2 Kings 24 – NIVUK & LCB

New International Version – UK

2 Kings 24:1-20

1During Jehoiakim’s reign, Nebuchadnezzar king of Babylon invaded the land, and Jehoiakim became his vassal for three years. But then he turned against Nebuchadnezzar and rebelled. 2The Lord sent Babylonian,24:2 Or Chaldean Aramean, Moabite and Ammonite raiders against him to destroy Judah, in accordance with the word of the Lord proclaimed by his servants the prophets. 3Surely these things happened to Judah according to the Lord’s command, in order to remove them from his presence because of the sins of Manasseh and all he had done, 4including the shedding of innocent blood. For he had filled Jerusalem with innocent blood, and the Lord was not willing to forgive.

5As for the other events of Jehoiakim’s reign, and all he did, are they not written in the book of the annals of the kings of Judah? 6Jehoiakim rested with his ancestors. And Jehoiachin his son succeeded him as king.

7The king of Egypt did not march out from his own country again, because the king of Babylon had taken all his territory, from the Wadi of Egypt to the River Euphrates.

Jehoiachin king of Judah

8Jehoiachin was eighteen years old when he became king, and he reigned in Jerusalem for three months. His mother’s name was Nehushta daughter of Elnathan; she was from Jerusalem. 9He did evil in the eyes of the Lord, just as his father had done.

10At that time the officers of Nebuchadnezzar king of Babylon advanced on Jerusalem and laid siege to it, 11and Nebuchadnezzar himself came up to the city while his officers were besieging it. 12Jehoiachin king of Judah, his mother, his attendants, his nobles and his officials all surrendered to him.

In the eighth year of the reign of the king of Babylon, he took Jehoiachin prisoner. 13As the Lord had declared, Nebuchadnezzar removed the treasures from the temple of the Lord and from the royal palace, and cut up the gold articles that Solomon king of Israel had made for the temple of the Lord. 14He carried all Jerusalem into exile: all the officers and fighting men, and all the skilled workers and artisans – a total of ten thousand. Only the poorest people of the land were left.

15Nebuchadnezzar took Jehoiachin captive to Babylon. He also took from Jerusalem to Babylon the king’s mother, his wives, his officials and the prominent people of the land. 16The king of Babylon also deported to Babylon the entire force of seven thousand fighting men, strong and fit for war, and a thousand skilled workers and artisans. 17He made Mattaniah, Jehoiachin’s uncle, king in his place and changed his name to Zedekiah.

Zedekiah king of Judah

18Zedekiah was twenty-one years old when he became king, and he reigned in Jerusalem for eleven years. His mother’s name was Hamutal daughter of Jeremiah; she was from Libnah. 19He did evil in the eyes of the Lord, just as Jehoiakim had done. 20It was because of the Lord’s anger that all this happened to Jerusalem and Judah, and in the end he thrust them from his presence.

The fall of Jerusalem

Now Zedekiah rebelled against the king of Babylon.

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 24:1-20

124:1 Yer 25:1, 9; Dan 1:1Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza. 224:2 a Yer 35:11 b Yer 25:9Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali. 324:3 a 2Bk 18:25 b 2Bk 21:12; 23:26Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola, 424:4 2Bk 21:16ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.

5Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 624:6 Yer 22:19Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka. 724:7 a Lub 15:18 b Yer 37:5-7; 46:2Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.

Yekoyakini Kabaka wa Yuda

824:8 1By 3:16Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. 9N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.

1024:10 Dan 1:1Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa. 11Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza. 1224:12 2Bk 25:27; Yer 22:24-30; 24:1; 25:1; 29:2; 52:28Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe. 1324:13 a 2Bk 20:17 b 2Bk 25:15; Is 39:6 c 2Bk 25:14; Yer 20:5 d 1Bk 7:51Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. 1424:14 a Yer 24:1; 52:28 b 2Bk 25:12; Yer 40:7; 52:16N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.

1524:15 a Yer 22:24-28 b Es 2:6; Ez 17:12-14Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi. 1624:16 Yer 52:28Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe. 1724:17 1By 3:15; 2By 36:11; Yer 37:1Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.

Zeddekiya, Kabaka wa Yuda

1824:18 a Yer 52:1 b 2Bk 23:31Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 19N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola. 2024:20 Ma 4:26; 29:27Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge.

Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.