Деяния 23 – NRT & LCB

New Russian Translation

Деяния 23:1-35

1Павел посмотрел на членов Высшего Совета и сказал:

– Братья, вплоть до сегодняшнего дня я жил с чистой совестью перед Богом.

2Тут первосвященник Анания23:2 Анания – был первосвященником с 47 по 59 гг. приказал стоявшим рядом с Павлом ударить его по губам. 3Павел тогда сказал:

– Бог ударит тебя, стена ты подбеленная! Ты сидишь здесь, чтобы судить меня по Закону, а сам нарушаешь Закон, приказывая бить меня!

4Те, кто стоял рядом с Павлом, сказали ему:

– Как ты смеешь оскорблять Божьего первосвященника?

5Павел ответил:

– Братья, я не знал, что он первосвященник, ведь Писание говорит: «Не говори плохо о вожде твоего народа»23:5 См. Исх. 22:28..

6Павел знал, что одни из них были саддукеями, а другие – фарисеями, поэтому он громко сказал членам Высшего Совета:

– Братья, я фарисей, сын фарисея, и меня судят за надежду на воскресение мертвых.

7Когда он это сказал, между фарисеями и саддукеями разгорелся спор, и собрание разделилось, 8потому что саддукеи говорят, что нет ни воскресения, ни ангелов, ни духов. Фарисеи же во все это верят. 9Поднялся громкий крик, некоторые учители Закона из фарисеев встали и решительно заявили:

– Мы не находим в этом человеке ничего плохого. Что, если ему говорил дух или ангел?

10Спор разгорелся настолько, что командир римского полка, опасаясь, как бы Павла не разорвали на части, приказал солдатам забрать его от них силой и увести в казарму.

11Следующей ночью перед Павлом предстал Господь и сказал:

– Не бойся! Как ты свидетельствовал обо Мне в Иерусалиме, так будешь свидетельствовать и в Риме.

Заговор против Павла

12Наутро некоторые иудеи собрались и поклялись ничего не есть и не пить до тех пор, пока не убьют Павла. 13В заговоре участвовало более сорока человек. 14Они пошли к первосвященникам и старейшинам и сказали:

– Мы поклялись ничего не есть, пока не убьем Павла. 15Итак, вы и Высший Совет попросите командира римского полка привести его к вам якобы для того, чтобы поближе познакомиться с его делом. А мы будем наготове и убьем его еще до того, как он дойдет до этого места.

16Об этом заговоре узнал племянник Павла, сын его сестры. Он пошел в казарму и рассказал об этом Павлу. 17Тогда Павел подозвал одного из сотников и сказал ему:

– Отведите этого юношу к командиру, у него есть что-то важное сказать ему.

18Сотник отвел юношу к командиру и доложил:

– Заключенный Павел позвал меня и попросил привести этого юношу к тебе. У него есть что-то важное сказать тебе.

19Командир взял юношу за руку, отвел его в сторону и спросил:

– Что ты хочешь мне сообщить?

20Юноша сказал:

– Иудеи решили просить тебя привести завтра Павла в Высший Совет якобы для того, чтобы подробнее узнать о нем. 21Но ты этому не верь, потому что в засаде его поджидают более сорока человек. Они поклялись не есть и не пить, пока не убьют его. Они стоят наготове и только ждут твоего согласия исполнить их просьбу.

22Командир полка отпустил юношу, дав ему наказ:

– Никому не говори о том, что ты только что мне рассказал.

Павел отправлен в Кесарию

23Затем командир вызвал двух сотников и приказал им:

– Подготовьте двести солдат, семьдесят всадников и двести копьеносцев для выхода в Кесарию через три часа после того, как стемнеет. 24Приготовьте Павлу коня и смотрите, чтобы Павел был в безопасности доставлен к наместнику Феликсу.

25И он написал такое письмо:

26«От Клавдия Лисия

достопочтенному Феликсу, наместнику Рима.

Приветствую тебя.

27Этот человек был схвачен иудеями, и они собирались уже убить его, но я подоспел с воинами и спас его, так как узнал, что он римский гражданин. 28Желая узнать, в чем они его обвиняют, я привел его в их Высший Совет. 29Я понял, что обвинение связано со спорными вопросами их Закона и что он не виновен ни в чем, заслуживающем смерти или заключения в темницу. 30Мне также стало известно, что против него составлен заговор, и я сразу же отослал его к тебе, велев обвинителям представить тебе обвинения против него».

31Солдаты, выполняя приказ, взяли Павла и повели его ночью в Антипатриду. 32На следующий день они отправили его с всадниками дальше, а сами возвратились в казарму. 33Когда всадники прибыли в Кесарию, они отдали наместнику письмо и передали ему Павла. 34Наместник прочитал письмо и спросил Павла, из какой он провинции. Узнав, что Павел из Киликии, 35он сказал:

– Я выслушаю тебя, когда сюда придут твои обвинители, – и приказал содержать Павла под стражей во дворце Ирода23:35 В построенном Иродом Великим (73–4 гг. до н. э.) дворце имелось темничное помещение..

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 23:1-35

123:1 a Bik 22:30 b Bik 22:5 c Bik 24:16; 1Ko 4:4; 2Ko 1:12; 2Ti 1:3; Beb 13:18Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” 223:2 a Bik 24:1 b Yk 18:22Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. 323:3 a Mat 23:27 b Lv 19:15; Ma 25:1, 2; Yk 7:51Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”

4Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”

523:5 Kuv 22:28Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”

623:6 a Bik 22:5 b Bik 26:5; Baf 3:5 c Bik 24:15, 21; 26:8Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” 7Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, 823:8 Mat 22:23kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.

923:9 a Mak 2:16 b nny 29; Bik 25:25; 26:31 c Bik 22:7, 17, 18Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 1023:10 Bik 21:34Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.

1123:11 a Bik 18:9 b Bik 19:21; 28:23Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”

Olukwe Okutta Pawulo

1223:12 nny 14, 21, 30; Bik 25:3Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! 13Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. 1423:14 nny 12Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. 1523:15 nny 1; Bik 22:30Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”

1623:16 nny 10; Bik 21:34Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.

17Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 1823:18 Bef 3:1Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”

19Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”

2023:20 a nny 1 b nny 14, 15Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 2123:21 a nny 13 b nny 12, 14Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”

22Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”

Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya

2323:23 a Bik 8:40 b nny 33Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 2423:24 nny 26, 33; Bik 24:1-3, 10; 25:14Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”

25Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:

2623:26 a Luk 1:3; Bik 24:3; 26:25 b Bik 15:23Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.

2723:27 a Bik 21:32 b Bik 21:33 c Bik 22:25-29Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 2823:28 Bik 22:30Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 2923:29 a Bik 18:15; 25:19 b nny 9; Bik 26:31Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 3023:30 a nny 20, 21 b Bik 20:3 c Bik 20:35; 24:19; 25:16Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.

31Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 3223:32 a nny 23 b Bik 21:34Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 3323:33 a nny 23, 24 b Bik 8:40 c Bik 8:26Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 3423:34 Bik 6:9; 21:39Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 3523:35 a nny 30; Bik 24:19; 25:16 b Bik 24:27Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.