ሕዝቅኤል 40 – NASV & LCB

New Amharic Standard Version

ሕዝቅኤል 40:1-49

አዲሱ ቤተ መቅደስ

1በተሰደድን በሃያ አምስተኛው ዓመት፣ በዓመቱ መጀመሪያ፣ በዐሥረኛው ቀን፣ ከተማዪቱ በወደቀች በዐሥራ አራተኛው ዓመት፣ በዚያው ዕለት የእግዚአብሔር እጅ በላዬ ነበር፤ እርሱም ወደዚያ ወሰደኝ። 2በእግዚአብሔር ራእይ ወደ እስራኤል ምድር አመጣኝ፤ ከፍ ባለ ተራራ ላይ አኖረኝ፤ ከተራራውም በስተ ደቡብ፣ ከተማ የሚመስሉ ሕንጻዎች ነበሩ። 3ወደዚያ ወሰደኝ፤ እነሆ መልኩ ናስ የሚመስል ሰው አየሁ፤ እርሱም የሐር ገመድና መለኪያ ዘንግ በእጁ ይዞ በመግቢያው በር ላይ ቆሞ ነበር። 4ሰውየውም እንዲህ አለኝ፤ “የሰው ልጅ ሆይ፤ በዐይንህ እይ፤ በጆሮህ ስማ፤ የማሳይህንም ሁሉ ልብ ብለህ አስተውል፤ ወደዚህ የመጣኸው ለዚህ ነውና ያየኸውንም ሁሉ ለእስራኤል ቤት ንገር።”

ወደ ውጩ አደባባይ የሚያወጣው የምሥራቅ በር

5የቤተ መቅደሱን ዙሪያ ሙሉ በሙሉ የከበበ ቅጥር አየሁ፤ በሰውየውም እጅ ርዝመቱ ስድስት ክንድ የሆነ መለኪያ ዘንግ አየሁ፤ እያንዳንዱ ክንድ፣ አንድ ክንድ ከስንዝር ነበር፤ እርሱም ቅጥሩን ለካው፤ ስፋቱ አንድ መለኪያ ዘንግ ሲሆን፣ ቁመቱም እንዲሁ አንድ መለኪያ ዘንግ ነበር።

6ከዚያም በምሥራቅ ትይዩ ወዳለው በር መጣ፤ ደረጃዎቹን ወጥቶ የበሩን መግቢያ መድረክ ለካ፤ ቁመቱም አንድ ዘንግ ነበር።40፥6 ከሰብዓ ሊቃናት ጋር ተመሳሳይ ሲሆን፣ ዕብራይስጡ ግን የመጀመሪያው ጕበን ርዝመቱ አንድ ዘንግ ነበር ይላል። 7የዘብ ጠባቂ ቤቶች፣ ቁመታቸው አንድ መለኪያ ዘንግ፣ ወርዳቸውም አንድ መለኪያ ዘንግ ነበር፤ በቤቶቹም መካከል ያሉት ግንቦች ውፍረት አምስት ክንድ ነበር። ከቤተ መቅደሱ ፊት ለፊት ባለው መተላለፊያ በረንዳ አጠገብ በውስጥ በኩል ያለው የበሩ መድረክ ወለል አንድ ዘንግ ነበር።

8ከዚያም የመግቢያውን በር መተላለፊያውን በረንዳ ለካ፤ 9ቁመቱ40፥8-9 በብዙ የዕብራይስጥ የጥንት ቅጆች በሰብዓ ሊቃናት፣ በቩልጌትና በሱርስቱም እንዲሁ ሲሆን፣ አብዛኛዎቹ የዕብራይስጥ የጥንት ቅጆች ግን በቤተ መቅደሱ ትይዩ ያለ፣ የመግቢያ በር ነው፤ አንድ ክንድ ነበር 9 ከዚያም የመግቢያ በሩን መተላለፊያ በረንዳ ለካው ይላሉ። ስምንት ክንድ፣ የዐምዶቹም ውፍረት ሁለት ክንድ ነበር። የመግቢያው በር መተላለፊያ በረንዳ፣ ከቤተ መቅደሱ ትይዩ ነው።

10በምሥራቁ በር ግራና ቀኝ መጠናቸው እኩል የሆነ ሦስት ሦስት የዘብ ቤቶች ነበሩ፤ በመካከላቸው ወጣ ወጣ ብለው የሚታዩትም ግንቦች ተመሳሳይና እኩል ነበሩ። 11ከዚያም የበሩን ስፋት ለካ፤ ወርዱ ዐሥር ክንድ፣ ርዝመቱም ዐሥራ ሦስት ክንድ ነበር። 12በእያንዳንዱ ዘብ ቤት ፊት ለፊት ከፍታው አንድ ክንድ የሆነ መከለያ የግንብ ዐጥር አለ፤ የዘብ ቤቶቹም ስፋት እኩል በኩል ስድስት ክንድ ነበር። 13ከዚያም ከዘብ ቤቱ የኋላ ግድግዳ ጀምሮ እስከ ሌላው ጫፍ ድረስ ያለውን የመግቢያ በር ለካ፤ ከአንዱ መከለያ ግድግዳ እስከ ሌላው መከለያ ግድግዳ ያለው ርቀት ሃያ አምስት ክንድ ነበር። 14በመግቢያው በር ዙሪያ ባሉት ወጣ ወጣ ባሉት ግንቦች ሁሉ ፊት ለፊት ያለውን ቦታ ለካ፤ ስድሳ ክንድም ነበር። የተለካውም ከአደባባዩ40፥14 ሰብዓ ሊቃናቱም እንዲሁ ሲሆን ዕብራይስጡ ግን ወጣ ያለ ግንብ ይለዋል። ፊት ለፊት እስካለው መተላለፊያ በረንዳ40፥14 በዕብራይስጥ የዚህ ቃል ትርጕም አይታወቅም። ድረስ ነበር። 15ከበሩ መግቢያ እስከ መተላለፊያ በረንዳው መጨረሻ ድረስ ያለው ርቀት አምሳ ክንድ ነበር። 16ክፍሎቹ እንደ መተላለፊያ በረንዳዎቹ ከግራና ከቀኝ በኩል ትንንሽ መስኮቶች አሏቸው። በዙሪያው ያሉ መስኮቶች በመግቢያው በር ፊት ለፊት የነበሩ ሲሆን፣ በእያንዳንዱ ክፍል ግራና ቀኝ ግድግዳ ላይ ደግሞ የዘንባባ ዛፍ ተቀርጾበታል።

የውጩ አደባባይ

17ከዚያም ወደ ውጩ አደባባይ አመጣኝ፤ እዚያም በአደባባዩ ዙሪያ የተሠሩ ክፍሎችና ድንጋይ የተነጠፈበት መመላለሻ አየሁ፤ በመመላለሻውም ዙሪያ ሠላሳ ክፍሎች ነበሩ። 18የታችኛው ንጣፍ ወለል ከመግቢያው በር ጋር ተያይዞ የተሠራ ሲሆን፣ ስፋቱ እንደ በሮቹ ርዝመት መጠን ነበር። 19ከዚያም ከታችኛው መግቢያ በር ፊት ጀምሮ እስከ ውስጠኛው አደባባይ ፊት ድረስ ያለውን ርቀት ለካ፤ በምሥራቅም ሆነ በሰሜን በኩል ያለው ርቀት አንድ መቶ ክንድ ነበር።

የሰሜኑ በር

20ከዚያም በሰሜን ትይዩ ያለውን፣ ወደ ውጩ አደባባይ የሚያመራውን በር ርዝመትና ወርድ ለካ። 21እንደ መጀመሪያው በር ሁሉ ይኸኛውም በየጐኑ ያሉት ሦስት ሦስት የዘብ ቤቶች፣ በየመካከሉ ወጣ ወጣ ያሉ ግንቦችና መተላለፊያ በረንዳዎቹ መጠናቸው እኩል ነበር። ርዝመቱ አምሳ ክንድ፣ ወርዱም ሃያ አምስት ክንድ ነበር። 22መስኮቶቹ፣ መተላለፊያ በረንዳዎቹና የዘንባባ ዛፍ ቅርጾቹ ልካቸው በምሥራቁ በር ካሉት ጋር ተመሳሳይ ነበር። ወደዚያ የሚያመሩ ሰባት ደረጃዎች አሉ፤ መተላለፊያ በረንዳዎቹም ከእነርሱ ጋር ትይዩ ነበር። 23ልክ በምሥራቅ በኩል እንዳለው ሁሉ፣ ከሰሜኑ በር ጋር ትይዩ የሆነ ወደ ውስጠኛው አደባባይ የሚያመራ በር አለ። ከአንዱ በር እስከ ሌላኛው በር ያለውን ለካው፤ ይህም አንድ መቶ ክንድ ነበር።

የደቡቡ በር

24ከዚያም ወደ ደቡብ አቅጣጫ መራኝ፤ እዚያም ፊቱን ወደ ደቡብ ያደረገ በር አየሁ፤ እርሱም የውስጠኛውን ግድግዳና መተላለፊያ በረንዳውን ለካ፤ የእነዚህም መጠን እንደ ሌሎቹ በሮች ነበር። 25የመግቢያው በርና መተላለፊያ በረንዳው እንደ ሌሎቹ ሁሉ በዙሪያው ጠባብ መስኮቶች ነበሩት፤ ርዝመቱ አምሳ ክንድ፤ ወርዱም ሃያ አምስት ክንድ ነበር። 26ከመተላለፊያ በረንዳው ትይዩ የሆኑ ሰባት ደረጃዎች ወደ መግቢያው በር ያመራሉ፤ ወጣ ወጣ ብለው በሚታዩ ግድግዳዎችም ላይ የዘንባባ ቅርጽ አለ። 27ውስጠኛው አደባባይ ደግሞ ከደቡብ ጋር ትይዩ የሆነ በር አለው፤ እርሱም ከዚህ በር አንሥቶ በደቡብ አቅጣጫ እስካለው እስከ ውጭው በር ድረስ ለካው፤ ይህም አንድ መቶ ክንድ ሆነ።

ወደ ውስጠኛው አደባባይ የሚያስገቡ በሮች

28ከዚያም በደቡብ በር በኩል ወደ ውስጠኛው አደባባይ አመጣኝ፤ የደቡብንም በር ለካው፤ መጠኑም እንደ ሌሎቹ በሮች ነበር። 29የዘብ ቤቶቹ፣ በየመካከሉ ወጣ ወጣ ያሉት ግንቦችና መተላለፊያ በረንዳዎቹ መጠናቸው ከሌሎቹ ጋር ተመሳሳይ ነበር። መግቢያው በርና መተላለፊያ በረንዳዎቹ በዙሪያቸው መስኮቶች ነበሯቸው። ርዝመቱ አምሳ ክንድ ወርዱም ሃያ አምስት ክንድ ነበር። 30በውስጠኛው አደባባይ ዙሪያ ያሉት የመግቢያው በር መተላለፊያ በረንዳዎቹ ርዝመት ሃያ አምስት ክንድ ሲሆን፣ ወርዳቸው ደግሞ አምስት ክንድ ነበር። 31መተላለፊያ በረንዳው ከውጭው አደባባይ ጋር ትይዩ ነው፤ የዘንባባ ዛፎች በዐምዶቹ ላይ ተቀርጸዋል፤ እስከ መግቢያው ድረስም ስምንት ደረጃዎች ነበሩት።

32ከዚያም በምሥራቅ በኩል ወደ ውስጠኛው አደባባይ አመጣኝ፤ መግቢያ በሩንም ለካው፤ መጠኑም ከሌሎቹ ጋር ተመሳሳይ ነበር። 33የዘብ ቤቶቹ፣ ወጣ ወጣ ያሉት ግንቦችና መተላለፊያ በረንዳዎቹ መጠናቸው ከሌሎቹ ጋር ተመሳሳይ ነበር፤ መግቢያው በርና መተላለፊያ በረንዳው ዙሪያውን መስኮቶች ነበሩት፤ የዚህም ርዝመቱ አምሳ ክንድ፣ ወርዱ ሃያ አምስት ክንድ ነበር። 34መተላለፊያ በረንዳው ከውጩ አደባባይ ትይዩ ነው፤ በዐምዶቹ ላይ የዘንባባ ዛፍ ተቀርጿል፤ እስከ መግቢያ ድረስም ስምንት ደረጃዎች ነበሩት።

35ከዚያም ወደ ሰሜን በር አመጣኝ፤ ለካውም፤ መጠኑም ከሌሎቹ ጋር ተመሳሳይ ነበር። 36የዘብ ቤቶቹ፣ ወጣ ወጣ ያሉት ግንቦቹና መተላለፊያ በረንዳው መጠናቸው ከሌሎቹ ጋር ተመሳሳይ ነበር፤ በዙሪያውም መስኮቶች ነበሩት። የዚህም ርዝመቱ አምሳ ክንድ ወርዱም ሃያ አምስት ክንድ ነበር። 37መተላለፊያ በረንዳው40፥37 ሰብዓ ሊቃናቱም (በተጨማሪ 31 እና 34 ይመ) እንዲሁ ሲሆን ዕብራይስጡ ግን መቃኖች ይላል። ከውጩ አደባባይ ትይዩ ነው፤ በዐምዶቹም ላይ የዘንባባ ዛፍ ተቀርጿል፤ እስከ መግቢያው ድረስም ስምንት ደረጃዎች ነበሩት።

መሥዋዕት የሚዘጋጅባቸው ክፍሎች

38በእያንዳንዱ የውስጥ መግቢያ በር መተላለፊያ በረንዳ አጠገብ የሚቃጠል መሥዋዕት የሚታጠብበት በር ያለው ክፍል አለ። 39በመግቢያው በር ላይ ባለው መተላለፊያ በረንዳው ሥር በግራና በቀኝ የሚቃጠል መሥዋዕት፣ የኀጢአትና የበደል መሥዋዕት የሚታረዱበት ሁለት ሁለት ጠረጴዛዎች አሉ። 40ከመግቢያው በር ላይ ባለው መተላለፊያ በረንዳ በስተ ውጭው ግንብ ወደ ሰሜን በር መግቢያ ላይ ባሉት ደረጃዎች አጠገብ ከግራና ከቀኝ ሁለት ሁለት ጠረጴዛዎች ይገኛሉ። 41ስለዚህ በአንዱ በር በኩል አራት፣ በሌላውም በኩል አራት ጠረጴዛዎች፤ መሥዋዕቱ የሚታረድባቸው በድምሩ ስምንት ጠረጴዛዎች አሉ ማለት ነው። 42ለሚቃጠለው መሥዋዕት መገልገያ የሆኑ፣ ከተጠረበ ድንጋይ የተሠሩ አራት ጠረጴዛዎች ነበሩ፤ የእያንዳንዳቸው ርዝመት፣ ወርድና ቁመት አንድ ክንድ ተኩል ነበር፤ በእነዚህም ላይ ለሚቃጠለው መሥዋዕትና ለሌላውም መሥዋዕት ማረጃ የሚሆኑ መሣሪያዎች ይቀመጡባቸው ነበር። 43እንዲሁም አንዳንድ ስንዝር የሚሆኑ ሁለት ጣት ያላቸው ሜንጦዎች በግንቡ ዙሪያ ተንጠልጥለው ነበር፤ ጠረጴዛዎቹም የመሥዋዕቱ ሥጋ ማስቀመጫ ነበሩ።

ለካህናት የተመደቡ ክፍሎች

44በውስጠኛው አደባባይ፣ ከውስጠኛው በር ውጭ፣ ሁለት ክፍሎች ነበሩ፤ አንዱ40፥44 ሰብዓ ሊቃናቱም እንዲሁ ሲሆን ዕብራይስጡ ግን የመዘመራን ክፍሎች ነበሩ ይላል። በደቡብ40፥44 ሰብዓ ሊቃናቱም እንዲሁ ሲሆን፣ ዕብራይስጡ ግን በምሥራቅ ይላል። ትይዩ በሰሜን በር በኩል ሲሆን፣ ሌላው በሰሜን ትይዩ በደቡብ በር በኩል ነበር። 45እርሱም እንዲህ አለኝ፤ “በደቡብ ትይዩ ያለው ክፍል በቤተ መቅደስ ውስጥ ለሚያገለግሉ ካህናት ሲሆን፣ 46በሰሜን ትይዩ ያለው ክፍል ደግሞ በመሠዊያው ላይ ለሚያገለግሉ ካህናት ነው። እነዚህም የሳዶቅ ልጆች ሲሆኑ፣ በእግዚአብሔር ፊት ቀርበው ማገልገል የሚችሉ ሌዋውያን እነርሱ ብቻ ናቸው።”

47ከዚያም አደባባዩን ለካው፤ ርዝመቱ አንድ መቶ ክንድ፣ ወርዱ መቶ ክንድ እኩል በእኩል ባለ አራት ማእዘን ነበር። መሠዊያውም በቤተ መቅደሱ ፊት ለፊት ነበር።

ቤተ መቅደሱ

48ወደ ቤተ መቅደሱም መተላለፊያ በረንዳ አመጣኝ፤ የመተላለፊያ በረንዳዎቹን ዐምዶች ለካ፤ በአንዱ በኩል አምስት ክንድ በሌላውም እንዲሁ አምስት ክንድ ነበር። የመግቢያው በር ርዝመት ዐሥራ አራት ክንድ ሲሆን፣ ወጣ ወጣ ያሉት ግንቦች ስፋት በአንዱ በኩል ሦስት ክንድ፣ በሌላውም እንዲሁ ሦስት ክንድ ነበሩ።40፥48 ሰብዓ ሊቃናቱም እንዲሁ ሲሆን ዕብራይስጡ ግን ወጣ ወጣ ያሉት ግንቦች መግቢያ… ነበሩ ይላል። 49የመተላለፊያው በረንዳ ርዝመት ሃያ ክንድ፣ ከፊት እስከ ኋላ ያለውም ወርድ ዐሥራ ሁለት40፥49 ሰብዓ ሊቃናቱም እንዲሁ ሲሆን ዕብራይስጡ ግን ዐሥራ አንድ ይላል። ክንድ ነበር። ወደ ቤተ መቅደሱም የሚያደርሱ ዐሥር ደረጃዎች የነበሩ ሲሆን፣ በየዐምዱም ጐንና ጐን ምሰሶዎች ነበሩ።

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 40:1-49

Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu

140:1 a 2Bk 25:7; Yer 39:1-10; 52:4-11; Ez 33:21 b Ez 1:3Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo. 240:2 a Dan 7:1, 7 b Ez 17:22; Kub 21:10Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga. 340:3 a Ez 1:7; Dan 10:6; Kub 1:15 b Ez 47:3; Zek 2:1-2; Kub 11:1; 21:15N’antwala eyo, ne ndaba omusajja, ng’alabika ng’ayakolebwa mu kikomo, ng’ayimiridde mu mulyango ng’akutte omuguwa ogwa linena n’oluti olupima. 440:4 a Yer 26:2 b Ez 44:5Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”

Omulyango ogw’Ebuvanjuba okutuuka mu Luggya Olwa wabweru

540:5 Ez 42:20Ne ndaba bbugwe okwetooloola ekifo kya yeekaalu. Obuwanvu bw’oluti olupima olwali mu mukono gw’omusajja lwali emikono mukaaga, nga mita ssatu. Buli mukono gwali nga kitundu kya mita. N’apima bbugwe ng’omubiri gwayo mita ssatu, n’obugulumivu bwayo mita ssatu.

640:6 Ez 8:16Oluvannyuma n’alaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, n’alinnya amadaala n’apima omuziziko ogusooka ogw’omu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu. 740:7 nny 36N’obusenge obw’abakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, n’obugazi mita ssatu, ng’ebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo n’omuziziko ogwokubiri. N’omuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso g’omuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu.

8Awo n’apima ekisasi eky’oku mulyango 9nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda y’ekisasi, n’omubiri ogw’empagi ezo gwali mita emu. Ekisasi eky’oku mulyango kyayolekera yeekaalu.

10Munda mu mulyango ogw’Ebuvanjuba mwalimu obusenge obw’abakuumi busatu ku njuyi zombi, bw’onsatule nga bwenkanankana obunene, nga n’ebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene. 11N’apima obugazi obw’awayingirirwa mu mulyango nga buli mita ttaano n’obugulumivu bwawo nga buli mita mukaaga n’ekitundu. 12Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, n’obusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi. 13N’oluvannyuma n’apima obugazi bw’akasolya ak’ekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko y’empagi okutuuka ku y’empagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 1440:14 Kuv 27:9Waaliwo embu bbiri ez’obusenge. N’apima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo. N’oluvannyuma n’apima n’ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo olulala, wonna awamu n’afuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi. 15N’okuva ku bwenyi bw’omulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano. 1640:16 nny 21-22; 2By 3:5; Ez 41:26Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate n’ekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali ag’obusenge obw’abakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi eby’enkindu.

Oluggya olw’Ebweru

1740:17 a Kub 11:2 b Ez 41:6 c Ez 42:1Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu. 18Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bw’olubalaza lwali lwenkanankana n’obuwanvu bw’omulyango, era ng’olubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi. 1940:19 a Ez 46:1 b nny 23, 27N’oluvannyuma n’apima ekibangirizi okuva omulyango ogw’Ebuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru ow’oluggya olw’omunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo n’omulyango ogw’Obukiikakkono. N’ekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru w’oluggya olw’omunda nakyo kyali mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikakkono

20Awo n’apima obuwanvu n’obugazi obw’omulyango ogw’Obukiikakkono ogufuluma mu luggya olw’ebweru. 2140:21 nny 7Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 2240:22 nny 49Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo. 2340:23 nny 19Waaliwo omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogw’oluggya olw’omunda okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikaddyo

24Awo n’ankulembera n’antwala ku luuyi olw’Obukiikaddyo ne ndaba omulyango ogw’Obukiikaddyo, n’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, ng’ebigera byabyo byenkanankana n’ebirala. 2540:25 nny 33Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ng’amabanga ag’ebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ng’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 2640:26 nny 22Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko n’ebifaananyi eby’enkindu ebyayolebwa eruuyi n’eruuyi ku bisenge byagwo. 2740:27 nny 32Waaliwo n’omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikaddyo. N’apima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano.

Emiryango egy’Oluggya olw’Omunda

2840:28 nny 35Awo n’antwala mu luggya olw’omunda nga tuyita mu mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda, n’apima, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala gyonna. 29Obusenge bwagwo obw’abakuumi, n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 3040:30 nny 21Ebisasi eby’emiryango ebyetoolodde oluggya olw’omunda buli kimu kyali obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugulumivu mita bbiri n’ekitundu. 3140:31 nny 22Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda.

32Oluvannyuma n’antwala mu luggya olw’omunda ku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda, n’apima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala. 33Obusenge bwagwo n’amabanga gaagwo n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 3440:34 nny 22Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda.

3540:35 Ez 44:4; 47:2N’antwala ku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda n’alupima ng’ebipimo bye bimu ng’emiryango emirala. 3640:36 nny 7Obusenge bwagwo obw’abakuumi n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 37Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda.

Ebisenge gye Bategekera Ssaddaaka

3840:38 2By 4:6; Ez 42:13Waaliwo ekisenge n’oluggi lwakyo ekyaliraana ekisasi ku buli mulyango ogw’oluggya olw’omunda. Omwo ebiweebwayo ebyokebwa mwe byayozebwanga. 3940:39 a Ez 46:2 b Lv 4:3, 28 c Lv 7:1Mu kisasi eky’emiryango mwalimu emmeeza bbiri oluuyi olumu n’endala bbiri oluuyi olulala kwe battiranga ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo olw’omusango. 40Era ebweru w’ekisasi ku mulyango, okumpi n’amadaala awayingirirwa ku mulyango oguli mu bukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri ne ku luuyi olulala olw’amadaala waliwo emmeza bbiri. 41Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw’omunda, n’emmeeza endala nnya ku luuyi olulala ng’oyimiridde mu mulyango, awamu z’emmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka. 4240:42 a Kuv 20:25 b nny 39Era waaliwo n’emmeeza endala nnya ez’amayinja amateme ez’ebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita n’obugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo ebirala. 43Era waaliwo n’ewuuma ez’engalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama ey’ebiweebwayo.

Ebisenge bya Bakabona

44Mu luggya olw’omunda waaliyo ebisenge bibiri eby’abayimbi, ekimu ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, n’ekirala ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono. 4540:45 1By 9:23N’aŋŋamba nti, “Ekisenge ekyolekera Obukiikaddyo, kya bakabona abavunaanyizibwa yeekaalu, 4640:46 a Ez 42:13 b Kbl 18:5 c 1Bk 2:35 d Kbl 16:5; Ez 43:19; 44:15; 45:4; 48:11n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”

47N’apima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, n’ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.

Eyeekaalu

4840:48 1Bk 6:2N’antwala ku kisasi kya yeekaalu n’apima empagi ez’ekisasi ezaali eruuyi n’eruuyi olw’ekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri n’ekitundu ku luuyi olw’ebweru ate ng’empagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olw’omunda olw’empagi emu lwapima mita emu n’ekitundu, n’oluuyi olw’omunda olw’empagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu n’ekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu. 4940:49 a nny 22; 1Bk 6:3 b 1Bk 7:15Obugazi bw’omulyango ng’otaddeko n’empagi ez’enjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano n’ekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo n’empagi endala bbiri eruuyi n’eruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi.