., –

возвещает Господь, –

так никто не будет жить и там,

ни один человек не поселится.

41Вот, движется войско с севера;

великий народ и множество царей

поднимаются с краев земли.

42Их оружие – лук и копье;

они свирепы и не знают пощады.

Шум от них – как рев моря,

когда они скачут на конях.

В боевом строю идут воины

против тебя, дочь Вавилона.

43Царь Вавилона услышал весть о них,

и руки его опустились.

Пронзила его боль,

охватили муки, как женщину в родах.

44– Словно лев, который выходит

из иорданской чащи

на роскошные пастбища,

Я во мгновение ока

изгоню жителей Вавилона из их земель

и поставлю над ними того, кого изберу.

Кто подобен Мне? Кто спросит с Меня?

Какой правитель может противостоять Мне?

45Слушайте же замысел Господа о Вавилоне

и намерения, которые Он задумал

о земле халдеев:

молодняк отар будет угнан прочь,

и погубит Он их пастбища.

46От шума взятия Вавилона вздрогнет земля;

его крик будет слышен среди народов.

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 50:1-46

Obubaka ku Babulooni

150:1 Lub 10:10; Is 13:1Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.

250:2 a Yer 4:16 b Yer 51:31 c Is 46:1 d Yer 51:47“Buulira mu mawanga era olangirire,

yimusa bendera olangirire,

tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,

‘Babulooni eriwambibwa;

Beri kiswale,

ne Meroddaaki kijjule entiisa.

Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala

era bitye.’

350:3 a nny 13; Is 14:22-23 b Zef 1:3Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba

lyonoone ensi y’Abakaludaaya.

Tewali muntu alisigalamu;

abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.

450:4 a Yer 3:18; Kos 1:11 b Ezr 3:12; Yer 31:9 c Kos 3:5“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”

bw’ayogera Mukama,

“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda

balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.

550:5 a Yer 33:7 b Is 55:3; Yer 32:40; Beb 8:6-10Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni

era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,

Mujje twesibe ku Mukama Katonda

mu ndagaano ey’emirembe gyonna

etegenda kwerabirwa.

650:6 a Is 53:6; Mat 9:36; 10:6 b Yer 3:6; Ez 34:6 c nny 19“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;

abasumba baabwe babawabizza

ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.

Baava ku lusozi ne badda ku kasozi

ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.

750:7 a Yer 2:3 b Yer 14:8Buli eyabasanganga nga abatulugunya;

abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,

kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,

ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’ 

850:8 Is 48:20; Yer 51:6; Kub 18:4“Mudduke okuva e Babulooni;

muleke ensi y’Abakaludaaya,

mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.

9Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene

okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.

Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,

bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.

Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,

abataddira awo ngalo nsa.

10Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;

abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

1150:11 Is 47:6“Kubanga musanyuka ne mujaguza,

mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,

kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,

ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,

12nnyammwe alikwatibwa ensonyi;

oyo eyakuzaala aliswazibwa.

Aliba ensi esemberayo ddala,

ensiko, ensi enkalu, eddungu.

1350:13 a Yer 18:16 b Yer 49:17Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,

naye alisigala matongo.

Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze

olw’ebiwundu bye byonna.

1450:14 nny 29, 42“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,

mwenna abanaanuula omutego.

Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,

kubanga yajeemera Mukama Katonda.

1550:15 a Yer 51:14 b Yer 51:44, 58 c Yer 51:6 d Zab 137:8; Kub 18:6Mumukube olube ku buli ludda.

Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,

n’ebisenge bye bimenyeddwa.

Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,

mumwesasuzeeko;

mumukole nga bw’akoze abalala.

1650:16 a Yer 25:38 b Is 13:14 c Yer 51:9Asiga mumuggye mu Babulooni,

n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.

Olw’ekitala ky’omujoozi,

leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,

buli muntu adde eri abantu be.

1750:17 a Yer 2:15 b 2Bk 17:6 c 2Bk 24:10, 14 d 2Bk 25:7“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,

empologoma kye zigobye.

Eyasooka okumulya

yali kabaka wa Bwasuli;

eyasembayo okumenya amagumba ge

yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”

1850:18 a Is 10:12 b Ez 31:3Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye

nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.

1950:19 a Yer 31:10; Ez 34:13 b Yer 31:5; 33:12Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye

era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;

alikuttira

ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.

2050:20 a Mi 7:18, 19 b Yer 31:34 c Is 1:9Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.

2150:21 Ez 23:23“Mulumbe ensi ye Merasayimu

n’abo abali mu Pekodi.

Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

“Mukole byonna bye mbalagidde.

2250:22 Yer 4:19-21; 51:54Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,

eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!

2350:23 Is 14:16Ennyondo y’ensi yonna

ng’ekubiddwa n’emenyeka!

Babulooni kifuuse matongo

mu mawanga!

2450:24 a Dan 5:30-31 b Yer 51:31 c Yob 9:4Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,

babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,

baakukwata ne bakuwamba

kubanga wawakanya Mukama.

2550:25 a Is 13:5 b Yer 51:25, 55Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye

naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,

kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola

mu nsi y’Abakaludaaya.

2650:26 Is 14:22-23Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,

mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,

mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.

Mumuzikiririze ddala;

waleme kusigalawo n’omu ku bo.

27Mutte ennume zaabwe zonna,

muzitwale zittibwe.

Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,

kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.

2850:28 a Is 48:20; Yer 51:10 b nny 15Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni

nga balangirira mu Sayuuni

engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,

gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.

2950:29 a nny 14 b Kub 18:6 c Yer 51:56 d Is 47:10“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,

ne bonna abanaanuula omutego.

Mumwetooloole yenna;

tewaba n’omu awona.

Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;

mumukole nga bwe yakola banne.

Kubanga yanyooma Mukama,

Omutukuvu wa Isirayiri.

3050:30 Is 13:18; Yer 49:26Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;

abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

3150:31 Yer 21:13“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”

bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,

“Kubanga olunaku lwo lutuuse,

ekiseera ky’on’obonerezebwamu.

3250:32 Yer 21:14; 49:27Oyo ow’amalala alyesittala agwe

era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;

Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye

oguliyokya bonna abamwetoolodde.”

3350:33 a Is 58:6 b Is 14:17Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa

awamu n’abantu ba Yuda;

Bonna ababawambye babanywezezza,

bagaanye okubata.

3450:34 a Yer 51:19 b Yer 15:21; 51:36 c Is 14:7Omununuzi waabwe w’amaanyi,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,

alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;

wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.

3550:35 a Yer 47:6 b Dan 5:7“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”

bw’ayogera Mukama,

“n’eri abo ababeera mu Babulooni,

n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!

3650:36 Yer 49:22Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!

Balifuuka balisiriwala,

ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.

Balijjula entiisa.

3750:37 a Yer 51:21 b Yer 51:30; Nak 3:13Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali

n’abagwira bonna abamubeeramu!

Balifuuka banafu ng’abakazi.

Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!

Birinyagibwa!

3850:38 a Yer 51:36 b nny 2Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!

Galikalira.

Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,

ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.

3950:39 Is 13:19-22; 34:13-15; Yer 51:37; Kub 18:2“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,

era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.

Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu

wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.

4050:40 Lub 19:24Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola

n’ebibuga ebiriraanyeewo,”

bw’ayogera Mukama,

“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;

tewaliba n’omu alikisigalamu.

4150:41 a Yer 6:22 b Is 13:4; Yer 51:22-28“Laba, eggye liva mu bukiikakkono;

ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,

bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.

4250:42 a nny 14 b Is 13:18 c Is 5:30 d Yer 6:23Balina obusaale n’amafumu,

bakambwe si ba kisa.

Beebagadde embalaasi zaabwe

ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;

bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo

okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.

43Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,

n’emikono gye girebedde.

Entiisa emugwiridde,

ng’omukazi alumwa okuzaala.

4450:44 a Kbl 16:5 b Yob 41:10; Is 46:9; Yer 49:19Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani

okugenda mu ddundiro eggimu,

Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.

Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?

Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?

Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”

4550:45 Zab 33:11; Is 14:24; Yer 51:11Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,

ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.

Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,

alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.

4650:46 Kub 18:9-10Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;

okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.