ሐዋርያት ሥራ 15 – NASV & LCB

New Amharic Standard Version

ሐዋርያት ሥራ 15:1-41

የኢየሩሳሌም ጉባኤ

1አንዳንድ ሰዎችም ከይሁዳ ወደ አንጾኪያ ወርደው፣ “በሙሴ ሥርዐት መሠረት ካልተገረዛችሁ ልትድኑ አትችሉም” በማለት ወንድሞችን ማስተማር ጀመሩ። 2ይህም ጳውሎስንና በርናባስን ከእነርሱ ጋር ወደ ከረረ ጠብና ክርክር ውስጥ ከተታቸው። ስለዚህ ጳውሎስና በርናባስ ከሌሎች አንዳንድ ምእመናን ጋር ወደ ኢየሩሳሌም ወጥተው ስለዚሁ ጕዳይ ሐዋርያትንና ሽማግሌዎችን እንዲጠይቁ ተወሰነ። 3ቤተ ክርስቲያኒቱም እግረ መንገዳቸውን በፊንቄና በሰማርያ በኩል እንዲያልፉ ላከቻቸው፤ እነርሱም በእነዚህ ቦታዎች ለነበሩት የአሕዛብን መመለስና ማመን ነገሯቸው፤ ወንድሞችም ሁሉ በዚህ እጅግ ደስ አላቸው። 4ኢየሩሳሌም በደረሱ ጊዜም፣ ቤተ ክርስቲያንና ሐዋርያት እንዲሁም ሽማግሌዎች ተቀበሏቸው፤ የተላኩትም እግዚአብሔር ከእነርሱ ጋር ሆኖ የሠራውን ሁሉ ነገሯቸው።

5ከፈሪሳውያን ወገን ያመኑት አንዳንዶቹ ተነሥተው በመቆም፣ “አሕዛብ እንዲገረዙና የሙሴን ሕግ እንዲጠብቁ ማድረግ አስፈላጊ ነው” አሉ።

6ሐዋርያትና ሽማግሌዎችም ይህንኑ ጕዳይ ለማጤን ተሰበሰቡ። 7ከብዙ ክርክር በኋላ ጴጥሮስ ተነሥቶ እንዲህ አላቸው፤ “ወንድሞች ሆይ፤ እግዚአብሔር ከጥቂት ጊዜ በፊት በእናንተ መካከል እኔን መርጦ፣ አሕዛብ የወንጌልን ቃል ከእኔ አንደበት ሰምተው እንዲያምኑ ማድረጉን ታውቃላችሁ። 8ልብን የሚያውቅ አምላክ ለእኛ እንደ ሰጠን ሁሉ፣ ለእነርሱም መንፈስ ቅዱስን በመስጠት የተቀበላቸው መሆኑን መሰከረላቸው፤ 9ልባቸውንም በእምነት በማንጻት፣ በእኛና በእነርሱ መካከል ምንም ልዩነት አላደረገም። 10እንግዲህ፣ አባቶቻችንም እኛም ልንሸከመው ያልቻልነውን ቀንበር በደቀ መዛሙርት ጫንቃ ላይ በመጫን ለምን አሁን እግዚአብሔርን ትፈታተኑታላችሁ? 11እኛም የዳንነው ልክ እንደ እነርሱ በጌታ በኢየሱስ ጸጋ መሆኑን እናምናለን።”

12ጉባኤውም በሙሉ ዝም ብሎ፣ በርናባስና ጳውሎስ እግዚአብሔር በእነርሱ አማካይነት በአሕዛብ መካከል ስላደረጋቸው ታምራዊ ምልክቶችና ድንቅ ነገሮች ሲናገሩ ያዳምጣቸው ነበር። 13እነርሱም ተናግረው ሲጨርሱ፣ ያዕቆብ ተነሥቶ በመቆም እንዲህ አለ፤ “ወንድሞች ሆይ፤ ስሙኝ፤ 14እግዚአብሔር ከአሕዛብ ወገን ለእርሱ የሚሆነውን ሕዝብ አስቀድሞ እንዴት እንደ ጐበኘ ስምዖን15፥14 እርሱም ጴጥሮስ ነው። አስረድቶናል። 15እንዲህ ተብሎ የተጻፈው የነቢያቱም ቃል ከዚህ ጋር ይስማማል፤

16“ ‘ከዚህ በኋላ እመለሳለሁ፤

የፈረሰውን የዳዊትን ቤት እገነባለሁ።

ፍርስራሹን መልሼ አቆማለሁ፤

እንደ ገናም እሠራዋለሁ፤

17ይኸውም የቀሩት ሰዎች ጌታን እንዲፈልጉ፣

ስሜን የተሸከሙ አሕዛብም እንዲሹኝ ነው፤

እነዚህን ያደረገ ጌታ እንዲህ ይላል፤’

18እነርሱም ከጥንት ጀምሮ የታወቁ ናቸው።15፥17-18 አንዳንድ ቅጆች …ለጌታ ከጥንት ጀምሮ የታወቀው የራሱ ሥራ ነው ይላሉ።

19“ስለዚህ ወደ እግዚአብሔር የተመለሱትን አሕዛብ እንዳናስጨንቃቸው ይህ የእኔ ብያኔ ነው። 20ይልቁን በጣዖት ከረከሰ ነገር፣ ከዝሙት ርኩሰት፣ ታንቆ የሞተ እንስሳ ሥጋ ከመብላትና ደም ከመመገብ እንዲርቁ ልንጽፍላቸው ይገባል፤ 21የሙሴ ሕግማ ከጥንት ጀምሮ በየሰንበቱ በምኵራብ ሲነበብና በየከተማው ሲሰበክ ኖሯልና።”

ላመኑት አሕዛብ ከጉባኤው የተላከ ደብዳቤ

22በዚህ ጊዜ ሐዋርያትና ሽማግሌዎች ከመላው ቤተ ክርስቲያን ጋር ሆነው ከመካከላቸው አንዳንድ ሰዎችን መርጠው፣ ከጳውሎስና ከበርናባስ ጋር ወደ አንጾኪያ ለመላክ ወሰኑ፤ ከወንድሞችም መካከል ዋነኛ የነበሩትን በርስያን የተባለውን ይሁዳንና ሲላስን መረጡ፤ 23በእነርሱም እጅ ቀጥሎ ያለውን ደብዳቤ ላኩ፤

ወንድሞቻችሁ ከሆኑት ከሐዋርያትና ከሽማግሌዎች፣

ከአሕዛብ ወገን አምነው በአንጾኪያ፣ በሶርያና በኪልቅያ ለሚገኙ ወንድሞች፤

ሰላምታችን ይድረሳችሁ።

24አንዳንድ ሰዎች ያለ እኛ ፈቃድ ከእኛ ዘንድ ወጥተው በንግግራቸው ልባችሁን እንዳወኩና እንዳናወጧችሁ ሰምተናል። 25ስለዚህ ጥቂት ሰዎች መርጠን ከተወዳጆቹ ከበርናባስና ከጳውሎስ ጋር ወደ እናንተ ለመላክ ሁላችንም ተስማምተናል፤ 26በርናባስና ጳውሎስም ስለ ጌታችን ስለ ኢየሱስ ክርስቶስ ስም ሕይወታቸውን አሳልፈው የሰጡ ናቸው። 27ስለዚህ እኛ የጻፍነውን በቃል እንዲያረጋግጡላችሁ፣ እነሆ፤ ይሁዳንና ሲላስን ልከናል። 28ከእነዚህ አስፈላጊ ነገሮች በስተቀር ሌላ ተጨማሪ ሸክም እንዳንጭንባችሁ፣ ለመንፈስ ቅዱስም ለእኛም መልካም መስሎ ታይቶናል፤ ይኸውም፦ 29ለጣዖት ከተሠዋ ነገር፣ ከደም፣ ታንቆ ከሞተ እንስሳ ሥጋ እንዲሁም ከዝሙት ርኩሰት እንድትርቁ ነው። ከእነዚህ ዐይነት ነገሮች ብትርቁ ለእናንተ መልካም ነው።

ደኅና ሁኑ።

30የተላኩትም ሰዎች ከተሰናበቱ በኋላ ወደ አንጾኪያ ወረዱ፤ በዚያም የምእመናኑን ጉባኤ በአንድነት ሰብስበው ደብዳቤውን ሰጧቸው። 31ሕዝቡም ካነበቡት በኋላ አበረታታች በሆነው ቃሉ ደስ ተሰኙ። 32ይሁዳና ሲላስም ራሳቸው ነቢያት ስለ ነበሩ፣ ወንድሞችን ብዙ ንግግር በማድረግ መከሯቸው፤ አበረቷቸውም። 33በዚያም ጥቂት ጊዜ ከቈዩ በኋላ፣ ከወንድሞች በሰላም ተሰናብተው ወደ ላኳቸው ሰዎች ተመለሱ። 34ሲላስ ግን እዚያው ለመቅረት ወሰነ።15፥34 አንዳንድ ቅጆች ይህ ቁጥር የላቸውም። 35ጳውሎስና በርናባስም ከሌሎች ብዙ ሰዎች ጋር ሆነው የጌታን ቃል እያስተማሩና እየሰበኩ በአንጾኪያ ተቀመጡ።

ጳውሎስና በርናባስ በዐሳብ ተለያዩ

36ጳውሎስ ከጥቂት ጊዜ በኋላ በርናባስን፣ “ተነሣና የጌታን ቃል ወደ ሰበክንባቸው ከተሞች ሁሉ እንሂድ፤ በዚያ ያሉ ወንድሞችም በምን ሁኔታ እንዳሉ ለማወቅ እንጐብኛቸው” አለው። 37በርናባስም ማርቆስ የተባለው ዮሐንስ አብሯቸው እንዲሄድ ፈለገ፤ 38ጳውሎስ ግን እርሱን ይዞ ለመሄድ አልፈለገም፤ ምክንያቱም፣ ቀደም ሲል ማርቆስ ከእነርሱ ተለይቶ በጵንፍልያ ስለ ቀረ እና ወደ ሥራ አብሯቸው ስላልሄደ ነበር። 39እንዲህ የከረረ አለመግባባት በመካከላቸው ስለ ተፈጠረ እርስ በርስ ተለያዩ፤ ስለዚህ በርናባስ ማርቆስን ይዞ በመርከብ ወደ ቆጵሮስ ሄደ። 40ጳውሎስ ግን ሲላስን መረጠ፤ ወንድሞችም ለጌታ ጸጋ ዐደራ ከሰጡት በኋላ ተለይቷቸው ሄደ፤ 41አብያተ ክርስቲያናትንም እያበረታታ በሶርያና በኪልቅያ በኩል ዐለፈ።

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 15:1-41

Olukiiko lw’Abakristaayo mu Yerusaalemi

115:1 a nny 24; Bag 2:12 b Bag 2:5; 5:2, 3 c Bik 6:14Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.” 215:2 a Bag 2:2 b Bik 11:30Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi. 315:3 Bik 14:27Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda. 415:4 nny 12; Bik 14:27Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.

5Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.

6Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo. 7Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize. 815:8 a Bik 1:24 b Bik 10:44, 47Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa. 915:9 a Bik 10:28, 34; 11:12 b Bik 10:43Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza. 1015:10 Mat 23:4; Bag 5:1Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka? 1115:11 Bar 3:24; Bef 2:5-8Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”

1215:12 a Yk 4:48 b Bik 14:27Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga. 1315:13 Bik 12:17Bwe baamala okwogera, Yakobo n’agamba nti, “Abasajja abooluganda, mumpulirize. 14Simooni abategeezezza ng’okusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo ab’okuweesa erinnya lye ekitiibwa. 15Era kino kituukiriza bannabbi bye baayogera ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

16“ ‘Oluvannyuma lwa bino ndikomawo,

ne nziddaabiriza ennyumba ya Dawudi eyagwa.

Ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa. Ndigizaawo,

1715:17 Am 9:11, 12n’abantu abalala

basobole okunoonya Mukama,

era n’abamawanga be nayita okuba abantu bange.

18Bw’atyo bw’ayogera Mukama, alaga entegeka ye okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.’

19“Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya. 2015:20 a 1Ko 8:7-13; 10:14-28; Kub 2:14, 20 b 1Ko 10:7, 8 c nny 29; Lub 9:4; Lv 3:17; Ma 12:16, 23Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi. 2115:21 Bik 13:15; 2Ko 3:14, 15Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”

Ebbaluwa y’Olukiiko eri Abaamawanga Abakkiriza

2215:22 nny 27, 32, 40Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira. 2315:23 a nny 1 b nny 41 c Bik 23:25, 26; Yak 1:1Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti:

Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa,

Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya:

Abooluganda tubalamusizza.

2415:24 nny 1; Bag 1:7; 5:10Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima. 25Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu n’abaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo, 2615:26 Bik 9:23-25; 14:19abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe. 27Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola n’akamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno. 2815:28 Bik 5:32Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino: 2915:29 nny 20; Bik 21:25Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi.

Mweraba.

30Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo. 31Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olw’ebyo ebyagirimu. 32Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe. 3315:33 Mak 5:34; Bik 16:36; 1Ko 16:11Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza. 34Naye Siira n’asalawo okusigalayo. 3515:35 Bik 8:4Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.

Pawulo ne Balunabba Baawukana

3615:36 Bik 13:4, 13, 14, 51; 14:1, 6, 24, 25Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali. 3715:37 Bik 12:12Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo. 3815:38 Bik 13:13Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza. 39Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo. 4015:40 a nny 22 b Bik 11:23Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe. 41Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.